TOP
  • Home
  • Amawulire
  • KCCA etutte Pearl of Africa Hotel mu kkooti lwa kugaana kusasula musolo gwa bukadde 52

KCCA etutte Pearl of Africa Hotel mu kkooti lwa kugaana kusasula musolo gwa bukadde 52

By Musasi wa Bukedde

Added 29th January 2019

AKATUUBAGIRO k'ebyenfuna mu ggwanga kongedde okunyiga abagagga. Omugagga nnannyini wooteeri ya Pearl of Africa esangibwa e Nakasero emanyiddwa ennyo nga AYA ebibye bibi!

140338857 703x422

Bya ANNET NALUGWA

KCCA bw'emututte mu kkooti lwa kugaana kusasula musolo gwa wooteeri eno gwa 52,564,176.

KCCA ng'eyita mu kitongole kyayo ekiwaabi ky'emisango y'ewawaabidde kkampuni ya AYA investments (u) Ltd ng'etundira mu linnya lya wooteeri eyitibwa Pearl of Africa esangibwa e Nakasero ku luguudo lwa Akii- Bua.

Nga bagala kkooti enkulu etawulula enkayana z'ebyobusuubuzi mu Kampala emuwalirize okusesema ssente ezo.

Ensonga zino zituuse okusajjuka kiddiridde KCCA okuteekawo etteeka nti wooteeri zonna ne loogi zirina okusasula omusolo guno buli mwezi.

Omusolo bagugereka okusinziira ku bakasitoma abazze mu wooteeri eno.

Era mu kiseera kino abanjibwa 52,564,176. Newankubadde ebbanja wooteeri eno balimanyi era nga KCCA ebabanjizza emirundi egiwera byabawaddeko okugaana okusasula ssente zino kwe ku batwala mu kkooti eno ebatawulule.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab1 220x290

Gavumenti efulumizza ebiragiro...

Gavumenti efulumizza ebiragiro ebipya ng'emizannyo gizzeemu

Kat1 220x290

‘Teri kukyusa’

‘Teri kukyusa’

Tip1 220x290

Admin FC eyagala Big League

Admin FC eyagala Big League

Byekwaso 220x290

Byekwaso w'emifumbi ateekateeka...

KAFULU wa Uganda mu muzannyo gw’okusiba emifumbi ali mu keetalo nga yeetegekera okugattibwa mu bufumbo obutukuvu...

Tip1 220x290

Omusajja anzigyako abaana

Omusajja anzigyako abaana