TOP
  • Home
  • Amawulire
  • DP esekeredde Balaam ku bya People Power: 'Omala budde bwo'

DP esekeredde Balaam ku bya People Power: 'Omala budde bwo'

By Muwanga Kakooza

Added 29th January 2019

DP esekeredde omutegesi w’ebivvulu Balaam Barugahara olw’okuwandiisa ‘People power’ ng’ekibiina ky’obwannakyewa n’egamba nti ali mu kwonoona biseera bye kuba eno ‘’ ŋŋombo bugombo’’ ng’okukiggyako tekirina kine kye kigenda kukyusa ku ndowooza za bantu.

Mwesigwa1 703x422

Omubaka wa Kyadondo East Robert Kyagulanyi amanyiddwa nga Bobi Wine y’abadde akozesa eŋŋombo ya ‘People power’ ekozesebwa  ekisinde ky’ebyobufuzi ekigezaako okusiguukulula Pulezidenti Museveni .

Aba ‘People power’ babadde bambala bimyuufu  ng’akabonero kaabwe. Kyokka Balaam , People Power yagiwandisizza ng’ekibiina ky’obwannakyewa n’ebyambalo ebimyuufu n’ebiwandiisa ng’ebibye.

Omwogezi wa Pulezidenti wa DP, Fred Mwesigwa agambye bannamawulire mu Kampala nti  ekibiina kino kiri wamu n’ekisinde kya Bobi Wine ekibadde kiyitibwa ‘People Power’ era bagenda kutegekayo akababi  mu bbanga eritali ly’ewala.

‘’Jjajja wa Bobi Wine yali wa DP. Taata wa Bobi Wine yali wa  DP era mwalaba engeri gye twamuzikamu. Muganda wa Bobi Wine , Eddie Yawe naye wa DP.

DP erina akakwate ka maanyi ne Bobi Wine wamu n’ekibadde kiyitibwa ‘People Power’ era tewali agenda kututangira kugenda mu maaso. Ebyo Balaam by’aliko ayonoona budde bwe. People Power ŋŋombo bugombo,’’  Mwesigwa bw'agambye.

Mwesigwa agambye nti Bobi Wine asobola okukozesa ekikonde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nsamb6webuse 220x290

Abeddira Engabi balabuddwa ku kufumbiriganywa...

Omukulu w'ekika ky'Engabi Ensamba, Alysious Lubega Magandaazi avumiridde bazzukulu ba Nsamba abeewasa nga beekwasa...

Hosp81webuse 220x290

Bakansala basimbidde eky’okuddiza...

Bakansala mu lukiiko lwa munisipaali ya Mukono baagala eddwaaliro lya Mukono waakiri lireme kusuumusibwa bwe liba...

Weblweranew 220x290

Tetuzze kugoba balimira mu Lwera...

Dayirekita wa NEMA, Dr. Tom Okurut yatangaazizza nti abakugu baabwe baasooka kwekenneenya ttaka lino nga tebannawa...

Rwe11 220x290

Bannalwengo boogedde ku bulamu...

Bannalwengo boogedde ku bulamu bwa Getrude Nakabira

Love 220x290

Nnannyini ssomero bamusimbye mu...

ASADU Wamala nannyini ssomero lya Wamala Mixed SS e Mpigi leero azzeemu okusimbibwa mu maaso g”omulamuzi Moureen...