TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Baminisita bakkaanyizza ku kya Museveni okusigala ng'agabira abantu ssente

Baminisita bakkaanyizza ku kya Museveni okusigala ng'agabira abantu ssente

By Muwanga Kakooza

Added 29th January 2019

OLUKIIKO lwa baminisita lukkaanyizza nti Pulezidenti Museveni asigale ng’agabira abantu n’ebibiina ebitali bimu ssente kuba ensonga ezimu eziruma abantu tezikwatibwako mu bajeti nga zeetaagisaawo obuyambi obw’enjawulo okuva ewa Pulezidenti.

Justicesserena12 703x422

Pulezidenti Museveni ng'ayogera

OLUKIIKO lwa baminisita lukkaanyizza nti Pulezidenti Museveni asigale ng’agabira abantu n’ebibiina ebitali bimu ssente kuba ensonga ezimu eziruma abantu tezikwatibwako mu bajeti nga zeetaagisaawo obuyambi obw’enjawulo okuva ewa Pulezidenti.

Olukiiko lwa baminisita olwatudde ku Mmande  lwakkaanyizza nti olw’okuba abantu abatali bamu batuukirira Pulezidenti Museveni nga baagala abakolere ku bizibu byabwe ekya Pulezidenti okugenda ng’agaba ssente tekyewalika.

Omwogezi wa gavumenti Ofwono Opondo yagambye nti  wabaddewo okwemulugunya mu bantu abatali bamu ku nsimbi Pulezidenti Museveni z’agenda agabira abantu n’ebibiina kyokka n’agamba nti olw’ensonga ezitali zimu omuli n’ezoogeddwaako Pulezidenti agenda kusigala ng’agabira abantu ssente.

Kyokka kyakkaanyiziddwaako nti ssente ziweebwe bibiina nga zissibwa ku akawunti yaazo zisobolwe okulondoolwa obulungi.

Baminisita baasiimye pulogulaamu za Pulezidenti ezitali zimu z’akola okutumbula eby’enfuna mu bibiina naddala eby’abakyala n’abavubuka ng’okubayamba okwetandikirawo emirimu.

Olukiiko lwayisizza ebbago erigenda okulung’amya eby’okukola emmere y’ebisolo. Era ne lukkaanya ne ku bbago ly’etteeka erigenda okuluŋŋamya eby’okulabirira abakadde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pp 220x290

Abayimbi Bannayuganda battunse...

Abajamaica;Christopher Martin ne D-Major bakubye Bannayuganda emiziki egibaccamudde

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...

Mayiga 220x290

Katikkiro alaze engeri ebbula ly’amazzi...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayongedde okukkaatiriza obukulu bw’amazzi mu bulamu bw’abantu n’agamba...

Bazigu1 220x290

Abazigu balumbye amaka e Munyonyo...

ABAZIGU balumbye amaka e Munyonyo ne batemaatema omukozi w’awaka Isa Birimusho n’okumusiba akandooya ne bamuleka...