TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Mmengo esse omukago n'omukago gwa Bulaaya okukulaakulanya abavubuka

Mmengo esse omukago n'omukago gwa Bulaaya okukulaakulanya abavubuka

By Dickson Kulumba

Added 30th January 2019

Mmengo esse omukago n'omukago gwa Bulaaya okukulaakulanya abavubuka

Dab2 703x422

MMENGO egenda kukolagana n’Omukago gwa Bulaaya okutumbula embeera z’abavubuka ababeera mu bifo by’omugotteko Katikkiro Charles Peter Mayiga beyayogeddeko nti bangi beesiwa ebiragalalagala n’omwenge ebitatanye obulamu bwabwe.

“Abavubuka bangi ababeera mu bifo by’enzigotta (Ghetto), obulamu bwebayitamu buzibu ddala;-tebalina mirimu era n’engeri gyebasulamu tesanyusa n’olwekyo tugenda kukolagana n’aboomukago gwa Bulaaya okulaba engeri gyetunakolaganamu okukyusa embeera z’abavubuka bano,” Mayiga bweyayogedde.

Bino byabaddewo oluvanyuma lw’ensisinkano n’Omubaka w’Omukago gwa Bulaaya mu Uganda, Attilio Pacific eyakyadde e Bulange Mmengo ku Lwokubiri January 29,2019 mwebayogeredde ensonga ezitali zimu.

Pacifici yategezezza nti mu kiseera kino waliwo obwetaavu  okukubiriza abalimi mu Uganda okulima ebirime mu bungi  era eby’omutindo ebisobola okuvuganya ku katale k’e Bulaaya lwebajja okufunamu ensimbi ezetaagisa okwekulakulanya.

Mayiga yategezezza omugenyi we nti Obwakabaka bwateekawo enkola egenderera okutumbula ebirime bina okuli Amatooke, emmwanyi, lumonde ne muwogo oluvanyuma lw’okukizuula nti birime byatunzi ate tebiggwaako katale.

Oluvanyuma yalambuza Omubaka Pacifici eyazze n’akulira emirimu ku kitebe ky’Omukago guno mu Kampala, Cedric Melwel, ebifo eby’enjawulo ebiri ku Bulange okuli emiziro gy’Abaganda, ekibumbe ekyakolebwa okujjukira okuddawo kw’Obwakabaka mu 1993 n’okubalengeza oluguudo Kabakanjagala nga bweruva ku Bulange okutuuka mu Twekobe mu Lubiri e Mmengo.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bow 220x290

Owebyokwerinda atulugunya abantu...

Abaakakiiko ka LC bagobye owebyokwerinda lwa kwenyigira mu bikolwa ebimenya amateeka. Bakkiriziganyizza ne basaba...

Go 220x290

Obukadde 60 zifudde ttogge: Ekyuma...

GIWEZE emyaka musanvu nga Museveni awadde abavubuka b’omu disitulikiti y’e Kamuli ekyuma ekyaluza enkoko beekulaakulanye....

Emery1 220x290

Emery atadde abazannyi 7 ku katale...

Emery, ayagala kuggumiza ttiimu ye sizoni ejja era agamba nti abamu ku bazannyi b’alina, tebajja kumukolera k'abatunde...

Kib1 220x290

Abakungubazi bakubaganye empawa...

Abakungubazi bakubaganye empawa ku nfa y'omugagga Kiriggwajjo!

Nanyinittakamarynagaddyabamuwujjaazirisewebuse 220x290

Abatuuze mu maka 1000 e Mukono...

Amaka agasoba mu 1,000 e Mukono paasika teyabawoomedde oluvannyuma lw’okulabulwa okusengulwa nga tebabaliyiridde...