TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omwana eyagenda okuwummula mu kyalo abuze: Abazadde emitima gibeewanise

Omwana eyagenda okuwummula mu kyalo abuze: Abazadde emitima gibeewanise

By Henry Nsubuga

Added 30th January 2019

Bazadde b’omwana eyava e Nkokonjeru mu disitulikiti y’e Buikwe okugenda ku kyalo Namagoma-Kakungube mu tawuni kanso y’e Kyengera mu disitulikiti y’e Wakiso okuwummula emitima gibeewanise oluvannyuma lw’okufuna amawulire ng’omwana ono bwe yabula nga ky’aggye atuukeyo.

Mknmissing2 703x422

Mukuye (ku kkono) ng;ali ne baana banne. (Ekif. Henry Nsubuga)

Mourice Mukuye (7) eyali asoma P.1 ku ssomero lya Nsonga RC e Nkokonjeru nga mutabani wa Rose Mbabazi ye yabula nga December 30,

2018 nga n’okutuuka kati tannamanyikako mayitire.

Mbabazi ategeezezza Bukedde nti Mukuye okubula yali agenze wa mugandawe Christine Mukamanzi e Namagoma okuwummula kyokka bwe baamutuma okubaako by’agula ku dduuka enkeera w’olunaku lwe yagenda teyaddayo waka.

Bano bagamba nti baagenda ku poliisi y’e Namagoma ne baggulawo ffayiro nnamba SD10/30/12/2018 naye nga teri kye baali batuseeko kyekuusa ku mawulire g’okubula kwa mutabani waabwe.

Bano bakoowodde omuzira kisa ayinza okuba nga yalaba ku mwana ono oba olw’awo nga yamulonda abayambe abategeeze wa gy’ali ku nnamba y’essimu 0757342490.

Mbabazi agamba nti wadde nga babadde batambudde okubuna poliisi, amalwaliro n’okulanga ku bizindaalo naddala mu byalo by’e Namagoma omwana gye yabulira, n’okutuuka kati tebannabaako buyambi bwe bafuna ku mawulire agakwata ku kubula lw’omwana.

Ono ategeezezza nti kati asula atunula nga n’ebirowoozo biyitiridde okumwesombako

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Index 220x290

'Mwenyigire mu by'obulimi ebivaamu...

PULEZIDENTI Museveni akunze Bannayuganda okumwegattako okulwanyisa abakulu b’amasomero abasaaawo ffiizi ez’ekimpatiira...

Plana 220x290

Bobi Wine akoze pulaani endala...

BOBI Wine bwe yavudde e Jamaica yasookedde ku mukolo gwa muganda we Fred Nyanzi era eno gye yayanjulidde pulaani...

Kcca 220x290

Ebbaluwa y’abasuubuzi ku by’oluguudo...

EBBALUWA y’abasuubuzi mu Kampala abeegattira mu KACITA gye baawandiikidde Loodi meeya Erias Lukwago ne dayirekita...

Sanyu1 220x290

Kyokka Golola Moses of Uganda!...

OMUKUBI w’ensambaggere Golola Moses of Uganda nga bwe yeeyita yajagalazza abantu bwe yalabiddwaako ng’ali n’omuwala...

Ni 220x290

Nagenda okuva mu kkomera nnasanga...

NZE Joshua Kayiira nga ndi musuubuzi mu kibuga Kampala naye nga mbeera Kawaala.