TOP

Tetulina masomero ge tuttira ku liiso -UNEB

By Kizito Musoke

Added 1st February 2019

Ssentebe w’ekitongole kya UNEB, Prof. Mary Okwakol, asinzidde ku mukolo gw’okufulumya ebyavudde mu bibuuzo bya siniya eyookuna n’alaga obwennyamivu olw’abantu abaabungeesa ebigambo ng’ebigezo bya P.7 bifulumiziddwa nga bagamba nti amasomero g’obwanannyini gaali gagoloddwa bubi nga bagenderera okuyisa aba UPE.

Funa 703x422

Omuwandiisi wa UNEB Dan.Odong ( ku kkono) ne ssentebe w’ekitongole kino, Polof. Mary Okwakol.

Yagambye nti enkola gye bakozesa nga bagolola y’emu ku masomero gonna nga tebasobola kumanya wadde essomero omuyizi kwasomera kuba tebateekako linnya lya ssomero.

Waliwo n’obulimba obulala obwasaasaanyizibwa nga bugamba nti waliwo omuzadde eyeekubira enduulu mu UNEB ne yeemulugunya ng’omwana we bwe yali agoloddwa obubi.

Kyokka omuzadde bwe yatuuka ku UNEB bakkirizza okuddamu okugolola ebigezo by’omwana we era obubonero ne bukyuka.

Kino yagambye nti tekisoboka kuba ne bwe wabeerawo okwemulugunya bakolagana n’amasomero so si bazadde ssekinnoomu.

Yategeezezza nti baateekawo enkola y’okubeera ng’ekigezo ky’omwana kigololwa abantu abawera omulundi gumu.

Yagambye nti basanyufu olw’omuwendo gw’abayizi abaatuula mu 2018 ogweyongeddeko okusinga abaatuula mu 2017.

Mu 2017 baali 326,212 ate ng’omwaka oguwedde baabadde 335,435. Abayizi 152,278 baabadde mu nkola ya bonna basome owa siniya.

Yategeezezza nti abayizi 336,740 be beewandiisa okukola ebigezo nga baatuulira mu bifo ebiwera 3,658.

Abalenzi baali 169,984 ate abawala 166,756. Abayizi abalenzi baasinze abawala okukola obulungi.

Kyokka ng’abawala bwe baatuuse ku ssomo ly’Oluzungu baakubidde wala abalenzi, ekintu kye bamaze ekiseera nga bakola.

EBYAKWATIDDWA

Ebigezo by’abayizi ebyakwatiddwa baabadde 1825 ng’omuwendo guno gwakendedde nnyo bw’ogugeraageranya n’ebyakwatibwa mu 2017 abaali 4525. Ku mwaka oguwedde abayizi 288,387 be baasobodde okuyita ebigezo nga baasinze abaatuula mu 2017 abaali 287,350.

JANET MUSEVENI ASABYE ABAZADDE OKUFA KU BAANA

Minisita w’ebyenjigiriza n’emizannyo, Janet Museveni yasabye abazadde okufuba okuwa abayizi ebyetaago ne bwe babeera bali mu masomero ga bonnabasome kubanga kizuuliddwa nti bangi tebatuukirizza buvunaanyizibwa.

Yasiimye ekitongole kya UNEB olw’okufulumya ebibuuzo mu budde obutafaanana nga bwe kyali mu myaka egiyise.

Eky’okuba ng’abayizi beeyongedde okuyita amasomo ga Physics, Math ne Biology kyamusanyusizza kuba mu kiseera kino eggwanga essira liritadde mu kutumbula masomo ga sayansi.

Abasomesa yabasoomoozezza okwongera ku mutindo kwe basomereza abayizi n’okufuna ebyuma ebiyamba abayizi okuyiga amasomo ageetaagisa okusoma nga balabako.

Yalaze nti Gavumenti eri mu kaweefube w’okulaba nga bayambako okutendeka abasomesa okufuna obukugu obusingako.

Eky’omuwendo gw’abayizi abaakwatiddwa ebigezo okubeera nga mutono kyamusanyusizza okuba nga ng’omuwendo gusobodde okukendeera okutuuka ku bitundu 60 ku buli 100.

Yasuubizza okwongera amaanyi mu kukuuma ebigezo n’okulwanyisa ababibba. Amasomero aganeetantala ne galemera mu by’okubba ebigezo yagasuubizza nti tebajja kulonzalonza kubonerezebwa nga bakolagananira wamu n’ebitongole ebirala ebya Gavumenti.

Ye minisita omubeezi ow’ebyenjigiriza ebya waggulu, John Chrizestom Muyingo yaloopedde Janet Museveni olw’omuze oguli mu masomero agamu agalowooza nti okuyita kulina kubeera kwa masomero gamu.

Yategeezezza nti okuyita kuva mu ngeri essomero gye liba lifuddeyo ku bayizi.

Yavumiridde n’abantu abakozesa obubi emikutu gy’ebyempuliziganya ne basaasaanya obulimba n’ategeeza nti beetaaga okukolwako kuba boonoona amannya g’abantu n’ebyokwerinda by’eggwanga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mknmu21 220x290

Ababadde batwala omulambo batuuyanye...

Abatuuze ku kyalo Nassuuti mu munisipaaali y’e Mukono baasitaanye okufuna ebiwandiiko ebitambuza omulambo gwa munnaabwe...

1bc8d9398e5f4a07a3307fdfeb1d90ad 220x290

Kasujja omukulu w'ekika ky'Engeye...

OMUTAKA Hajj Mohamood Minge Kibirige Kasujja abadde akulira ekika ky’engeye obulwadde bwa sukaali ne puleesa bimugye...

Mkncov11 220x290

Ab’e Mukono batandise ekifo aw’okukuumira...

Ab’e Mukono batandise ekifo aw’okukuumira abateeberezebwa okuba ne Coronavirus

414009d1dd2349e0bd6b4678886a42d21 220x290

Kabaka awaddeyo obukadde 100 okuyamba...

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II addukiridde Bannayuganda n’obuyambi obw’enjawulo obubalirirwa obukadde 100 ng’ensimbi...

Lop2 220x290

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye...

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye Bannayuganda okubeera abaweereza abalungi