TOP
  • Home
  • Essomero
  • Bawabudde ku bw’osalawo omuyizi okusoma S5 oba asome kkoosi

Bawabudde ku bw’osalawo omuyizi okusoma S5 oba asome kkoosi

By Vivien Nakitende

Added 1st February 2019

EBIBUUZO bya S4 ebifulumiziddwa minisitule y’ebyenjigiriza olwaleero bizze n’essanyu naye era n’okweraliirira. Abazadde n’abayizi nga bajaganya olw’okubikola obulungi, mu kiseera kye kimu beeraliikirivu nga beebuuza kye baba bazzaako.

Saba 703x422

Bano nga bakozesa ebyuma okukola dizayini mu mbaawo.

Abamu beebuuza oba abayizi babongereyo mu S5 oba babatwale mu matendekero batandike okusomerera emirimu.

Ebigezo bino we bikomeddewo ng’omuwendo gw’abayizi abaatuula ebigezo bya S.6 gwesala buli lukya anti omwaka oguwedde abaatuula S6 baali 99,672 kyokka nga mu mwaka 2017 baali 102,0007.

Waliwo endowooza nti bangi ku bayizi kati basalawo kugenda mu matendekero nga bamaze S.4 naye nga tonnasalawo oba kugenda mu S5 oba mu matendekero tukuleetedde abakugu mu byenjigirizanga nga bawa endowooza yaabwe ku nsonga eno.

Alex Kakooza, omuwandiisi w'enkalakkalira mu minisitule y’ebyenjigiriza; Okusoma kusinziira ku muntu ky’aba ayagadde, naye bino byombi okweyongerayo ku S.5 oba okugenda mu matendekero biyinza okubeera kye kimu kuba buli kimu kirina obulungi n'obubi bwakyo.

Omuyizi akyamidde ku S.4 n’agenda mu ttendekero afuna mangu obukugu era n’atandika mangu okukola okusinga oli amazeeyo S.6, ono asobola okugenda ng'ayongerako obuyigirize okutuuka ku diguli z’ayagala ate nga bw’akola.

Tulina enkola gye twamaze okuyisa, omuyizi asobola okuwetera ku S.4 oba P.7 n’agenda mu ttendekero ly’ebyemikono n’asoma omulimu gwe.

Omuntu ono asobola n’okufuna diguli wadde nga kimutwalira obudde buwanvu.

Ensi ezimu tezikuliriza buyigirize bwa muntu bw'alina wabula obumanyirivu n'obukugu bw’alina mu bintu eby'enjawulo.

Tuli mu nteekateeka ereeta yunivasite y’ebyemikono, ng'omuyizi tekimwetaagisa kugenda mu yunivasite ziri endala ng’agenda mu eno akugukire ddala mu kukola ebyo by’azze asoma, eno tugisuubira okutandika okukola mu myaka mitono mu maaso.

Tulinawo enkola ey'okukolagana ne yunivasite z’ebyemikono ez’amawanga g'ebweru mu matendekero gaffe agamu omuli; Kicwamba Technical College, Elgon, Lira, Bukalasa n'amalala. Twafuna yunivasite z’ebyemikono ebweru w'eggwanga mu Bufalansa, Gerimaani n’awalala era amabaluwa aganaafunibwanga eno, gagenda okubeera ku mutindo gwa nsi gonna.

Ruth Kavuma Nvumetta eyaliko omukulu w'essomero lya Gayaza High School; Okuwetera ku S.4 omwana n’atandika okusomerera ebyo by’anaakola kyandisinzidde ku mwana yennyini, waliwo abaana nga bo ba bya mu mutwe (academics) nga beetaaga okutuula S.6 ate ne wabaawo n'abaana nga bo ba byamikono (practical), nga beetaaga okusoma nga bwe bakwata ku ebyo bye balikola mu maaso, abo ne bwe bawetera ku S.4 ne batandika okusomerera emirimu gyabwe.

Bangi oluusi bazibuwalirwa okukola obulungi bye bandikoze olw'ensomesa eriwo mu ggwanga, eky'okuwetera ku S.4 oba S.6 kisinziira ku mwana ye ky’ayagala ne ky’asobola okukola, kuba ne bw’atuula S.6 asobola okukola ebyemikono by’ayagala.

Omwana asobola okufuna diguli zonna ze yeetaaga ne bw’aba awetedde ku S.4, kale nabo tubawe omukisa okwesalirawo kye baagala, tubawagire, tubawulirize ate tubawabule, n'okuzuula biki bye basobola okukola nga bukyali kibayambe okusalawo obulungi.

Polof. John Ddumba Ssentamu, yaliko omukulu wa yunivasite ya Makerere; Siniya eyoomukaaga yandibadde nnungi omwana okwegatta ku ttendekero erya waggulu oba yunivasite kuba aba akuze nga yeetegerezza bulungi, ekisinga obulungi, ebyensoma yaffe bisaana okukyukamu, nga bisomerwa wamu ebyemikono n’ebyobwongo okuviira ddala wansi okutuuka waggulu.

Amasomo agasomebwa mu siniya gasaana gakendeereko, bongeremu ku bisomwa eby'okukwatako oba ebyemikono, olwo omwana asome ekyo ky’asinga kwagala nga byonna abisomera wamu okutuusa bw’amala S.6 ne yeegatta ku yunivasite.

Ebyemikono n’obwongo bisaana bitambulire wamu. Sam Busuulwa, eyali akulira essomero lya King's College Budo; Eky’okuwetera ku S4 oba S.6 kisinziire ku mwana ky'ayagala, okuva ku S.4 okwegatta ku ttendekero ly’ebyemikono nawo asobola okufuna obuyigirize bwonna bwe yeetaaga, asoma satifi keti, n’azzaako dipuloma olwo n’agenda nga yeeyongerayo ku mitendera gya waggulu okufuna diguli zonna z’ayagala.

Abantu balowooza nti yunivasite yaakuwa buwi diguli, naye nabo ebyemikono babyetaaga, abasoma ebyobulimi babatwala e Kabanyoro ne babagezesa, bwe batayita tebagifuna n'abasawo nabo bwe batyo bagezesebwa, kale ebyemikono ebyo oba bya mugaso nnyo omwana okusoma nga bw’akwata ku ebyo by’anaakola.

Kino kyandisinzidde ku kigendererwa kya, sirabaasi yaffe ekirambulula obulungi nti si kusomesa kuwandiika na kusoma byokka, wabula n’ebyemikono byetaagibwa era mwebiri mu nkola ya ‘skilling Uganda’, kuba bino biyamba omuyizi okukwata obulungi.

Ensi ezimu tezigulumiza diguli gy’osomye wabula zigulumiza ekyo ky'osobola okukola.

Wilfred Nahamya, amyuka omuwandiisi wa UBTEB;

Omuyizi bw'amala okufuna satifi - keeti mu ttendekero ly’ebyemikono, yeeyongerayo n’afuna dipuloma n’alyoka asobola okwegatta ku yunivasite okusoma diguli. Olwokuba eno bakola nnyo eby'okukwatako okusinga eby'okuwandiika, omuyizi akuguka mangu era y’ensonga lwaki omuyizi ono atandise amangu ebyemikono  oba ebyemirimu gy’agenda okusomerera, ate mu nsi y'okukola babeera basuffu.

Mu yunivasite ezimu nga; Kyambogo, MUBS n'endala kasita ogenda ng'olina dipuloma mu mulimu ogwo gw’obadde osomerera, otandikira ku mwaka gwakubiri ogusooka n'ogubuuka kuba oba mumanyirivu.

Diguli ebadde ey'emyaka esatu n'ogisomera emyaka ebiri kuba ebisinga oba obimanyi naddala mu masomo g’ebyobusuubuzi n’obuzimbi.

Polof. Moses Muhwezi amyuka akulira ettendekero lya MUBS;

Bw’ogenda ku ttendekeero ly’ebyemikono lyonna erimanyiddwa gavumenti, kasita ofuna dipuloma oba wenkana n'omuyizi atudde S.6 ng'osobola okwegatta ku yunivasite n'okola diguli, wabula ggwe ate oba omusinga obukugu.

Naye ate era ssinga ofuna satifi keeti eziwera mu ssomo lyonna, wadde tolina dipuloma nazo zisobola okutunuulwamu n’ogenda ku yunivasite okusoma diguli, naye enkola eno ebadde tennatuuka wano mu ggwanga naye tusuubira egenda kutuuka essaawa yonna kuba ekozesebwa mu mawanga agatuliraanye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bim1 220x290

kkooti ewadde ekiragiro ku mpaka...

kkooti ewadde ekiragiro ku mpaka z'obubina

Lop1 220x290

Eyawambye omwana ku ssomero n'asaba...

Eyawambye omwana ku ssomero n'asaba ssente poliisi emukutte

Kis1 220x290

Omulimu gw'okuzimba ekisaawe kya...

Omulimu gw'okuzimba ekisaawe kya Nakivubo gutambula bulungi

Sarangabaagaembuzinekikondekyekunokwebayitaokugikubaekikondeweb 220x290

Ntunda mitwe gya mbuzi okuweerera...

Emitwe gy'embuzi gye nsasulwa mu kuzibaaga mwe mpeeredde abaana n'okwongerako emirimu emirala.

United1 220x290

Kiikino ekizembe kw’olabira Dubai...

DUBAI eyongedde okussaawo likodi! Ku kizimbe ekisinga obuwanvu mu nsi yonna, egasseeko ekizimbe ekyakulanga “Fuleemu”...