TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kkampuni endala etadde akazito ku Balaam ku bya People Power

Kkampuni endala etadde akazito ku Balaam ku bya People Power

By Hannington Nkalubo

Added 1st February 2019

BANNABYABUFUZI babiri beesowoddeyo ne balumba Balaam Barugahare 'Ssaabavvulu' ku kwagala okwekomya ekisinde kya 'People Power' ne bategeeza nti nabo baakiwandiisa dda nga ehhombo y’ekibiina kyabwe eky’ebyobufuzi.

Li 703x422

Omumyuuka w'ekibiina Simon Peter Ouma ne ssaabawandiisi w'ekibiina Stephen Wafula (ku ddyo).

Simon Peter Ouma ne Stephen Wafula bazze mu ofiisi za Bukedde n'ebbaluwa gye baawandiikidde abakulira ekitongole ekiwandiika kkampuni n'ebitongole ekya Uganda Registration Services Bureau (URSB) eraga nti baatandika ekibiina ky’ebyobufuzi ekiyitibwa Uganda Meritocracy Party (UMP) nga kirina ehhombo eya 'People Power'.

Baalagidde URSB ewanduukulule mangu ekibiina ekyekuusa ku hhombo yaabwe kubanga baagiwandiisa mu 2016.

Simon Peter Ouma yagambye nti tebasobola kukkiriza kunyigirizibwa ate nga baawandiisa dda ekibiina ekirina ehhombo ya 'People Power' era yaabwe.

Baagambye nti bakolagana bulungi n'ekisinde kya 'People Power' eky’ebyobufuzi era tebabalinaako buzibu bwonna kyokka tewali mulala akkirizibwa kwekomya hhombo yaabwe era bagenda kuttunka mu kkooti.

LOODI MEEYA ATANGAAZIZZA

Loodi Meeya Erias Lukwago awabudde ku batinkiza okuwandiisa abisinde by'ebyobufuzi ebitandikibwawo okukunga abantu oba okuwakanya enkola ya Gavumenti embi nti, bamala budde amateeka tegakkiriza kubiwandiisa era tebiriiko bwannannyini.

Yagambye nti ebisinde byobufuzi bibaddewo bingi nga bitandikibwa okuwakanya ensonga y’ebyobufuzi ebeerawo mu kiseera ekyo naye oluvannyuma bikoma ate tebikosa bibiina byabufuzi kubanga ababitandikawo baba n’ebibiina byabwe mwe bava era baddayo.

Yagambye nti Ssemateeka akyogerako nti buli muntu asobola okutandikawo ekisinde kye naye bwe kikwatayo obulungi abantu ne baagala okukibba, tebasobola kukiwandiisa nga kisinde okuggyako nga bakiwandiisa nga kibiina kya byabufuzi ekyetongodde.

Yeewuunyizza nti, 'People Power' yawandiisiddwa kye yagambye nti, tekisoboka era abantu basaana kuwabula nti abaagala okubba ekisinde ekyo tebalina we basobola kuyita okuggyako nga bakiwandiisizza nga kibiina kya byabufuzi ekitali kyangu.

Lukwago yategeezezza nti ayagala okukomya ekisinde ekyo asobola kukitwaala nga kkampuni ye naye nga ssi kutwala bigambo nga ye bw'alowooza.

Ekisinde kya 'People Power' kyatandikibwawo omubaka Robert Kyagulanyi 'Bobi Wine' n’ekigendererwa ky’okukunga bannansi okukozesa obuyinza baabwe obubaweebwa mu Ssemateeka balwanyise enkola ya Gavumenti gye batawagira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fot2 220x290

Emizannyo gy'abamusaayi muto gyengedde...

Emizannyo gy'abamusaayi muto gyengedde

Kib2 220x290

Sipiika Kadaga azzeemu okukola...

Sipiika Kadaga azzeemu okukola emirimu gye

Sab2 220x290

Kabaka Mutebi ayozaayozezza obwa...

Kabaka Mutebi ayozaayozezza obwa Kabaka bwa Ghana okutuuka ku myaka 20

Got1 220x290

Omusawo bamusse agenze kuziika...

Omusawo bamusse agenze kuziika e Masaka

Gab2 220x290

Ebya dokita gwe basse bikyalanda...

Ebya dokita gwe basse bikyalanda