TOP

Museveni alagidde basasule famire ya Muhangi

By Musasi wa Bukedde

Added 3rd February 2019

Museveni alagidde basasule famire ya Muhangi

Kab2 703x422

PULEZIDENTI Museveni asazeewo ku nkaayana wakati w’abagagga b’omu Kampala ababiri Drake Lubega ne Mansoor Matovu ‘Yanga’ abattunka ne famire y’omugenzi Charles Muhangi ku ttaka lya paaka ya bbaaasi kwe balina ebizimbe.

Kigambibwa nti Museveni eyabadde ayogera eri kabineeti eyatudde mu State House e Ntebe ku Mmande nga January 28, 2019, yalagidde ebizimbe ebibadde bikaayanirwa biddizibwe abagagga bano ababiri kyokka n’alagira Ssaabawoolereza wa Gavumenti William Byaruhanga okussa mu nkola ekiragiro kye.

Kino kiddiridde okufa kwa Charles Muhangi nga December 6, 2018 bwe yali akyali mu nkaayana n’abagagga bano ababiri eza Qualicel Bus Park ng’agamba nti yiye ate nga n’abagagga abalinako ebizimbe balumiriza nti byabwe kuba baagigulira mu mateeka.

Ensonda mu Kabineeti, zaategeezezza Bukedde nti Pulezidenti yeewunyizza engeri ensonga z’abagagga bano gye zizze zikwatibwa mu kasoobo ng’ate ebiriwo biraga obwannanyini bwabwe ku bizimbe.

Yalagidde Byaruhanga okusisinkana enjuyi zombi n’atuma looya we Florence Kiconco okwetaba mu nsisinkano eno okutuusayo obubaka ku kyaasaliddwaawo.

Ku Lwokubiri, January 29, 2019 Byaruhanga yatuuzizza enkiiko ssatu ng’olusooka lwetabyemu aba famire ya Muhangi okwabadde Nnamwandu Patience Muhangi, maama ne muganda w’omugenzi ne munnamateeka waabwe Wycliffe Arinaitwe, Omugagga Hassan Basajjabalaba ne looya wa pulezidenti Kiconco era nga mwe yabategeerezza ekyasaliddwaawo pulezidenti.

Oluvannyuma, Byaruhanga ne Kiconco baasisinkanye abagagga Drake Lubega ne Yanga abaabadde ne looya waabwe Adam Kirumira ne babategeeza ekyasaliddwaawo.

Mu byasaliddwaawo kwabaddeko ekya Drake ne Yanga okukwata ssente eziri mu buwumbi okuzisasula kkampuni ya Horizon Coaches ey’omugenzi Muhangi ziyambe ku famire era olwo wabeewo n’endagaano ekolebwa okumalawo obutakkaanya bwonna. Kigambibwa nti ebizimbe byabadde bya kubakwasibwa mu bbanga lya nnaku bbiri kyokka ne kiyimirizibwa okutuuka nga Byaruhanga akomyewo.

Drake ne Yanga Bukedde bwe yabatuukiridde baakakasizza okwetaba mu kafubo ne Ssaabawolereza ne famire ya Muhangi era ne basanyukira ekiragiro kya Pulezidenti okukkiriza okubaddiza ebizimbye byabwe n’ettaka. Famire ya Muhangi abamu baakakasizza okwetaba mu kafubo kano kyokka ne bagaana okubaako kye boogera.

Kyokka muto wa Muhangi ayitibwa Alex Katungi ng’ono yaddukanya emmaali ya Muhangi yategeezezza nti, enteeseganya zino abadde tannazimanyaako era ye akyagenda mu maaso n’emirimu nga bwe bibadde bitambula.

Yagambye nti ebigambibwa nti Pulezidenti yalagidde nabyo birabika bikyamu kuba tannalaba ku bbaluwa ya Pulezidenti yonna eyogera ku nsonga eno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kafeera 220x290

Leero luno!

NG’ENSI eri ku bunkenke bw’ekirwadde kya Coronavirus, abamu ku Bannayuganda batandise okubiteekamu omuzannyo bo...

Gaali 220x290

Ono booda agiyita mmotoka?

ONO taata w’abaana ekiragiro kya Pulezidenti eky’emmotoka eza buyonjo okutikka abantu basatu yakifunye bulala....

Bitone2 220x290

Nze sijja kuyimba kambawe akatono...

NG’ABAYIMBI beeyiwa mu situdiyo okukola ennyimba ezikwata ku kirwadde ku Coronavirus n’okukubiriza abantu okugoberera...

Kcca2 220x290

Oba adduse tutwale ekigaali n’emmaali...

OMUVUBUKA eyabadde atundira ennanaansi ku kigaali ebigere tebiba kumweyimirira ssinga kati ali mu mbuzi ekogga....

Njagala ananjagala nga bwendi

Njagala ali wakati w’emyaka 50 - 55, alina omulimu, omwetegefu okundabirira, okunfunira eky’okukola n’okugenda...