TOP

N'omugezi awubwa, amatu tegawulira vvumbe

By Musasi wa Bukedde

Added 3rd February 2019

N'omugezi awubwa, amatu tegawulira vvumbe

Kat1 703x422

Ekinyonyi

NGA tukyagenda mu maaso n'okutunuulira emize, Ssande ewedde twatunuulidde omuze gw'obulagajjavu. Ndowooza naawe wasaasidde Ssaalongo nga yeebabula amazzi nnyini mbu yeefumba. Nnaalongo yatetekanyanga nga Ssaalongo tafaayo kumanya kigenda mu maaso. Olwaleero ate ka tutunuulire omuze gw'obutasonyiwa.

Ensobi zikolwa bantu, wabula abantu abamu bakalubo nnyo ku kusonyiwa n'okuddiramu ababa babasobezza. Awo olwatuuka, ng'enjala "ani amuwadde akatebe?" egwa ku kyalo ekimu.

Yakosa amaka mangi, wabula amaka agamu go tegaakosebwa nnyo. Mu maka ago, omwana yali azannyazannya ng'enkuba y'akakya n'akwata ekinyonyi ekyali kitiitiira. Bwe yakikoonako ne kizaala emmere. Abaawaka baasanyuka nnyo ne bakirukira ekiyonjo ne bakiteekamu ne bakissa mu kiguli.

Lwali lumu, omwana aba azannya ne banne n'abanyumiza nga bwe balina ekinyonyi ekizaala emmere. Baamusaba akireete bakirabeko era bwe yakola, naye ebyembi, bwe yakikoonako, mu kifo ky'okuzaala emmere kyapuluka bupulusi ne kidduka.

Kasajja kattu, ne kagoba ekinyonyi naye ne kalemererwa okukikwata era ne kibula. Kaakaba amaziga okubula okukaggwa mu kiwanga, kye kaava kasalawo kagende eri abakulu kabategeeze nga bwe gubadde. Kaasookera wa jjajja eyali alima era oyo yakakuba kiyini kya nkumbi, bwe kaagenda eri Maama eyali asalira olusuku, yakakuba lusolobyo.

Oyo Taata eyali akomaga, teyakalinda na kubimala mu kamwa, n'akalagira kamwamuke, si kulwa ng’akasaamira ensaamu mu mutwe. Bonna baakagobaganyaga bakalagira kunoonya kinyonyi kyabwe. Mu busoberwa, omwana yagenda n'akwata akalere ke, n'agenda nga bw'akafuuwa nti, "Ogenda wa? " " Ngenda okulaba ennyonyi muzinge " " Ogenda wa? " " Ngenda okulaba ennyonyi muzinge" " Jjajja n'akuba, n'akubira ennyonyi muzinge " Ne Maama n'akuba, n'akubira ennyonyi muzinge" "Ne Ssenga n'akuba n'akubira ennyonyi muzinge " " Ogenda wa? " " Ngenda okulaba ennyonyi muzinge" Yagenda apampuka atyo n'asiyagguka eηηendo, n'asomoka emigga, n'awunguka agayanja okutuuka eyo mu nsi z'ewala. Abantu abaawuliranga engeri gy'afuuwamu akalere baasigalanga bawuniikiridde.

Olwali olwo, n'agguka awaali entujjo. Akalere kaawuniikiriza buli omu, ne bamutuusa ewa Kabaka. Baamwanjula eri Kabaka era n'amusaba amufuuyiremu akalere. Ne Beene kaamukwata omubabiro, bw'atyo n'akasaba kamubuulire ku bulamu bwe. Omulenzi yalumuviira ku ntono, engeri ekinyonyi gye ky'abulamu, okutuukira ddala lwe yatuuka mu maaso ga Kabaka. Kabaka yalagira omulenzi aweebwe ekinyonyi kye wamu n'enkuyanja y'ebintu.

Yakyusa obuufu n'adda ewaabwe. Ab'ewaabwe olwawulira akalere ne beewuunaganya nti, "so tabeera mutabani waffe eyazaawa edda" Baali bakyewuunaganya, nga teriri busa, nga kitawe agguse n'ekinyonyi kyabwe wamu n'enkuyanja y'ebintu.

Yenna N'omugezi awubwa, amatu tegawulira vvumbe yali akamirwa bina era ng’afuuse mugagga muvundu. We yatuukira, yasanga enjala yakya dda n'abawa ekinyonyi kyabwe nti, "Hm, ekinyonyi kyammwe kiikyo kye mwampeeka" Naleka essanyu n'ensonyi bibeefuze ne nzira ewaffe. Nange awo we nnalabira.

Eby'okuyiga bingi naye ka tugabaneko kino kimu 1.Mpaawo atasobya. Omuntu bw'asobya, naddala omwana omuto ekisinga obulungi kumusonyiwa, n'omubuulira obulabe obuyinza okuva mu ky'akoze, n'okumulaga n'ekyo kye yandikoze.

Ebyembi nti abantu abasinga tebawuliriza, buli nsobi ekolebwa egenda na miggo, mbale, wamu n'ebivumo.

Enkola eyo si nnungi kubanga gye muwunzikira omwana obulumi abufuna, naawe amutuntuzza n'omatira kyokka ne watabeerawo kuyiga. Olwo omwana n'atyanga n'okubuuza ne bw'aba alina obuyambi bwe yeetaaga. Tunuulira ako ka kitaawe akaali kazaaye olw'ekinyonyi ate kko kennyini kye keerondera, olwo singa baali baakigula buguzi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Masese11 220x290

Abagoba b'amato e Ssese nabo batadde...

Abagoba b'amato e Ssese nabo batadde wansi ebikola

Mabikengaanyonyolaabakampuniyacceccabakolaoluguudolwabusegampigi 220x290

Kkampuni y'Abachina esenze ebirime...

ABAKOLA oluguudo lwa Busega – Mpigi basenze ebirime by'omutuuze n'alaajanira UNRA okumuliyirira.

China1 220x290

Abachina abaakwatiddwa babagguddeko...

POLIISI yakwongera emisango emirala ku Bachina abaatwaliddwa mu kkooti ku Lwokutaano ne basindikibwa e Luzira....

Kangaliyapoliisingaesazeekoekigokyempigiewabaddemmisa 220x290

Poliisi eggalidde Faaza lwa kujeemera...

POLIISI esazeeko Faaza Kiibi ng'akulembeddemu mmisa mu Klezia y'ekigo ky'e Mpigi n'emukwata n'atwalibwa ku poliisi...

Kab18 220x290

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo...

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo