TOP
  • Home
  • Amawulire
  • ‘Wassajja yeetondere famire ya Ben Kiwanuka’-Kagimu

‘Wassajja yeetondere famire ya Ben Kiwanuka’-Kagimu

By Musasi wa Bukedde

Added 5th February 2019

MUTABANI w’omugenzi Ben Kiwanuka atabukidde mu kakiiko akabuuliriza ku mivuyo gy’ettaka n’akasaba kalagire Omulangira David Wassajja amenyewo ebigambo bye yayogera nti kitaawe yabba ettaka lya Muteesa ery’e Mutungo.

Pampa 703x422

Kagimu ng’alaga akakiiko olupapula lwa NewVision omwafulumidde ebigambo bya Wassajja.

Bya BENJAMIN SSEBAGGALA NE ALICE NAMUTEBI

Maurice Kagimu Kiwanuka, ku Mmande yakedde mu kakiiko n’akategeeza nga Kabaka Mutebi bwe yategeka ne yeebaza Klezia olw’okuyambako Sir Edward Muteesa okutoloka n’asimattuka Obote, n’awa omukadde eyakweka Muteesa ekirabo ky’okumuzimbira ennyumba, ne Wassajja gwe mutima gwe yanditutte okwebaza kitaawe Ben Kiwanuka kubanga kwali kutunda mwoyo okugula ku Muteesa ettaka asobole okufuna ssente ezimubeezaawo mu buwahhanguse.

Omulangira David Wassajja bwe yabadde mu kakiiko wiiki ewedde, yakategeezezza nti kkampuni ya Lake View Proterties yajinga ebiwandiiko n’etunda ettaka lya Muteesa eryali lisangibwa e Mutungo.

Ensonga okutuuka wano, Wassajja ye yaddukidde mu kakiiko n’awawaabira Dr. Muhammed Buwule Kasasa nti ettaka eritudde ku bulooka 237 ku lusozi Mutungo mu Kampala, yatwalako yiika 396.

Kasasa yategeezezza akakiiko nti ettaka yaligula ku Lake View Properties nga baali balisinze mu Barclays Bank gye yaligula.

Kino Kagimu akiwakanya, ng’agamba nti ayagala kutwala Dr. Kasasa mu kkooti annyonnyole engeri gye yagula ettaka mu bbanka ne batamuwa biwandiiko bya kulikyusa.

Kkampuni ya Lake View Properties, bannannyiniyo kwaliko Omugenzi Ben Kiwanuka, Omugenzi Joseph Mubiru eyali gavana wa bbanka ya Uganda enkulu, Munnamateeka Lawrence Ssebalu ne Ssemmanda.

Wano Kagimu we yasinzidde n’ategeeza nti kitaawe yali muntu wa linnya atayinza kwenyigira mu kavuyo ka kubba n’ayongera okukiggumiza nti Wassajja amenyewo bye yayogedde.

Yategeezezza nti Muteesa ng’ali e Bungereza yawa Nalinnya Mpologoma obuyinza okutunda ettaka lino ku lulwe. Empapula ezimuwa obuyinza ne zibagibwa Ben Kiwanuka nga Munnamateeka. Ettaka lye yamuwaako obuyinza lyali liweza yiika 639.

Yaggyeeyo ekitabo ekyawandiikibwa Polof. A.B.K Kasozi: ‘The Bitter Bread of Exile’ ekyafulumizibwa mu 2013 nga kinnyonnyola obulamu Muteesa bwe yayitamu ng’ali mu buwanganguse.

Nga kisimbuliza ebyawandiikibwa mu Taifa Empya nga December 1968. Ben Kiwanuka yannyonnyola nti Muteesa yawa Nnaalinnya Mpologoma obuyinza okutunda ettaka lino.

Wano Kagimu we yasinzidde n’abuuza nti bwe kibeera ng’ettaka lino Ben Kiwanuka yalibba lwaki bino ebyafulumizibwa nga Mpologoma akyali mulamu teyabiwakanya!

“Ssi kituufu nti ettaka twaligula ku Nnaalinnya Mpologoma, twaligula ku Kwemalamala Kintu” Ben bwe yatangaazizza.

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

Kagimu wano we yategeerezza akakiiko nti ebiwandiiko Wassajja by’alina birabika bijigingirire. Omulamuzi yamubuuzizza oba yabadde atutte obudde okutunula mu biwandiiko Wassajja bye yawa akakiiko n’ayanukula nti nedda. Omulamuzi yalagidde akakiiko kawummulemu basooke bawe Kagimu omukisa okutunulako mu biwandiiko bye yabadde ayita ebijingirire. Ettaka lino ligenda kuyitako pulojekiti za gavumenti okuli ekitongole ky’amazzi (National Water) ekyagala ekyapa ku kifo we balina okuzimba ttanka egabirira ekitundu amazzi. Oluguudo lw’eggaali y’omukka olwa Standard Gauge Railway lulina okuyita mu kitundu kino. Bwe baabalirira, gavumenti erina okuliyirira obuwumbi mwenda n’obukadde 400, obuwumbi bubiri n’obukadde 400 baabuwa Dr. Kasasa kyokka naye bwe yazze mu kakiiko n’ategeeza nti ssente Bamafia abali mu gavumenti baazimutwalako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lop2 220x290

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye...

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye Bannayuganda okubeera abaweereza abalungi

Kuba 220x290

Minisitule efulumizza entegeka...

MINISITA w’Ebyenjigiriza n’emizannyo Janet Museveni azzizzaamu abazadde, abayizi n’abasomesa essuubi nti singa...

Kip1 220x290

Geo Steady ne mukazi we, Prima...

Geo Steady ne mukazi we, Prima omulamwa gwa Corona bagutegeera

Lab1 220x290

Fifi agabidde eb’e Ggaba eby’okukozesa...

Fifi agabidde eb’e Ggaba eby’okukozesa mu kiseera kya Kalantiini

Shutterstockeditorial10434333bm 220x290

Coronavirus: Amerika kiri bubi,...

Corona ayongedde okwewanisa abantu emitima okwetooloola ensi yonna era Pulezidenti wa Amerika Donald Trump yalabudde...