TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Natya okuleeta omwana wa Radio Moze lwa bigambo by'abantu - Mwima

Natya okuleeta omwana wa Radio Moze lwa bigambo by'abantu - Mwima

By Martin Ndijjo

Added 7th February 2019

EYAALIKO Nnalulungi wa Uganda, Dorah Mwima yeewuunyisizza abaawulidde bwe yavuddeyo nga wayise omwaka mulamba bukya muyimbi, omugenzi Moze Radio (Moses Ssekibogo) afa n’ategeeza nga bw’alina omwana ow’emyaka omunaana gwe yamuzaalamu.

Untitled1 703x422

Mwima n’abaana be. Ku kkono y’agambibwa okuba owa mugenzi Moze.

Mwima eyawangula engule ya Miss Uganda 2008/2009 era nnannyini kibiina ky’obwannakyewa ekya ‘Dorah Mwima Foundation’ agamba nti, okumala ebbanga lino lyonna ng’asirise, abadde atya bigambo by’abantu omuli n’abayinza okulowooza nti ayagala kugabana ku by’obugagga by’omugenzi.

“Olw’embeera eyaliwo n’okwewala ebigambo by’abantu, nasalawo kino okukikuuma nga kyama era saagala ba famire oba omuntu yenna okulowooza nti okuvaayo nti nze oba mutabani wange tulina ku bintu by’omugenzi bye twagala kubanga neesobola era hhenda kusigala nga ndabirira mutabani wange.”

Amawulire gano gaawuniikirizza abantu n’abamu ne batuuka n’okwebuuza bulijjo gy’asirikidde okutuusa okuvaayo nga wayise omwaka mulamba.

Mwima bino yabifulumirizza ku mukutu gwe ogwa ‘Face Book’ oluvannyuma lw’okwekengera abantu b’agamba nti babadde bateekateeka kwasanguza ekyama kye kino kye yeekuumidde okumala ebbanga era nti yatidde nti bano mu kufulumya amawulire gano babadde basobola okukoleramu ensobi kwe kusalawo abyeyogerere.

Laavu ye ne Moze

Mu bubaka bwe annyonyola nti; “Nasisinkana abavubuka ba Goodlyfe (Moze ne Weasel) mu 2009 oluvannyuma lw’okuwangula engule ya Miss Uganda mu 2008 okulaba nga bannyambako okutumbula emirimu gy’ekibiina kyange ekya ‘Dorah Mwima Foundation’ kye natandikawo okubaako emirimu gy’obwannakyewa gye nkola.

Wano nafuna enkolagana eyenjawulo ne Moze Radio kyokka laavu yaffe yali ya kaseera kubanga twayawukanira mu bbanga ttono.

Nakizuula luvannyuma nti ndi lubuto naye olw’okuba twali tumaze okwawukana era nga nkizudde nti Moze alina enkolagana ey’enjawulo ne Lillian Mbabazi ate nga ntya eby’okuggyamu olubuto.

Olw’embeera eyaliwo nasalawo ntobe n’olubuto ne Moze saakimugamba nga ntya ebiyinza okuddirira.

Azaala omwana

Nga April, 2, 2010, nnazaaala omwana omulenzi ne mutuuma Ethan Barrak era wano we natandikira obuvunaanyizibwa bwange ng’omuzadde ku myaka 19.

Saayagala kutegeeza nsi nti nzadde omwana wa Moze wadde okumutwalira Moze kubanga nnali saagala mwana wange kukulira mu bulamu obwa masappe kubanga ayinza okwonooneka.”

Wabula Mwima agamba nti ekisinga okumuluma ye Moze okufa nga tamwanjulidde mu butongole mutabani we era bakkiriziganya enfunda bbiri okusisinkana ne kitasoboka.

Agamba nti mu 2013 ng’afumbiddwa omwami we Nader Barrak eyali akulira kkampuni ya Darling ekola obuviiri bw’abakyala alabirira mutabini we ono, baayogera ku ky’okusisinkana Moze bamwanjulire mutabani we mu butongole.

Kino tebaasobola kukikolerawo oluvannyuma lwa bba okusindikibwa e Burundi okukolerayo.

Nga bakomyewo mu Uganda ku nkomerero ya 2016, baayogera ne Moze okumusisinkana ekitaasoboka era ne mu 2017 era bwe kyali naye ng’abadde agoberera buli kimu.

Agamba nti wadde ng’ensonga z’omwana ono mawulire eri aba famire ya Moze, Mwima agamba nti, ku Lillian Mbabazi (omu ku bakyala b’omugenzi), gano si mawulire kubanga mu September w’omwaka, yamutuukirira n’amuyitiramu ensonga zonna bwe zaali era kati abaana ba Lillina Asante ne Izuba bakimanyi nti balinayo muganda waabwe Ethan.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kazi 220x290

Eyandesa omulimu ansuddewo

NZE Mediatrice Kubwimana 28, nzaalibwa Burundi naye nga mbeera Namugongo Zooni II. Mu 2011, nafuna omulimu gw’obwayaaya...

Civil 220x290

Omukazi atagambwako yali antamizza...

ENNAKU gye ndabidde mu nsonga z’omukwano mpitirivu era nabulako katono okugwenenya.

Funa 220x290

Eyantwala ku yunivasite yanzitattana...

NZE Jennifer Alwoch 26, mbeera ku kyalo, Adyel mu Lira. Bazadde bange bampeererako okutuuka mu S6 naye ssente ezinyongerayo...

Ssenga1 220x290

Lwaki mpulira sirina maanyi ga...

SSENGA mpulira nga sirina bulungi maanyi ga kisajja. Naye bwe neegatta amaanyi ngafuna bulungi naye ndowooza nti...

Ssenga1 220x290

Ensundo ya muganzi wange entiisa...

SSENGA nnina omuwala gwe njagala naye alina ensundo empanvu ku kisambi. Mugamba agende mu ddwaaliro agamba nti...