TOP

Nneevuma ekyanfumbiza ku myaka emito

By Musasi wa Bukedde

Added 7th February 2019

NZE Irene Nayiluba, 24 mbeera Makerere -Kavule mu Kiggundu Zooni mu Munisipaali y’e Kawempe. Twasisinkana ne baze nga naakamala P7 nga ndi wa myaka 14.

Funa 703x422

Ebiseera ebyo nnali mbeera mu bazadde bange e Luwuka mu disitulikiti y’e Kiyunga. Omusajja ono twasisinkana mu kkubo era mwe yankwanira.

Nga wayise ebbanga nga tuli mu mukwano, yansaba nve awaka tutandike okubeera ffembi.

Olw’okuba nnali mmwagala, saagaana wabula namuteekako akakwakkulizo nti okuva awaka alina kusooka kujja mu bazadde mmwanjule ekintu kye yakkiriza era ne ntegeeza abazadde.

Abazadde baasooka ne bagaana okukikkiriza nti ηηenda kubaleetera omusajja ate nga nkyali muto, naye engeri gye nnalina omukwano eri omulenzi ono, nagezaako ne mbamatiza okutuusa lwe bakkiriza.

Baze naye yalaga ennaku z’omwezi mwe yali agenda okugendera mu bazadde era ne tutegenda awaka era ng’enteekateeka z’okwanjula bwe zibeera era omukolo gwatambulira ddala bulungi bwatutyo ne tutandika obufumbo bwaffe.

Newankubadde ssente tezaaliwo nnyingi, twatandika okukola obutaweera tusobole okwezimba baze yali mulimi nange engeri gye nnali nkulidde mu kyalo ng’okulima nkutegeera bulungi.

Twayawula ennimiro zaffe nga bulyomu alima bibye naye ng’akaseera k’amakungula bwe katuuka tubigatta ne tubitunda ne tufunamu ssente ezaatuyambangako awaka. Nga wayise ekiseera, nafuna olubuto ne ntegeeza baze.

Teyampisa bubi twagenda mu maaso n’okukuza olubuto okutuusa lwe nnazaala era ng’obufumbo bwaffe butambula bulungi.

Baze yatandika mpola okukyusa mu nneeyisa nga n’obugambo bwe yampananga nga sikyabuwulira.

Wamma n’ankubanga olutatadde nga ne bwe tulima ffembi tetukyagatta bintu nga bwe kyali.

Tuba tukyali kw’ogwo, laba ate bwe nfuna olubuto olwokubiri ne mmutegeeza, yanziramu kimu nti ye yakoowa okuzaala noonye agenda okulabirira olubuto.

Teyakoma awo, yatandika okunkuba ng’agamba nti ayagala luveemu.

Yagambanga nti ajja kuntulugunya okutuusa bwe naavaawo kuba yankoowa dda era n’akituukiriza.

Nnali nnalima emboga nga zibaze bulungi nga neesunga kuzitunda nfune ssente z’entandikwa nsobole okumuviira kuba nali nkooye okuntulugunya.

Mba ndi mu nnimiro nga ngezaako okulambuza abaguzi ne wavaayo omwami n’aηηamba nti nnyabo ebyo by’otunda bibyo? kyokka emboga baze yali yazitunda dda nga simanyi.

Mba nkyali awo baze n’ajja n’antegeeza nga bwe yaηηamba edda nti mu maka sirinaawo kintu era nti muviire nga bwenajja.

Ekinnuma ze ssente zange ze yatunda mu mboga zange ate n’aziwasaamu omukazi omulala n’amuleeta ne mu maka mwe tubeera. Embeera gye ndimu nzibu kuba yangoba nga sirina ne wentandikira.

Nsaba abazirakisa abasobola okunnyamba ne nfuna eky’okukola bannyambe nsobole okulabirira abaana bange. Ndi ku ssimu, 0779411286.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fire1 220x290

Obubenje bwatuze 32 mu wiikendi...

OMUWENDO gw’abantu abaafi­iridde mu bubenje obwaguddewo ku Ssande gulinnye nga baweze 32.

Aniteweb 220x290

Bamafia baagala kunzita - Anite...

MINISTA omubeezi avunaanyizibwa ku bamusiga nsimbi, Evelyn Anite avuddeyo n’alaajana ku bamafia abaagala okumutta,...

Isabirye1 220x290

Mzee Kifansalira owa NRM bamugoba...

KAKUYEGE wa NRM mu Bwaise, Isabirye Musa amanyiddwa nga “Kifansalira” asula ku tebuukye olwa landiroodi we okumulaalika...

Urawebnew 220x290

URA emalidde mu kyakutaano mu za...

URA FC ewangudde Wakiso Giants mu mpaka za Pilsner Super 8

Mustafi000 220x290

Mustafi wa Arsenal agenda

Roma eya Yitale, ye yagala okumuggya mu Arsenal