TOP

Olutalo ku mpaka z'obubina

By Kizito Musoke

Added 8th February 2019

Olutalo ku mpaka z'obubina

Bu1 703x422

Abamu ku bawala abagenda okwetaba mu mpaka zino. Ku ddyo ye Annie Mungoma omutegesi ate mu nkofiira ye minisita Kiwanda.

OLUTALO kakuzzi lubaluseewo ku mpaka z’obubina baminisita bwe batabuse ne minisita munnaabwe, Godfrey Kiwanda ow’ebyobulambuzi eyaziwomyemu omutwe nga bagamba nti buseegu.

Abamu baatuuse okwebuuza nti mu August wa 2016, minisita ono bwe yali atongoza empaka za capati za 'rollex', yaziryangako okukakasa ky’atunda okusikiriza abantu naye kati empaka z’obubina anaazikakasa atya!

Empaka zikutte akati nga buli muntu azoogerako nga bw’alabye, abaziwagira nga bagamba nti za kuyamba abawala abanene okwekkiririzaamu ng’abatono bwe bazze bakola abalala nga bawakanya nti, zigenda kuleeta obwenzi n’okulowoozesa abaana nti balina kubeera banene.

Kiwanda yatongozza empaka ezaatuumiddwa Miss Curvy Uganda ku Lwokubiri ku Mestil Hotel e Nsambya oluvannyuma lw’omukyala, Annie Mungoma okuleeta ekirowoozo n’aweebwa ne satifikeeti emukkiriza okuzitegeka mu June w’omwaka guno. Mungoma yatangaazizza nti abawakanya empaka balowooza nti abakyala abalina ‘hips’ abanoonyezebwa bavuganye, be bagenda okussa mu bifo by’ebyobulambuzi n’agamba nti bagenderera kulaga nti, Bannayuganda baakula bulungi.

MINISITA ANYWEREDDE KU MPAKA

Kiwanda eyabadde ku mirimu gy’ebyobulambuzi e Moroto eggulo yategeezezza Bukedde ku ssimu nti tagenda kuddiriza ku by’empaka ezo kubanga ziyambye abantu bangi n’amawanga mangi gye ziri nga e Ghana, Nigeria, South Afrika n’awalala.

Agamba nti abakyala abanene kati be baliko so ng’edda abantu baabatwalanga ng’abaakula obubi. Minisita agamba nti waliwo be yawulidde bagamba nti kijja kuleetera abawala okumira eddagala bafuuke banene kwe kubuuza nti lwaki bulijjo abanene tebamira ddagala bakogge ng’abatono abaludde nga be baliko.

Yagasseeko nti nga ye minisita w’eggwanga ow’ebyobulambuzi, ensonga y’obubina agiwa buwi feesi nga ye avunaanyizibwa ku byobulambuzi era tali nga baminisita abalala abeekwekerera ensonga ezibakwatako kyokka ssi ye mutegesi.

Nti talabawo mutawaana Uganda bw’evuganya mu bubina ng’abasajja bwe bavuganya mu mifumbi nga tewali abagambako ate nga bali na bwereere ekitajja kuba ku mpaka za bubina. Yabuuzizza nti abawakanya nga tebawakanya Miss Uganda nga naye akwata ku bakyala ate nga nakyo kikwata ku nkula yaabwe.

Mungoma eyategese empaka za Miss Curvy Uganda 2019, agamba nti ensi emanyi Rwanda lw’abakyala abalina ‘figa 6’ ezirina ‘hips’ ate nga ne Uganda ezirina era kibayambye ne Uganda bw’etyo abaana balina ‘waaka’ alina okusiimibwa.

ABAWAKANYA BASITUDDE ENKUNDI

Fr. Simon Lokodo era nga ye minisita w’empisa, yalayidde okukola n’amaanyi ge gonna ekisoboka okulaba ng’empaka zino tezibaayo kubanga zityoboola ekitiibwa ky’Abakyala.

Ssaabalabirizi w’Ekkanisa ya Uganda, Stanley Ntagali yafulumizza ekiwandiiko ku lw’Ekkanisa n’asaba empaka ezo zisazibwemu. Yazivumiridde ne minisita omubeezi ow’ebyobulambuzi Kiwanda n’amutwaliramu n’asaba abantu bonna abaziri emabega okuzisazaamu.

“Zino zityoboola ekitiibwa ky’abakazi ne kaweefube waffe ng’ekkanisa gwe tuludde nga tulwanako ow’okusitula okusoma kw’abaana abawala n’abakazi kuba baamugaso mu nkulaakulana y’eggwanga n’amaka” Ntagali bwe yagambye. Ekikolwa ky’okwolesa obubina yakiyise kya nsonyi ekityoboola eggwanga n’ekitiibwa ky’amaka. Ekyakoleddwa yagambye nti kiraga ensi nti Uganda eseeseetuse okuva weebadde emanyiddwa.

Yasabye buli muntu okulwanyisa empaka zino zisobole okusazibwamu. Sylivia Nayebare (omubaka omukazi/Gomba) era ayogerera ekibiina kya UWOPA ekigatta ababaka ba Palamenti abakazi. "Ekyasinze okummalamu amaanyi kwe kubeera ng’abakazi be tulwanirira obutatyoboolwa ate bo baavuddeyo mu bungi nga tewali abakase ne balaga nti bakisanyukidde ekyakoleddwa.

Obuzibu obusinga obuli mu mpaka zino kwe kubeera nti zijja kwongera ebikolwa by’okutulugunya abakazi ng’okubakwata ku bubina ng’abantu babalaba ng’ekyobulambuzi", bwe yayongeddeko.

Haji Abdu Nsereko Mutumba - Omwogezi wa UMSC, yeebuuzizza engeri empaka zino gye zigenda okusalibwamu kuba akyebuuza ekipimo n’omusazi ne by'agenda okusinziirako. "Empaka zino ng’Abasiraamu tebakkiriziganya nazo kuba zirimu okulaga ebitundu by’ensonyi ekitakkirizibwa mu ddiini", bwe yakkaatirizza.

Yawabudde Kiwanda nti yandibadde afaayo ku bintu ebyazaawa nga enkumbi ehhanda okulaba nga binoonyezebwa ne biteekebwa mu makuumiro g’ebyafaayo kuba bigatta ku kumanya kw’abantu.

Yagambye nti abantu bwe bataalwanyise mpaka zino bajja kwesanga ng’olulala bategese n’empaka z’abasinga amatama ekinaddako kujja kuba kutegeka za bali bukunya.

Winnie Kiiza (omubaka omukazi / Kasese) Kiwanda asooke aleete mukyalawe amuteeke mu mpaka z’abavuganya n’abalala balyoke bajje. Kyokka naye simuwagira kumuteekayo kuba mukazi munnaffe.

Ekikolwa ky'aliko kitulaga nga ffe abantu abalina buvunaanyizibwa abaliwo okukozesebwa. Kiwanda mmusuubira okubeera nga yandibadde yeetondedde dda abakazi ba Uganda ne Uganda yonna okutwaliza awamu era n’atakoma awo, wabula n’alekulira.

Daudi Malagala (Katikkiro w’ekika kye Mbwa) Minisita bye yatongozza bivvoola obuwangwa n’eddiini. Birimu ba mpaane, ekibi nti minisitule agitwala nga maka ge. Akola nnyo ebintu nga teyeebuuzizza ku mukama we.

Nga twakamala empaka z’obwannalulungi ezaakaggwa era nga zituweesa ekitiibwa. Alinga agamba nti Abenakyo y’asinga akabina akanene mu Afrika yonna. mu makuumiro g’ebyafaayo kuba bigatta ku kumanya kwa bantu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fot2 220x290

Emizannyo gy'abamusaayi muto gyengedde...

Emizannyo gy'abamusaayi muto gyengedde

Kib2 220x290

Sipiika Kadaga azzeemu okukola...

Sipiika Kadaga azzeemu okukola emirimu gye

Sab2 220x290

Kabaka Mutebi ayozaayozezza obwa...

Kabaka Mutebi ayozaayozezza obwa Kabaka bwa Ghana okutuuka ku myaka 20

Got1 220x290

Omusawo bamusse agenze kuziika...

Omusawo bamusse agenze kuziika e Masaka

Gab2 220x290

Ebya dokita gwe basse bikyalanda...

Ebya dokita gwe basse bikyalanda