PULEZIDENTI Museveni akuzizza abajaasi ba UPDF abasukka 2,031 omuli ne mutabani we Maj Gen Muhoozi Kainerugaba gwafudde Lt General.
Abaasinze okufuna amadaala aga waggulu kuliko; Lt Gen Ivan Koreta ne Lt Gen Joram Mugume abakuziddwa ne bafuulibwa ba Genero abajjuvu. Amadaala gonna bagamazeeyo.
Abalala ababadde ku Maj General ne bafuulibwa ba Lt. General kuliko; Muhoozi Kainerugaba, Pecos Kutesa, John Mugume, Proscovioa Nalweyiso, Charles Awany Otema, James Nakibus Lakara, Awany Otema, James Musanyufu, Elly Kayanja, Eric Kayanja, Charles Lutaaya, Peter Elwelu ne Peter Elwelu.
Abaavudde ku Brig. ne bafuuka Maj Gen kuliko; Sabbiiti Mzee omumyuka w'omuduumizi wa Poliiisi, Burundi K Nyamunywanisa, Sam Kiwanuka, Samuel Kawagga, Joseph Arocha, Samuel Wasswa, Samuel Wasswa, n’abalala.