TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Obadde okimanyi nti Stevia ow'amazzi asobola okukuggya ku mwenge n'essigala ? Soma emboozi y'omukenkufu

Obadde okimanyi nti Stevia ow'amazzi asobola okukuggya ku mwenge n'essigala ? Soma emboozi y'omukenkufu

By Musasi wa Bukedde

Added 9th February 2019

Obadde okimanyi nti Stevia ow'amazzi asobola okukuggya ku mwenge n'essigala ? Soma emboozi y'omukenkufu

St1 703x422

WIIKI eziyise nzize nkulaga engeri gy’oyinza okufuna emigaso gy’obulamu ne ssente mu ssukaali wa Stevia. Nasemba nkulaze emigaso egiri mu Stevia ow’ensaano.

Leero kankubuulire ekyama ekiri mu Stevia ow’amazzi. Kino nkikola kuba bangi muwangudde endokwa za Stevia oluvannyuma lwokugula ddulaaya ne ttule kwe bamereza amamera byombi ebigula akakadde kamu.

Abantu ab’enjawulo ebiragalalagala bibabonyaabonya, abamu bibalemesa okulya, bibagobya ku mirimu ate abazadde abaana babeewagguddeko lwa kunywa mwenge, njaga, mayirungi, sigala n’ebirala. Abamu batuuka n’okubaggyamu obwesige.

Bangi bafubye okubivaako naye kigaanyi ate abeekase okubivaako baggyeemu obulwadde olw’okubivaako omulundi ogumu oba okubivaako nga tebeesiimidde. Bwe tuba twogera ku njaga, mulimu ekirungo kya ‘THC’ kino agifuweeta kimugenda ku bwongo, obwongo ne bukola ekirungo ekireeta essanyu kye bayita ‘Dopamine’.

Ku mulundi ogusooka, ayinza obutafuna ssanyu eryo wabula gy’akoma okufuuweeta enjaga asobola okufuna essanyu lino n’ayongera okugifuuweeta ekivaamu kutta butoffaali bwa bwongo ekiyinza okumuviirako okutabuka omutwe. Kye kimu ne ku banywa omwenge, oli tafunirawo ssanyu ku ccupa esooka, wabula gy’akoma okweyongera n’essanyu okulinnya.

Sigala bwatyo, amayirungi n’ebirala. Ebirungo eby’enjawulo mu biragalalagala bino bituula ku bwongo buli kiseera abikozesa n’awulira ng’alina ekimusindika okwongera okubikozesa. Ggwe asoma bino, obadde okimanyi nti omuddo gwa Stevia guvaamu omubisi oguyamba omuntu okuva ku mwenge, enjaga, amayirungi, sigala n’ebirala? Stevia ow’amazzi alimu ekirungo kya ‘REB A’ ekiyamba okutta obwagazi omuntu bw’alina ku biragalagala.

Mu mbeera eno omuntu okwewonya kino, alina okukozesa Emboozi z’omukenkufu Julius Nyanzi owa Prof bioresearch Stevia ow’amazzi (aba akamuddwa ne guba ng’omubisi ogufaananako amata). Omuntu ebiragalagala gwe byawasa atonnyeza amatondo 10.

Gatambula ne gatuuka ku bwongo ne gaziyiza ebiragalalagala okutuula ku bwongo olw’ekirungo kya ‘REB A’ ekirimu. Wabula omuntu asigala abikozesaako mpola okutuusa lw’abivaako era tekitwala bbanga ddene n’aba nga takyabyagala.

Ebiragalalagala birina obuzibu kuba bikosa obwongo, n’otunuulira omusajja eyali omugezi ku mulimu nga kati omwenge gw’amumalayo yenna. Bireeta obutabanguko mu maka, omwami oba omukyala abikozesa n’alemwa okukola.

Omuntu anywa omwenge oba okufuuweeta enjaga n’abulwa n’amaanyi agakola emirimu egimuyimirizaawo n’abantu be.

Abamu ate bafuna obuzibu ne batuuka n’okulwala puleesa, abamu batabuka omutwe era e Butabika obasangayo. Ggwe abivuddeko, kozesa butto ava mu kalittunsi owa ‘lemon’ omugattemu kaamulali omuddugavu okwoza omusaayi.

Prof Bioresearch bali ku 0779- 519652 / 0702-061652 oba kyalira edduuka lyaffe ku Equatorial Mall, Level 2, Edduuka nnamba 152.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Segawa1 220x290

Ssegawa gwe yalonda mu bakazi 50...

OMUYIMBI Vincent Ssegawa atabuse n’omukazi gwe yakozesa yintavuyu n’asinga abalala 50 mwe yamulonda.

Abamerika bakubye Trump mu mbuga...

ABAKULEMBEZE b’amasaza g’America 16 bawawaabidde Pulezidenti Donald Trump nga bamulumiriza okwagala okukozesa obubi...

Wana 220x290

Muto wa Ssemwanga, abadde amansa...

BAAMUTADDE ku mpingu ne bamuggyamu n’engatto, nga toyinza kulowooza nti y’oli abadde amansa ssente mu bbaala z’omu...

Kola 220x290

Ensonga ezaaviiriddeko Muhangi...

HERBERT Muhangi eyali owa Flying Squad yabadde yaakayimbulwa ku kakalu ka kkooti, abaserikale ne baddamu ne bamuyoola...

Kwata 220x290

Bannayuganda e London bajjukidde...

OMUSUMBA wa Kasana Luweero Paul Ssemwogerere akulembeddemu Bannayuganda abali e London mu Bungereza okujaguza emyaka...