TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Engeri Kabaka gye yalonze abaasisinkanye Museveni

Engeri Kabaka gye yalonze abaasisinkanye Museveni

By Dickson Kulumba

Added 9th February 2019

Engeri Kabaka gye yalonze abaasisinkanye Musevenic

Jib1 703x422

Katikkiro Mayiga ng’abuuza Museveni. Ku kkono ye Kabaka n’omulangira Wasajja.

TTIIMU Kabaka Mutebi II gye yasiimye okwetaba mu nsisinkano ye ne Pulezidenti Museveni mu Lubiri e Bbanda yagironze n’obwegendereza okusinziira ku nsonga ezaabadde zigenda okuteesebwako. Katikkiro Charles Peter Mayiga, mu bukulu bwe ng’alamulirako Kabaka Obuganda yabadde alina okubeeramu.

Abadde mu nteseganya z’Ebyaffe emirundi gyonna era y’abadde akulemberamu ekibinja ky’Obwakabaka okujjukiza Gavumenti okuteeka mu nkola ebyakanyizibwako mu ndagaano eya 2013.

Daudi Mpanga, Ono ye Ssaabawolereza wa Buganda era mu bukulu bwe alina okubeerawo okutaputa ensonga zino n’okuwabula ku bikwatagana n’amateeka ku ludda lwa Buganda. Yabadde ku bbali awo ng’alindiridde okuwa entaputa yonna bakama be gye babeera beetaaga. Ono mu bukugu bwe, mmundu mmenye esobola okuttuunka obulungi ne Ssaabawolereza wa Uganda aliko kati, William Byaruhanga eyabaddewo ku ludda lwa Gavumenti naye okuwabula ku by’amateeka ku ludda olwo.

David Kintu Wasajja, ono muganda wa Kabaka omuto era y’omu ku bali ku lukiiko lw’Obwakabaka oluvunaanyizibwa ku BYAFFE. Enteeseganya z’okuddiza Buganda ebyaffe azirimu wakati era emirundi gyonna abadde azibeeramu ku ludda lwa Mmengo.

Amb. Emmanuel Ssendaula,ono ye mumyuka asooka owa Katikkiro wa Buganda era omwami wa Kabaka asinga obumanyirivu mu baliwo ensangi zino mu Gavumenti ye.

Y’atwala ensonga z’obukulembeze (Administration) e Mmengo ate omulundi Katikkiro Mayiga gwatagenda mu maka g’Obwapulezidenti e Ntebe okunona ebimu ku byapa, Amb. Ssendaula ye yakulemberamu ekibinja ky’Obwakabaka okusisinkana Pulezidenti.

Ono era ye yayaniriza Museveni ku lwa Gavumenti ya Kabaka, Mayiga bwe yabadde tanatuuka mu Lubiri. Amb. William Matovu, ono ye Minisita w’Enkuluze era Omuwabuzi omukulu mu Lubiri.

Ensonga zonna ezikwata ku bigenda mu maaso mu Lubiri azibeeramu era azze yeetaba mu nsisinkano nnyingi ezirimu Kabaka ne Pulezidenti ezibadde zitegekebwa mu maka g’Obwapulezidenti era nga y’omu ku bakungu abaludde e Mmengo. Joyce Mpanga, ono mukiise mu lukiiko lwa Buganda olukulu era ng’ono ye nnyina wa Ssaabawolereza w’Obwakabaka bwa Buganda Daudi Mpanga.

Y’omu ku bantu abaliwo abeebuuzibwako ku bya Buganda era abasobola okukunyumiza obulungi akasambattuko ka 1966 kubanga bba Fred Mpanga ye yali Ssaabawolereza wa Gavumenti ya Buganda ku mulembe gwa Ssekabaka Muteesa II.

Ensonga ya Muteesa House e London emu ku zaayogeddwako mu nsisinkano eno, agimanyi bulungi olw’ebbanga eddene lye yamala e Bungereza. Peter Mpanga, ono ye muwandiisi omukulu ow’ekyama eri Kabaka Mutebi II era olw’obukulu bwe ensisinkano eno y’abadde alina okugibeeramu.

Douglas Mukiibi, ono ye Mumyuka w’omuwandiisi ow’ekyama owa Kabaka era ye yabadde mu mitambo gy’okuwandiika buli kimu. Akyali muto ku mukama we ate era musajja Munnankobazambogo ebintu bya Buganda abitegera bulungi era ayogerwako ng’omu ku baweereza abato abalungi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab2 220x290

Wali muyigiriza ow'ekisa

Wali muyigiriza ow'ekisa

Lip2 220x290

Okufa kwa Namirimu kwatufumise...

Okufa kwa Namirimu kwatufumise nga ffumu

Tip2 220x290

Bannange nze siri mulogo ebyawongo...

Bannange nze siri mulogo ebyawongo bye bintawaanya

Kid2 220x290

Ono muzeeyi omwenge aguyodde nga...

Ono muzeeyi omwenge aguyodde nga bijanjaalo

Got2 220x290

Abasuubuzi mu katale k’e Kitintale...

Abasuubuzi mu katale k’e Kitintale bali ku bunkenke