TOP

Amagye gakutte abatta aba bodaboda e Mukono

By Musasi wa Bukedde

Added 9th February 2019

Amagye gakutte abatta aba bodaboda e Mukono

Seb3 703x422

AMAGYE gasanze obuzibu okutaasa abasajja babiri abagambibwa okubeera emabega w’okutta abatuuze n’okubba bodaboda e Mukono n’ebitundu ebiriraanyeewo. Kigambibwa nti waliwo eyatemezza ku b’amagye nga Mike Agasha ne Ronnie Asiimwe bwe beenyigidde mu kutugumbula abantu era ne bagenda okubakwata.

Embeera yasajjuse oluvannyuma lw’abazigu okulumba Rogers Matembe omuvuzi wa bodaboda ku siteegi y’e Wantoni, ne Ssemake ow’e Kisoga ku luguudo oluva e Mukono okudda e Katosi ne babafumita ebiso nga Ssemake baamusoosezza mu ddwaaliro ly’e Herona gye yaggyiddwa n’atwalibwa e Mulago ng’embeera ye, eyongedde okwonooneka. Okukwata abantu bano kwakoleddwa mu kiro ekyakeesezza ku Lwokusatu wakati w’essaawa 3:00 ez’ekiro ne 5:00.

Abaakwatiddwa baatutte amagye gye basula e Ddandira ng’eno gye baasanze bodaboda eteeberezebwa okuba enzibe nnamba UDS 502S, ttivvi, leediyo, jaketi, kompyuta n’ebintu ebirala ebiteeberezebwa okuba ebibbe. Abatuuze olwalabye bodaboda nga bagifulumya ne batabuka era amagye gaasanze akaseera akazibu okubataasa ku bantu abaabadde bataamye obugo nga baagala okubagajambula.

Abantu obwedda babakasukira amayinja nga baagala okubaggyako abasibe babeekolereko. Omuduumizi wa poliisi mu disitulikiti y’e Mukono, Rogers Sseguya yakulembedde abasibe nga bali n’abapoliisi ne baddaayo mu nnyumba nga banoonya lisiiti kwe baagulira ebintu ebyasangiddwa mu nnyumba kyokka nga temuli wadde emu.

Aba LC b’ekitundu baabaddewo nga bagoberera ekigenda mu maaso. “Tumanyi obulumi bwe mulina ng’abatuuze wabula mbasaba mubeere bakkakkamu muleme tukwalira mateeka mu ngalo. Nsaba tuwe omukisa abaserikale banoonyereze bafune obujulizi obumala n’oluvannyuma abasibe bavunaanibwe,” Sseguya, bwe yakkakkanyizza abatuuze abaabadde tebasalikako musale.

Disitulikiti y’e Mukono kigambibwa nti erimu obusamize, okuwamba abaana, okukwata abakazi, ettemu, n’obubbi nga kino kye kimu ku kyawaliriza Gavumenti okusindikayo amagye okuyamba ku kukuuma obutebenkevu.

Abamu ku battiddwa kuliko; John Andrew Otim, Geoffrey Musaazi, ne Julius Twesigye ng’abatemu baasooka kubabbako pikipiki zaabwe. Twesigye yakubibwa akayondo ku mutwe n’afiira e Namiryango mu Divisoni y’e Goma nga Musaazi naye yali muvuzi wa bodaboda ng’akolera ku siteegi y’e Katosi mu ggombolola y’e Ntenjeru gye baamuttira.

Kigambibwa nti ebimu ku bifo ebisinga okuba ebyobulabe mu Mukono kuliko; Ddandira, ng’eno tebakoma ku kuyingirira bantu mu mayumba ekiro wabula waliwo emmotoka eziwerako ezibbiddwa wamu ne bodaboda nga n’eya Kabenge nnamba UDY 420X teyalutonda.

Omwaka oguwedde, waliwo omwana Shafik Kimera ow’emyaka12, eyawambibwa kyokka omulambo gwe ne guzuulibwa e Mukono g’abaawamba omwana baali basabye bazadde be obukadde bubiri.

Livingstone Ssebunya yatemako omwana ow’emyaka ebiri omutwe ku mwalo gw’e Zingola mu muluka gw’e Bugombe, mu ggombolola y’e Kkoome e Mukono. Fred Katukaya yakwatibwa aba Flying Squad olw’okutta mukazi we.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kis1 220x290

Omulimu gw'okuzimba ekisaawe kya...

Omulimu gw'okuzimba ekisaawe kya Nakivubo gutambula bulungi

Sarangabaagaembuzinekikondekyekunokwebayitaokugikubaekikondeweb 220x290

Ntunda mitwe gya mbuzi okuweerera...

Emitwe gy'embuzi gye nsasulwa mu kuzibaaga mwe mpeeredde abaana n'okwongerako emirimu emirala.

United1 220x290

Kiikino ekizembe kw’olabira Dubai...

DUBAI eyongedde okussaawo likodi! Ku kizimbe ekisinga obuwanvu mu nsi yonna, egasseeko ekizimbe ekyakulanga “Fuleemu”...

Langa 220x290

Owange mmuweweeta ku katto k’abakyala...

SHARON Arinitwe w’e Kosovo: Owange mmukwata mu matu n’okuweeweeta ku mutwe gwa mutaka nga bwe mmukomberera okuva...

Bano 220x290

Ebifo ebiterese obuswandi bw’abasajja...

OBADDE okimanyi nti omusajja yenna yeetaaga okukwata mu ngeri ey’enjawulo nga muli mu buliri okusobola okuwangaala...