TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Yiga olukomyewo okuva South Africa atuukidde mu Komera

Yiga olukomyewo okuva South Africa atuukidde mu Komera

By Musasi wa Bukedde

Added 10th February 2019

Yiga olukomyewo okuva South Africa atuukidde mu Komera

Yip1 703x422

Yiga ng’atuuka ku poliisi y’e Kawempe.

PAASITA Yiga 'Mbizzaayo' olukomyewo mu ggwanga atuukidde mu kaduukulu ka poliisi e Kawempe ku misango gy’okusobya ku muwala n’amuzaalamu omwana ate n’agana okumulabirira. Kyokka Yiga alumiriza basumba banne, Jackson Ssenyonga ne Aloysius Bujjingo okumuwendulira omuwala ono amutuusizza okumusibisa.

Yiga, yakomyewo mu ggwanga ku ntandikwa ya wiiki ng’ava e South Afrika gyabadde yaddukira olw’ebizibu ebyali bimuyitiriddeko, kyokka nga ye yategeeza nti yali agenze kutongoza kkanisa mu ggwanga eryo. Poliisi yali yaggulawo dda fayiro ku Yiga eziklwata ku misango egy’enjawulo naddala okukabassanya abawala era abaserikale bwe baategedde nti, akomyewo, kwe kugenda ne bazingako amaka ge okumukwata.

Kigambibwa nti,, Yiga yeegayiridde abaserikale obutamukwata nga mubbi wa nkoko n'abasaba bamuwe obudde yeetereeze oluvannyuma yeetwaale ku poliisi. Ku Lwokutaano, Yiga yeetutte ku poliisi, nga yeevuga. Omuwala Angel Ainembabazi 20, ye yazaalidde Yiga akabasa bwe yamugguddeko omusango gw’okumusobyako ku fayiro GEF 18/2019 ku poliisi y’e Kawempe.

Ku ssaawa nga 6:00 ez’emisana, Yiga yatuuse ku poliisi e Kawempe mu mmotoka Toyota Land Cruiser V8 eriko nnamab 'Abizayo 8'. Mmotoka yagivuddemu nga yenna atambula akaga mu ssaati enjeru, empale eya bbulu n’engatto ez’eddiba ly’enswaswa ezitemagana ng’asibye n’ettaayi.

 iga ngakulembeddwa munnamateeka ku poliisi e awempe Yiga ng'akulembeddwa munnamateeka ku poliisi e Kawempe.

 

EBYADDIRIDDE NG’ATUUSE KU POLIISI Yiga olwatuuse yatambudde butereevu okutuuka ku ofiisi y’akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango mu Kampala South awaabadde fayiro ye. Yabadde n’omusajja eyamuwerekeddeko era kyategeerekese nti, yabadde omu ku bann

amateeka be. Yiga baamubuuzizza oba alinayo omukazi yenna gw'amanyi gwe yazaalamu omwana n'atamuwa buyambi n'addamu nti, ‘nze sikyazaala’. Wabula bwe baamulemeddeko nga bamukunya yagambye nti, ajjukira omukazi gwe bayita Jane eyali agamba nti yamuzaalamu omwana.

Yabadde akyali mu kwegaana, Ainembabazi n'abandula oluggi n’ayingira, awo Yiga ebigambo we byamubulidde. Eyabadde atudde nga yeesigamye n’okusalako ng’asazeeko, yatandise okusagaasagana mu ntebe, ne yeekyusa ng’akirako alina ebimufumita n’ekyaddiridde, omukono ogwa kkono kuguwagika ku kalevu olukokola n'alusimba ku kugulu n’atunula ebikalu.

Abaserikale baasomye mbeera ya Yiga ng’alabye ku muwala amulumiriza ne bamutegeeza nti, ‘Ssebo Paasita Yiga oli mukwate.’ Baamulagidde okuyingira mu kasenge akamu gye baamuggyiddeko sitatimenti n’oluvannyuma ne bamulagira okuggyamu engatto, omusipi, ettaayi n’ebyebbeeyi bye yabadde nabyo byonna ne biwandiikibwa n'ayingira akaduukulu.

YIGA ALINA FAYIRO ENDALA Andrew Jjengo, mutabani wa Yiga gwe yali yalekawo okuddukanya ekkanisa yagambye nti, amanyi emisango esatu okuli; ogw’okukwata omukazi, ogw’okuttira omuntu mu kkanisa n’omulala gwa kufera ssente ku bantu n'agamba nti waliwo n’emirala etaano gye baawuliddeko kyokka tebannamanya bingi bikwata ku misango egyo. Yannyonnyodde nti emisango gino gyonna mipange omusumba waabwe tagizzangako bamusibako matu ga mbuzi.

ENGERI GYE YASOBYA KU MUWALA Ainembabazi yannyonnyodde nti, yalina emyaka 15 ng’asoma mu Kashaka SS e Bushenyi ng’ali mu S3. Yali tamanyi bya basajja. Yakula ne nnyina kitaawe yafa muwere wabula nnyina ssente zaatuuka ne zibula. Agamba nti, yanoonya emirimu akole ne gibula kwe kufuna mukwano gwe eyali yajja edda e Kampala gw'amanyiiko erya Ketra eyamugamba nti, bw'atuuka ku Christian Revival Church ey’omusumba Yiga e Kawaala, ebibye bijja kuba biteredde.

Yamugamba nti asobola okumutwala n'amutegeeza nti, okumusabira mu ngeri ey’enjawulo, yalina okusasula 100,000/- era ssente zino yazisaba nnyina n'azimuwa. Agamba nti, bino byonna byaliwo emyaka etaano egiyise era Yiga yasabira abantu abawerako naye luutu ye n'etuuka.

Yagambye nti, bwe yamutuukako yamutegeeza nti yali agenda kumusabira kiro n'alagira bamutegekere ekisenge. Ku ssaawa 8:00 ez’ekiro, aba yeebase yawulira oluggi kweggula agenda okulaba nga Yiga ayingira ali mu kajoozi akeeru ka musalankwawa n’empale ennyimpi esulwamu nga yenna aswakidde n'amuvumbagira omuundi gumu.

Yagambye nti, ettaala yali eyaka nga buli kimu akiraba n'agezaako okwerwanako n'amusinza amaanyi n'amukozesa okutuuka lwe yakoowa. Agamba nti agenda okumuvaako nga yenna atonnya musaayi tasobola wadde okuyimirira nga n’obulumi awulira bungi nnyo. Enkeera Yiga yatuma abaweereza be ne bamutwalira ebyokulya wabula ng’awulira yeetamiddwa embeera.

Yagambye nti, oluvannyuma lw’okumala wiiki bbiri ku kkanisa, Yiga yamufunira abantu abaali bagenda e South Sudan n'amutegeeza nti omulimu gwe yali asabidde gwali gufunise mu katundu akamanyiddwa nga Wawu.Omuwala yagenda n’atandika okukola wabula oluvannyuma lw’emyezi ng’ena, yakimanya nti yali afunye olubuto n’akubira Yiga essimu kyokka teyamufaako. Agamba nti eyo yabeerayo emyezi 10 gye yazaalira n’omwana wabula ng’embeera mbi nnyo n’asalawo okudda e Uganda.

Yannyonnyodde nti, yazaala omwana ng’aliko obulemu ng’ebitundu by’ekyama tebiriiko bwe yagenda ku kkanisa ewa Yiga, yamugoba n’amugamba nti ye tamala gazaalazaala atyo. Agamba nti yaddayo mu kyalo ewaabwe omwana ne bamufunira abasawo abaamujjanjaba n'atereera era kati alina emyaka etaano era asoma P1.

Kyokka yalaba embeera emuyitiriddeko, kwe kusalawo okugenda ku poliisi e Kawempe mu January w’omwaka guno n'aggulawo omusango gw’okumusobyako ku fayiro GEF 18/2019.

Wabula Yiga bwe baabadde bamukunya, yabyegaanye n’ayoza ne ku mmunye ng’agamba nti, bino basumba banne abatamwagaliza, Ssennyonga ne Bujjingo be babipanga. Yasabye Ainembabazi amusonyiwe n’amugamba nti obuyambi bwonna bw'ayagala agenda kubumuwa kyokka ne Ainembabazi ng’amutunuulira amukeneka era Yiga yasuze mu kaduukulu ka poliisi.

EBYABADDE MU KUSABA KWE YATEGESE Yiga yabadde ategese okusaba ng’asuubizza abagoberezi okubawa ku mpeta ezaavudde e South Afrika era okusaba kwatandise ku ssaawa nga 2:00 ez'ekiro ng’abantu bamanyi omusumba w'ali.

Baabadde tebannategeera nti, omusumba baamukutte era bakira abaweereza babagumya nti Paasita ajja. Ku ssaawa nga 5:00 ez’ekiro mutabani wa Yiga yazze mu lukungaana n’ategeeza abagoberezi nti, sitaani abalumbye waliwo omukyala amaze emyaka etaano nga tebamumanyiiko n'alumiriza omusumba nti yamuzaalamu omwana. Omusumba teyeegattangako na mukyala oyo.

Yagambye nti, waliwo abantu ba miriundi esatu ababalwanyisa, omu ayagala kutwala ttivvi, omulala munnabyabufuzi n’omulala musumba w’e Bwaise ayagala kutwala ndiga. Olwabimazeeyo, okusaba we kwatabukidde abantu ne bagamba nti tebayinza kulinda kiro balumbe poliisi ekiro ekyo. Bino bakira bigenda mu maaso nga biragibwa butereevu ku ttivvi ya Yiga kyokka oluvannyuma ne bagiggyako.

Ku Lwomukaaga ku makya, baabukeerezza nkokola okulumba poliisi y’e Kawempe nga bagamba nti, bagenze kununula musumba waabwe , kyokka poliisi n'ebalemesa ne basalawo okugumba wabweru balindirire ekiddako

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bim1 220x290

kkooti ewadde ekiragiro ku mpaka...

kkooti ewadde ekiragiro ku mpaka z'obubina

Lop1 220x290

Eyawambye omwana ku ssomero n'asaba...

Eyawambye omwana ku ssomero n'asaba ssente poliisi emukutte

Kis1 220x290

Omulimu gw'okuzimba ekisaawe kya...

Omulimu gw'okuzimba ekisaawe kya Nakivubo gutambula bulungi

Sarangabaagaembuzinekikondekyekunokwebayitaokugikubaekikondeweb 220x290

Ntunda mitwe gya mbuzi okuweerera...

Emitwe gy'embuzi gye nsasulwa mu kuzibaaga mwe mpeeredde abaana n'okwongerako emirimu emirala.

United1 220x290

Kiikino ekizembe kw’olabira Dubai...

DUBAI eyongedde okussaawo likodi! Ku kizimbe ekisinga obuwanvu mu nsi yonna, egasseeko ekizimbe ekyakulanga “Fuleemu”...