TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Minisita Kasaija yeetonze olw’ensobi za Bbanka Enkulu

Minisita Kasaija yeetonze olw’ensobi za Bbanka Enkulu

By Kizito Musoke

Added 10th February 2019

Minisita Kasaija yeetonze olw’ensobi za Bbanka Enkulu

Kas3 703x422

Minisita W'ebyensimbi Matia Kasaija

MINISITA w’ebyensimbi, Matia Kasaija yeetonze olw’ensobi ezaakolebwa Bbanka Enkulu olw’okulemwa okufulumya lipooti ezikwata ku bbanka ze bazze baggala.

Yabadde mu kakiiko ka COSASE akali mu gw’okubuuliriza ku bbanka ezaggalwa n’akasiima olw’okuyambako okulaga ensobi ezibadde zikolebwa mu Bbanka Enkulu.

Yakakasizza nga bw’agenda okuteeka ku nninga abakulira Bbanka Enkulu bafulumye lipooti zonna ezikwata ku bbanka omusanvu ezaggalwa okuli: Teefe, Crane Bank, Cooperative Bank, International Credit Bank, National Bank of Commerce ne Greenland Bank.

Yabadde ayanukula Abdu Katuntu (Bugweri) ssentebe w’akakiiko eyamutadde ku nninga annyonnyole oba nga yabadde alaba nga kyabulijjo okuggala bbanka ne balemwa okufulumya lipooti oluvannyuma lw’emyaka 20.

Yawadde eky’okulabirako kya Cooperative Bank. Ababaka era baabuuzizza aba Bbanka Enkulu okunyonnyola kwe baasinziira okuteeka obuwumbi 478 mu Crane Bank ng’ate baali bakimanyi bulungi nti abaali bagiddukanya baali beetaaga obuwumbi obutasukka 200 okudda engulu.

Louis Kasekende omumyuka wa Gavana yagambye nti eky’okuteekamu obuwumbi 478 baakikola kuba ly’ekkubo lyokka lye baali basigazza okwewala okukosa ebyenfuna.

Kyokka ababaka baakizudde nga tewali biwandiiko binnyonnyola ensaasaanya ya ssente zino mu bujjuvu.

James Kahooza atuula ku lukiiko olufuzi olwa Bbanka Enkulu yagambye nti etteeka lino okukyusibwa Gavana aleme kubeera nga y’addukanya emirimu gya bbanka nga mu kiseera kye kimu y’akulira olukiiko olufuzi kivuddeko obuzibu bungi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kiruddu1 220x290

Ettaka 1 nga liriko ebyapa 2 ku...

Enkaayana z’ettaka lino okulinnya enkandaggo kiddiridde Palamenti okuyisa bbiriyooni 4 zikozesebwe okugula n’okuzimba...

Bizi 220x290

Mukama yaddamu essaala yange n’ampa...

BWE nnali nvubuka, nnawuliranga nnyo abantu nga beekokkola abaagalwa baabwe olw’emize gye babalaga era kyanneeraliikirizanga...

Ssengalogo 220x290

Ndeete omukyala omulala?

Amaanyi nnina matono ate omukyala gwe nafuna muto ddala alina emyaka 35 ate nze nnina 75.

Ow'emyaka 50 abbye omwana n'amusiba...

POLIISI y’e Kasangati ekutte n’eggalira abafumbo oluvannyuma lw’omukazi ow’e myaaka ataano okubba omwana n’amusiba...

Ssande1 220x290

Abazadde basse omwana waabwe ne...

Okukebera mu kisenge, kwe kuzuula omulambo gw’omwana nga yattibwa ne bamuteeka wansi w’omufaliso Ssande ne mukyala...