TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abazzukulu bakubiriziddwa okuwa ekimu eky'ekkumi okukulaakulanya ebika

Abazzukulu bakubiriziddwa okuwa ekimu eky'ekkumi okukulaakulanya ebika

By Dickson Kulumba

Added 10th February 2019

Abazzukulu bakubiriziddwa okuwa ekimu eky'ekkumi okukulaakulanya ebika

Baz1 703x422

ABAZZUKKULU mu bika bakubiriziddwa bulijjo okuwaayo ekimu eky’ekkumi eri ebika byabwe nabyo bisobole okukulakulana nga bwebakulakulanya amasinzizo gaabwe.

Bino byayogeddwa Omutaka  Yusuf Mbirozankya Walusimbi,Omukulu w’ekika ky’effumbe bweyabadde aggulawo Olukiiko lw’ekika olwa 2019 n’okutongoza enkiiko z’amasiga ng’omukolo guno gwabadde ku ofiisi z’ekika kino ezisangibwa ku luguudo Kabakanjagala e Mmengo ku Lwomukaaga February 9,2019 nalagira buli ali mu bukulembeze obw’engeri yonna mu kika, alina okutandika okuwaayo ekimu eky’ekkumi omwaka guno, olwoabazzukulu abalala nabo balyoke batandike. “ Tulina okuyiga okukema ebika byaffe. Tuteekeyo ekimu eky’ekkumi eri ekika ky’effumbe.

Tosobola kubeera nga weddira ffumbe ng’ofuna 10,000/-  omwezi nga tosobola kuggyako 500/- eri enkulakulana y’ekika kyo,obeera tokyagala. Engeri yokka gyetugenda okwagala ebika byaffe ku mulembe guno, kwe kuwaayo ekimu eky’ekkumi.

Bwemubeera mu makeleziya mubiwa naye bwemujja mu bika ,temwagala kuwaayo,nemwagala musange ebirungi naye ng’ate ebirungi temubisizzeemu.

Enkiiiko z’amasiga g’ekikka kino zituula buli mwezi nga abava mu Nagaya e Buleza batuula buli Lwakutaano olusembayo mu mwezi, aba Magunda e Lwanga batuula buli ssande esembayo mu mwezi, Ssempala e Bulamba batuula buli ennaku z’omwezi 15, ate ewa Ssabalangira Kasolo batuula buli olw’okusatu olw’okubiri mu mwezi, Ewa Kajoba- Mukasa batuula buli Ssande esembayo mu mwezi.

 Ku mukolo guno Omusuubuzi Emmanuel Magoola Matovu ng’ono yavuganyako mu Busiro East yakwasizza ab’effumbe obukadde 12,500,000/- kweezo obukadde 25 zeyabasuubiza bwebaali mu kulamaga ku butaka e Bakka- Busiro nga December 16,2019 era neyeyama okwongera okuyagira ebika ebyetanira enkulakulana mu kuzimba amasomero, amalwaliro n’ebirala.

Katikkiro w’ekika kino Ying. William Ssebaggala Ssempala yategezezza nti obuyambi buno bugenda kukozesebwa mukumaliriza ettendekero erizimbibwa e Bakka eriyitibwa Bakka Secondary & vocational School lyebateekateeka okumaliriza omwaka guno. “Omwaka guno tulina okununula n’okutereeza ebifo byaffe okuli ekiri e Bulamba- Bulemeezi, e Lwanga ewa Magunda, Ganda- Nansana n’ebirala.

Bajjajja abatanafuna bidduka bakubifuna omwaka guno ate Jjajja wakwongera okunyinyitiza okulambula bazzukkulu be era buli abakulira amasaza musanye okuteekateeka ebifo Omutaka Walusimbi mwanatuuka,” Katikkiro Ssebaggala bweyategezezza.

Olukiiko luno lwetabiddwamu abakulira amasiga Ssempala Ssejjala e Bulamba, Magunda e Lwanga ng’erya Nagaya e Buleza yakkikiriddwa Katikkiro waalyo Aliddeki Kisitu era lyasabiddwa okweteekateeka obulungi okusobola okutegeka okulamaga kw’ekika okw’omwaka guno

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kiruddu1 220x290

Ettaka 1 nga liriko ebyapa 2 ku...

Enkaayana z’ettaka lino okulinnya enkandaggo kiddiridde Palamenti okuyisa bbiriyooni 4 zikozesebwe okugula n’okuzimba...

Bizi 220x290

Mukama yaddamu essaala yange n’ampa...

BWE nnali nvubuka, nnawuliranga nnyo abantu nga beekokkola abaagalwa baabwe olw’emize gye babalaga era kyanneeraliikirizanga...

Ssengalogo 220x290

Ndeete omukyala omulala?

Amaanyi nnina matono ate omukyala gwe nafuna muto ddala alina emyaka 35 ate nze nnina 75.

Ow'emyaka 50 abbye omwana n'amusiba...

POLIISI y’e Kasangati ekutte n’eggalira abafumbo oluvannyuma lw’omukazi ow’e myaaka ataano okubba omwana n’amusiba...

Ssande1 220x290

Abazadde basse omwana waabwe ne...

Okukebera mu kisenge, kwe kuzuula omulambo gw’omwana nga yattibwa ne bamuteeka wansi w’omufaliso Ssande ne mukyala...