TOP

Bakunyizza aba UNRA ku by’olutindo

By Musasi wa Bukedde

Added 10th February 2019

Bakunyizza aba UNRA ku by’olutindo

Jip3 703x422

ABABAKA ba Palamenti abali ku kakiiko aka ‘‘Physical Infrastructure’’ bakunyizza ba yinginiya b’ekitongole ky’eby’enguudo ekya UNRA nga baagala okumanya lwaki olutindo lwa ‘‘Source of the Nile Bridge’’, Pulezidenti Museveni lwe yaakaggulawo lutandise okwonooneka amangu.

Abaaluguddemu kwabaddeko: Ying. Samuel Muhoozi dayirekita avunaanyizibwa ku by’enguudo n’entindo mu UNRA, Ying. Lawrence Pario, Ying. Moris Odoch Odrua ne ba kontulakita okwabadde Abajapani, Masami Ishikawa nga pulojekiti maneja owa Zenitaka. Ababaka bano baakulembeddwaamu Ssentebe w’akakiiko, omubaka w’e Nakifuma: Robert Kafeero Ssekitooleko.

Baatuuse ku lutindo ku ssaawa 6:00 n’ategeeza abakungu ba UNRA nga bwe batumiddwa Sipiika Rebecca Kadaga okuzuula oba olutindo lwajjako enjatika ne kkoolansi okwonooneka nga bwe babadde babiraba ku mikutu gy’amawulire. Pulojekiti yinginiya, Moris Odoch Odrua yalaze ababaka engeri olutindo gye lwazimbibwamu nga bw’abannyonnyola ekyaviirako kkoolansi okwonooneka amangu.

Yategeezezza nti olutindo lwennyinti terulina buzibu n’agumya Bannayuganda abalukozesa obutatya kuluyitako wabula nti akabubi akayitibwa ‘Water Proofing Material’ akaateekebwa wakati w’enkokoto y’olutindo ne kkoolansi eyassibwako okuziyiza amazzi g’enkuba agatonnya obutatuuka ku nkokoto y’olutindo ke kaviirako Kkoolansi okwonooneka olw’obuzito obusukkiridde obuleetebwa mmotoka ennene eziva e Kenya nga zeetisse.

Yinginiya yagambye nti abaakola olutindo luno aba Zebitaka ne Hyundai Construction Company bagenda kusigala ku sayiti okululabirira n’okutereeza obuntu obutonotono obweraliikiriza abantu.

ABABAKA ba Palamenti abali ku kakiiko aka ‘‘Physical Infrastructure’’ bakunyizza ba yinginiya b’ekitongole ky’eby’enguudo ekya UNRA nga baagala okumanya lwaki olutindo lwa ‘‘Source of the Nile Bridge’’, Pulezidenti Museveni lwe yaakaggulawo lutandise okwonooneka amangu. Abaaluguddemu kwabaddeko: Ying. Samuel Muhoozi dayirekita avunaanyizibwa ku by’enguudo n’entindo mu UNRA, Ying. Lawrence Pario, Ying. Moris Odoch Odrua ne ba kontulakita okwabadde Abajapani, Masami Ishikawa nga pulojekiti maneja owa Zenitaka. Ababaka bano baakulembeddwaamu Ssentebe w’akakiiko, omubaka w’e Nakifuma: Robert Kafeero Ssekitooleko. Baatuuse ku lutindo ku ssaawa 6:00 n’ategeeza abakungu ba UNRA nga bwe batumiddwa Sipiika Rebecca Kadaga okuzuula oba olutindo lwajjako enjatika ne kkoolansi okwonooneka nga bwe babadde babiraba ku mikutu gy’amawulire. Pulojekiti yinginiya, Moris Odoch Odrua yalaze ababaka engeri olutindo gye lwazimbibwamu nga bw’abannyonnyola ekyaviirako kkoolansi okwonooneka amangu. Yategeezezza nti olutindo lwennyinti terulina buzibu n’agumya Bannayuganda abalukozesa obutatya kuluyitako wabula nti akabubi akayitibwa ‘Water Proofing Material’ akaateekebwa wakati w’enkokoto y’olutindo ne kkoolansi eyassibwako okuziyiza amazzi g’enkuba agatonnya obutatuuka ku nkokoto y’olutindo ke kaviirako Kkoolansi okwonooneka olw’obuzito obusukkiridde obuleetebwa mmotoka ennene eziva e Kenya nga zeetisse. Yinginiya yagambye nti abaakola olutindo luno aba Zebitaka ne Hyundai Construction Company bagenda kusigala ku sayiti okululabirira n’okutereeza obuntu obutonotono obweraliikiriza abantu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pp 220x290

Abayimbi Bannayuganda battunse...

Abajamaica;Christopher Martin ne D-Major bakubye Bannayuganda emiziki egibaccamudde

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...

Mayiga 220x290

Katikkiro alaze engeri ebbula ly’amazzi...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayongedde okukkaatiriza obukulu bw’amazzi mu bulamu bw’abantu n’agamba...

Bazigu1 220x290

Abazigu balumbye amaka e Munyonyo...

ABAZIGU balumbye amaka e Munyonyo ne batemaatema omukozi w’awaka Isa Birimusho n’okumusiba akandooya ne bamuleka...