TOP

Ssente z'okujjanjaba Bp. tezinnawera

By Musasi wa Bukedde

Added 10th February 2019

Ssente z'okujjanjaba Bp. tezinnawera

Fot2 703x422

ABAKRISTAAYO okuva mu Kkanisa ez'enjawulo bakuhhaanidde mu maka g’omugenzi Bp. Misayiri Kauma e Nsangi okusabira omumyuka w’Omulabirizi w’Obulabirizi bw'e Namirembe Hannington Mutebi omulwadde era ng’ajjanjabibwa e Bungereza nga yeetaaga essaala n'obuyambi bw'ensimbi.

Okusaba kuno kwabaddewo ku Lwokuna akawungeezi Abakristaayo mwe baasinzidde ne basaba Katonda akwatirwe ekisa omuddu we Omulabirizi amussuuse akomewo ayongere okugenda mu maaso n’okumuweereza.

Bp. Mutebi yatwalibwa e Bungereza okujjanjabibwa wabula ng’abasawo baategeeza nti obujjanjabi yeetaaga bwamaanyi nnyo era nga yeetaaga pawundi 190,000 (eza Uganda zisoba mu kawumbi) okumujjanjabwa.

Bannayuganda ab’enjawulo bwe baawulira nti ssente zino ze zeetaagisa baatandika okutema empenda okuzifuna. Mu kaweefube ono, Gavumenti yasuubiza pawundi 100,000. Omusumba w’Obusumba bw'e Nsangi, Daniel Dumba Ssentamu nga ye yakulembeddemu okusaba kuno yasiimye obweyamo bwa Gavumenti okuwaayo obuyambi kye yagambye nti eno ntandikwa nnene era n’alaga essuubi nti n’endala zigenda kulabika.

Eyakuliddemu okubuulira mu kusaba kuno, Rev. Samuel Nsonga era nga ye yabadde omusaale mu kukutegeka, yakubirizza Bannayuganda okubeera ab’ekisa ku buli muntu ssi nsonga oba bamumanyi oba nedda kubanga kino Katonda ky’ayagala nga oyo yenna akolera banne ebikolwa eby’ekisa naye Katonda alimukwatirwa ekisa.

Yasabye Bannayuganda abaagaliza Omulabirizi Mutebi ebirungi nti tebaggwaamu maanyi olw’obulwadde bwe wabula bongere okumusabira nga tewali kubuusabuusa Mukama agenda kumuwonya.

Yasiimye Abakristaayo abeewaddeyo ne basiiba nga beegayirira Katonda okussuusa Omulabirizi n’abasaba okwongera okusaba n’okusiiba nga Mukama agenda kusinziira ku bino amussuuse.

Ying. Moses Kulabako ng’atuula ku kakiiko k’ebyensimbi mu Bulabirizi bw'e Namirembe yagambye nti n’Obulabirizi tebutudde era buzze busonda ensimbi ez’enjawulo okujjanjaba Bp. Mutebi era n’alaga essuubi nti, bwe banaamala okufuna ssente Gavumenti ze yasuubiza omulimu gw’okunoonya ssente gujja kuba guwewuse olwo Omulabirizi afune obujjanjabi bwennyini bwe yeetaaga.

Geraldine Kawuma nnamwandu wa Bp. Kawuma era nga mwannyina w'Omulabirizi Harnington Mutebi yeebazizza bonna abababeereddewo n’obuyambi bwonna bwe babawadde n’agamba nti Katonda tajja kulema kubasasula mpeera.

Yategeezezza nti newankubadde nga ssente ezaasabibwa mu ddwaliro ziwulikika nga mpitirivu, ekituufu okusonda kugenda bulungi mu maaso era n’akakasa nti olw’obuyinza bwa Katonda ssente zino zigenda kuwera Omulabirizi ajjanjabibwe.

Mu kusaba kuno ssente 1,600,000/- ze zaasondeddwa mu mpeke ndala zaabadde mu bisuubizo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pala 220x290

‘Kirungi okuyamba abali mu bwetaavu’...

BANNADDIINI okuva mu kigo kya Blessed Sacrament Kimaanya mu ssaza ly’e Masaka badduukiridde abakadde abatalina...

Batya1 220x290

‘Mufe ku mitima so si nnyambala’...

ABAKRISTU b’e Lukaya mu disitulikiti y’e Kalunguku Lwomukaaga baasuze mu Klezia nga batenderezza Katonda mu Mmisa...

Papa 220x290

Obukadde 600 nakozesaako 70 endala...

Town Clerk w’Eggombolola y’e Gombe, Sulaiman Kassim asobeddwa mu lukiiko RDC w’e Wakiso, Nnaalongo Rose Kirabira...

Untitled4 220x290

Ssegirinya waabwe lwaki munsibako...

KANSALA Muhammadi Ssegirinya ‘’Ddoboozi lya Kyebando’’ yeewozezzako ku by’omukazi gw’apepeya naye mu Amerika.

Untitled3 220x290

Abebivvulu beesunga mudidi gwa...

OMUKWANAGANYA w’ekibiina kya UMP-NET omuli abayimbi, abategesi b’ebivvulu ne bannakatemba, Tonny Ssempijja ng’ali...