TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kkooti gwe yayimbudde ku by’okusaddaaka omwana alula!

Kkooti gwe yayimbudde ku by’okusaddaaka omwana alula!

By Musasi wa Bukedde

Added 10th February 2019

Kkooti gwe yayimbudde ku by’okusaddaaka omwana alula!

Sab2 703x422

POLIISI y’e Matugga mu ggombolola y’e Gombe mu Wakiso yayitiddwa bukubirire okutaasa omusajja kkooti gwe yejjeerezza omusango gw’okusaddaaka omwana, abatuuze gwe babadde baagala okugajambula.

Abatuuze baalumbye Chrezistom Ssenfuka mu kiro ekyakeesezza ku Lwokutaano nga baagala okumwokera mu nnyumba oluvannyuma lw’okukitegeera nti, kkooti yamwejjeerezza omusango gw’okusaddaaka Kevin Ssemakula eyattibwa nga April 8, 2016.

Ssenfuka mu kkomera amazeeyo emyaka esatu okutuusa Omulamuzi w’e Nakawa, Tadeo Asiimwe bwe yamuyimbudde ng’agamba nti obujulizi obwatwalibwa mu kkooti bwali tebulaga nti, Ssenfuka yeenyigira mu ttemu lino. Ssenfuka abadde awezezza wiiki bbiri ng’ayimbuddwa kyokka kino tekyasanyusa abatuuze era baamulumbye ne bamukuba emiggo n’amayinja nga ne mukyala we tebamutarizza. Poliisi yayitiddwa okutaasa embeera era abatuuze olwalabye abaserikale ne badduka.

Florence Nakku, maama wa Ssemakula eyattibwa yagambye nti awulira okunyolwa olw’okulaba ng’omuntu gwe yeekakasa nti yatta mutabani we alya butaala n’asaba Pulezidenti okuyingira mu nsonga zino.

SSENFUKA AYOGEDDE

Yagambye nti okuttibwa kwa Ssemakula takumanyiiko nga y’ensonga lwaki kkooti kwe yasinzidde okumuyimbula. Yasabye abantu abalina obujulizi nti yasaddaaka omwana bagende mu kkooti okusinga okusirika ate ne basalawo okumutulugunya.

Poliisi yatutte Ssenfuka ku poliisi okumukuuma ng’embeera bw’ekkakkana. Atwala poliisi y’e Matugga, Bosco Patrick Obotol yasabye abatuuze okwewala okutwalira amateeka mu ngalo okwewala okukwatibwa. Yabasabye abalina ensonga okuziyisa mu makubo amatuufu zisobole okugonjoolwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wano 220x290

Abakyala abagagga temunyooma babbammwe...

Omubaka omukazi owa disitulikiti y’e Ssembabule, Hanifa Kawooya akubirizza abakyala abagagga bakomye okunyooma...

Zina 220x290

Rev. Ssempangi waakuddamu okuggya...

Rev. Dr. Keefa Ssempangi eyalabiriranga abaana b’oku nguudo, ng’ayambibwako abamu ku baana be yayamba, ali mu nteekateeka...

Tulu 220x290

Mwegendereze siriimu akyaliwo -Minisita...

MINISITA w’obulimi, obulunzi n’obuvubi Vincent Ssempijja ajjukizza abavubuka nti siriimu akyaliwo akyegiriisa n’abasaba...

Pala 220x290

‘Kirungi okuyamba abali mu bwetaavu’...

BANNADDIINI okuva mu kigo kya Blessed Sacrament Kimaanya mu ssaza ly’e Masaka badduukiridde abakadde abatalina...

Batya1 220x290

‘Mufe ku mitima so si nnyambala’...

ABAKRISTU b’e Lukaya mu disitulikiti y’e Kalunguku Lwomukaaga baasuze mu Klezia nga batenderezza Katonda mu Mmisa...