TOP

Aba DP balabudde ku banafuya ‘People Power

By Musasi wa Bukedde

Added 10th February 2019

Aba DP balabudde ku banafuya ‘People Power

Fab2 703x422

Aba DP mu lukuηηaana.Wakati ye Ssentebe Nyanzi, ku kkono ye Wakayima Musoke, Peter Ssempijja ate owookubiri ku ddyo ye Amudan.

ABA DP balabudde ku bantu abalowooza nti bayinza okuwugula ekisinde kya PEOPLE POWER ne bakinafuya nga bayita mu kukiwandiisa n’okukyogerera ebitali bituufu nti beerimba.

Bagambye nti kyasimbula dda tewali akyasobola kukikomako wadde akikulembedde Bobi Wine bagezaako okumusimbira ekkuuli naye takyadda mabega. Baalangiridde nti bagenda mu maaso n’okukuba enkuηηaana ez’enjawulo mu bitundu ebyenjawulo nga bwe bannyonnyola abantu okutegeera obulungi ebigambo ebikozesebwa mu kisinde kino.

Ku Ssande (leero) aba DP mu kisinde kino baakubye olukuη− ηaana e Nateete olwategekeddwa agenda okwesimbawo ku bwakansala ku disitulikiti ya Kampala, Peter Ssempijja okumpi n’akatale k’e Nateete ne bategeeza abavubuka nti ekisinde kirina ebigambo eby’enjawulo ebikozesebwa nga ‘okwebeereramu’ abantu bye bateekeddwa okumanya.

Omukwanaganya w’ekisinde kino mu Kampala n’emiriraano era muganda wa Bobi Wine, ayitibwa Fred Nyanzi yabadde ne banne okuli eyali omubaka w’e Nansana mu Palamenti Wakayima Musoke, Amudan Ssemugoma n’abakulembeze ba DP ab’enjawulo mu Lubaga. Nyanzi yagambye nti yeewuunya abalowooza nti basobola okuzikiriza oluyiira lwa ‘People Power’ olwakolerezebwa edda.

Ate Wakayima Musoke yagambye abavubuka nti bo bennyini beebeereremu era okulonda okujja okwa 2021 , bakwetegekedde nti bateekwa okukolawo eky’enjawulo. Ate Ssempijja yagambye nti ebitundu eby’enjawulo nga Nateete ne Lubaga wonna bakimanyi nti DP tesobola kuwangulwa kubanga abantu bamanyi ebirungi ebiri mu nkola y’amazima n’obwenkanya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wano 220x290

Abakyala abagagga temunyooma babbammwe...

Omubaka omukazi owa disitulikiti y’e Ssembabule, Hanifa Kawooya akubirizza abakyala abagagga bakomye okunyooma...

Zina 220x290

Rev. Ssempangi waakuddamu okuggya...

Rev. Dr. Keefa Ssempangi eyalabiriranga abaana b’oku nguudo, ng’ayambibwako abamu ku baana be yayamba, ali mu nteekateeka...

Tulu 220x290

Mwegendereze siriimu akyaliwo -Minisita...

MINISITA w’obulimi, obulunzi n’obuvubi Vincent Ssempijja ajjukizza abavubuka nti siriimu akyaliwo akyegiriisa n’abasaba...

Pala 220x290

‘Kirungi okuyamba abali mu bwetaavu’...

BANNADDIINI okuva mu kigo kya Blessed Sacrament Kimaanya mu ssaza ly’e Masaka badduukiridde abakadde abatalina...

Batya1 220x290

‘Mufe ku mitima so si nnyambala’...

ABAKRISTU b’e Lukaya mu disitulikiti y’e Kalunguku Lwomukaaga baasuze mu Klezia nga batenderezza Katonda mu Mmisa...