TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Engeri gy’ogunjula omwana nga tokozesezza bukambwe

Engeri gy’ogunjula omwana nga tokozesezza bukambwe

By Musasi wa Bukedde

Added 10th February 2019

Engeri gy’ogunjula omwana nga tokozesezza bukambwe

Jip1 703x422

ABAZADDE abamu balowooza nti, okugunjula omwana n’okumukuliza mu mpisa ate nga mukozi olina kukozesa bukambwe. Wabula ate bw’ogenderera abaana abakuziddwa mu bukambwe batera okwonooneka kubanga bagenda okwesanga ng’ebintu ebimu babiraba bukulu n’ekibavirako okubyetabamu ennyo.

Abakugu bakulaga engeri gy’osobola okugunjula omwana nga tokozesezza bukambwe. Yasin Ssewankambo, abudaabuda abaana n’amaka okuva mu CAN Africa e Najjanankumbi akulaga by’osobola okukola:

1 Okumukuliza mu ddiini: Omwana bw’akula ng’atya Katonda abeera mugunjufu kubanga eddiini eyigiriza empisa mu kino ng’etangira ebintu ebimu omwana by’atalina kukola n’okumuteekamu amagezi kubanga waliwo n’enjogera egamba nti, mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera.

2 Okubeera eky’okulabirako: Kibeera kirungi omuzadde okweyisa mu ngeri ennungi omwana n’amulabirako olwo ne yeewala okukola obukyamu obuvaako okumukambuwalira.

3 Okumuwa obulabo: Kiba kirungi buli omwana lw’akola ekintu ekirungi ne weefi iriza n’omuwaayo ekirabo ne bwe kibeera kitono oba n’omusiima mu ngeri ennungi. Kino kimwongera okukola obulungi buli kiseera ng’asuubira okufuna ebirungi ebisingawo.

4 Okumubuulirira: Okubuulirira omwana kimuyamba okumuteekamu empisa n’okumutereeza mu by’akoze ebikyamu. Noolwekyo omwana ssinga asobya, mu kifo ky’okumukambuwalira omuzaana asana n’afuna obudde n’amutuuza n’ayogera naye ku ngeri gy’alina okweyisaamu.

5 Okusomesa omwana okwetuma: Yigiriza omwana okwetuma okukola. Kino kiyamba okukendeeza ku nnyombo wakati w’omuzadde n’omwana ezivaako obukambwe.

6 Okumuyigiriza okukola emikwano: Mu buli mbeera, abeemikwano n’eng’anda beetaagisa mu bulamu bw’omuntu, noolwekyo omuzadde yigiriza omwana wo okukola emikwano egizimba kuba nagyo agiyigirako empisa n’alema okukola obubi obuvaako omuzadde okukambuwala.

7 Obuteeraliikirira: Buli muzadde bw’abeera yeeraliikirira eri omwana ayinza okumuteekako obukambwe ate n’akola ensobi. Buli muzadde alina oluusi okuleka omwana n’akola ekikye n’atamweraliikirira ekivaako okwonooneka.

8 Okulaga omwana kyalina okyenyumirizaamu: Omwana tasobola kubeera na mukwano nga tomulaze ky’alina kukola era wano tasobola kwagala banne nga tokimulaze.

Kibeera kirungi n’olaga omwana omukwano naye n’ayiga okweyagala era n’omulaga nti ky’alina okyenyumirizaamu ne kimuyamba okubeera mu bulamu obulungi n’obutayonoona kukutuusa kumukambuwalira.

Abato nabo balaze abazadde kye basobola okukola okubagunjula nga tebabakambuwalidde:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pp 220x290

Abayimbi Bannayuganda battunse...

Abajamaica;Christopher Martin ne D-Major bakubye Bannayuganda emiziki egibaccamudde

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...

Mayiga 220x290

Katikkiro alaze engeri ebbula ly’amazzi...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayongedde okukkaatiriza obukulu bw’amazzi mu bulamu bw’abantu n’agamba...

Bazigu1 220x290

Abazigu balumbye amaka e Munyonyo...

ABAZIGU balumbye amaka e Munyonyo ne batemaatema omukozi w’awaka Isa Birimusho n’okumusiba akandooya ne bamuleka...