TOP

Gwe baakwatidde mu bwenzi awonye okugajambulwa

By Musasi wa Bukedde

Added 10th February 2019

Gwe baakwatidde mu bwenzi awonye okugajambulwa

Gap2 703x422

OMUWALA Angel Katusiime 18, asanze muganzi we Ashraf Mbaziira 21, ng’asinda omukwano n’omuwala omulala n’amwambalira.

Yamukutte amataayi ne beekuba ebikonde n’ebigwo. Mu kavuvung’ano omuwala gwe baabadde baleese yeemuludde n’adduka.

Katusiime ekiruyi yakimalidde ku bba n’amufumita n’ekiso ku mukono. Katemba ono yabadde mu kabuga k’omu Nyendo mu kibuga Masaka. Omuvubuka naye yeesimatudde ku muwala eyabadde ataamye okukira engo n’afuluma.

Wano omuwala kwe kwongera okutabuka obusungu n’abumalira ku bintu by’omu nju byonna okuli engoye, emifaliso n’abisalaasala, ttivvi, woofa, ebikopo n’amasowaani byonna n’abyasa ne pikipiki Mbaziira gy’abadde akolerako bodaboda n’agiwamu omunnyo n’okugikoonakoona.

George Sseruyange yategeezezza nti Katusiime yali yanoba ennaku nga 3 emabega kyokka kirabika waliwo abamubagulizzaako nga Mbaziira bw’ayingizzaawo omuwala omulala n’akomawo ng’aliko n’obumansuka.

Poliisi y’omu Nyendo yazze n’ekwata Katusiime n’aggalirwa ku poliisi. Bano baanenyezza Mbaziira olw’okusussa okukyusakyusa abawala ekiviiriddeko entalo mu maka gaabwe ezitaggwa.

Omwogezi wa poliisi mu Greater Masaka, Lameck Kigozi yakakasizza okukwatibwa kwa Katusiime

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pp 220x290

Abayimbi Bannayuganda battunse...

Abajamaica;Christopher Martin ne D-Major bakubye Bannayuganda emiziki egibaccamudde

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...

Mayiga 220x290

Katikkiro alaze engeri ebbula ly’amazzi...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayongedde okukkaatiriza obukulu bw’amazzi mu bulamu bw’abantu n’agamba...

Bazigu1 220x290

Abazigu balumbye amaka e Munyonyo...

ABAZIGU balumbye amaka e Munyonyo ne batemaatema omukozi w’awaka Isa Birimusho n’okumusiba akandooya ne bamuleka...