TOP

Batabusse lwa kutwala muganda waabwe mu limbo

By Musasi wa Bukedde

Added 11th February 2019

Batabusse lwa kutwala muganda waabwe mu limbo

Kip3 703x422

Abaana nga batabukidde kitaabwe ( owookusatu ku ddyo) ku ddyo ye nnyaabwe Nakuya.

POLIISI yayitiddwa okukkakkanya abatuuze abaabadde beegasse na booluganda lwa munnaabwe eyafudde okulemesa kitaawe w’omugenzi eyabadde ayagala okumuziika mu limbo.

Akanyoolagano kano kaabadde Kyengera - Nabaziza mu Kyengera Town Council mu disitulikiti y’e Wakiso ku Lwomukaaga lwa wiiki ewedde ng’obutakkaanya bwavudde ku Muhammood Kalyango okuleeta emmotoka etwale omulambo gwa muwala we Sarah Nagirinya abadde olubuto olw’emyezi mukaaga eyafudde bamuziike mu limbo. Kino kyatabudde abooluganda nga beebuuza lwaki yabadde ayagala okumuziika mu limbo ng’ate waliwo ekifo aba famire we baziika.

Maama w’omugenzi, Plaxeda Nakuya n’abaana be beegattiddwaako ab’ekyalo abaabadde bataamye nga babuuza lwaki omugenzi yabadde atwalibwa mu limbo. Baalumirizza Kalyango okulemwa okujjanjaba muwala we n’okulabirira abaana be ne bakulira ku bukojja nga beebuuza lwaki yabadde azze ng’amaze okufa alyoke atwale omulambo mu limbo e Nkoowe.

Nakuya omusuubuzi w’ebibala e Kyengera yategeezezza nti Kalyango yamusuulira abaana nga bato era yabakuzizza era muwala we bwe yalwala baamutegeezezza nga bamutwala mu ddwaaliro e Kawempe - Mulago kyokka n’atalinnyanyo. Baamusiibula ku Lwokuna kyokka naddamu okutabuka ku Lwokutaano nga baali bamutwala mu ddwaaliro n’afiira ku nkulungo ye Namung’oona.

Yagambye nti olwokuba Nagirinya yalina olubuto baakubira Kalyango basalire wamu amagezi okumulongoosaamu omwana wabula teyalabikako okutuusa bwe baafuna omusawo e Nabaziza eyabayambye okumulongoosa omwana ne bamuggyamu kyokka baabadde baakatuuka awaka kitaawe n’anona omulambo agutwale mu limbo guziikibwe.

Abatuuze baalemesezza Kalyango okutwala omulambo kyokka naddukira ku poliisi ye Kyengera eyayungudde abasirikale n’amagye abaggyeewo omulambo oluvannyuma lw’abooluganda n’abatuuze okulemwa okukkaanya ne Kalyango.

Ssentebe w’e kyalo Amur Waguma yakkakkanyizza abatuuze n’asaba ensonga bazirekere poliisi era emirambo gyombi gyateekeddwa ku kabangali ya poliisi ne gitwalibwa e Mulago.

Ku Ssande abooluganda ne mikwano baakedde kweyiwa ku ggwanika e Mulago wabula nga wano nawo waabaddewo olutalo ng’abaana bagamba nti kitaabwe yabalaga e Mbuye, Kyotera nti we wali ekiggya kyabwe nga tewali nsonga lwaki muganda waabwe aziikibwa mu limbo.

Kalyango owe Kibuli ku Ddiipo bwe yalabye embeera emutabuseeko naddukira ku poliisi ye Wandegeya nga bano baamusindise ku ye Mulago era agitwala n’atuuka nayogerako n’enjuyi zombi n’abasaba okuddayo ku poliisi ye Kyengera bakkaanye Kalyango kye yagaanyi.

Maria Gorreti Nalumu muwala wa Kalyango omukulu yategeezezza nti kitaabwe yabategeeza nga bwe baamugaba okuva mu kika kyo Musu okudda mu kye Ngo nga mukulu era bakuze gye baziika nga tebamanyi lwaki kitaabwe ayagala okuziika muganda waabwe mu limbo.

Gye baalaga Bakatoliki kye bava naye baamubatiza. ng’omwana omukulu. Sheikh Abdul Hakim Kayongo ow’e Kibuli yategeezezza nti Kalyango yamusaba okuyamba aziika omwana we mu limbo ye Nkoowe ng’agamba nti ab’ekika kye baamugoba e Mbuye olw’okusiramuka

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...

Mayiga 220x290

Katikkiro alaze engeri ebbula ly’amazzi...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayongedde okukkaatiriza obukulu bw’amazzi mu bulamu bw’abantu n’agamba...

Bazigu1 220x290

Abazigu balumbye amaka e Munyonyo...

ABAZIGU balumbye amaka e Munyonyo ne batemaatema omukozi w’awaka Isa Birimusho n’okumusiba akandooya ne bamuleka...

Magaya 220x290

Abawala 98 banunuddwa ku babadde...

ABEEBYOKWERINDA banunudde abawala 98 ababadde bakukusibwa okutwalibwa mu nsi za bawalabu okukuba ekyeyo.