TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Paasita Yiga Abizzaayo byongedde okumwonoonekera: Bamwongeddeko emisango emirala

Paasita Yiga Abizzaayo byongedde okumwonoonekera: Bamwongeddeko emisango emirala

By Musasi wa Bukedde

Added 11th February 2019

EBYA Paasita Augustine Yiga ‘Abizzaayo’ eyakwatiddwa ku Lwokutaano nga yaakadda okuva e South Afrika, byongedde okusajjuka, bw’aguddwaako emisango emirala egy’enjawulo ku kitebe kya Poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango mu ggwanga.

Yiga0 703x422

Bya LAWRENCE KITATTA, ERIA LUYIMBAZI, REGIINA NALUNGA NE PATRICK KIBIRANGO

Paasita Yiga mu kiseera kino ng’aggaliddwa mu kaduukulu ka Poliisi e Kawempe olw’omusango gwe yagguddwaako oluvannyuma lw’omuwala Angel Ainembabazi okumuwawaabira nti yamukabasanya n’atuuka n’okumufunyisa olubuto ate n’agaana okumulabirira nga kw’agasse n’okumutiisatiisa nga bw’ajja okumutuusaako obulabe singa avaayo n’abyogera.

Yiga, asumba kkanisa ya Christian Revival Church e Kawaala yabadde akyaleppuka n’omusango gwa Ainembabazi, ate fayiro endala ku misango egyenjawulo ezirudde nga zimulindiridde ne zizuukusibwa ku kitebe kya poliisi ekinoonyereza ku misango.

Omwogezi w’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango, Vincent Ssekate yagambye nti waliwo fayiro eziwerako ku misango egy’enjawulo ezaggulwawo edda ku Yiga era bamwetaaga ku kitebe kya bambega e Kibuli abitebye.

“Kituufu Paasita Yiga yeetagibwa ku kitebe ekinoonyereza ku misango e Kibuli abeeko by’abuuzibwa ku misango egiwerako,” Ssekate bwe yategeezezza n’annyonnyola nti baakitegedde nti yaggaliddwa ku poliisi e Kawempe, fayiro ezibadde zimulindiridde ne ziggyibwayo.

Yagambye nti Paasita Yiga era anoonyerezebwako ne ba Paasita abalala ku nsonga ez’enjawulo eziwerako okuli okufera abagoberezi baabwe nga babalimbye nga bwe bagenda okubakolera ebyamagero, gattako n’abagoberezi abazze bafiira mu kkanisa mu ngeri ezitategeerekeka, okukabasanya n’okusobya ku bawala n’abakazi.

Ssekate yategeezezza nti poliisi yafuna okwemulugunya okuva mu bantu ab’enjawulo nga beemulugunya ku Yiga ne bapaasita abalala ku nsonga ez’enjawulo wabula yagaanyi okwatuukiriza amannya ga bapasita abalala.

BANTIISATIISA - OMUWALA EYALOPYE YIGA

Omuwala Ainembabazi eyakwasizza Paasita Yiga agambye nti ali mu kutya oluvannyuma lw’okufuna okutiisibwatiisibwa bantu abatannategeerekeka.

Ainembabazi yategeezezza Bukedde nti waliwo abantu abamukubira amasimu nga bamutiiisatiisa era waliwo n’abantu abatategeerekeka abamulondoola n’alaga okutya nti ekiseera kyonna ayinza okutuusibwako obulabe.

Omuwala ono yagguddewo omusango ku poliisi y’e Kawempe oguli ku fayiro namba GEF 18/2019 ng’alumiriza pasita Yiga okumukabasanya n’amufunyisa olubuto ate n’agaana okumulabirira nga kw’ogasse n’okumutiisatiisa nga bw’ajja okumutuusaako omulabe singa avaayo n’abyogera ekyamuwaliriza okubisirikira nga kati abadde amaze emyaka etaano okutuusa lwe kya mususseeko ku ntandikwa y’omwaka guno n’amuwawaabira ku poliisi.

Yiga yakwatiddwa ku Lwokunaato bwe yabadde agenze ku poliisi okuggyibwako sitetitementi ku misango gino egyamuggulwako Ainembabazi ku ntandikwa y’omwaka guno.

Wabula Ainembabazi yategeezezza nti yasazeewo okutambulamu yeekukumeko oluvannyuma lw’okufuna amasimu okuva mu bantu b’omusumba Yiga ab’oku lusegere n’abamu ku bagoberezi nga bamutiisatiisa nga bw’atajja kumalako.

Ainembabazi yagambye nti waliwo omusajja eyamukubidde essimu n’amubuuza ebibuuzo bino “ Gwe kiwala ggwe olowooza ggwe ani asobola okusibisa omusumba waffe? Olowooza oli wakitalo nnyo? Kale obitandise katulabe gy’onaakomekkereza”.

Ayongerako nti eyamukubidde essimu yabadde akwese ennamba era ono yamukubidde enfunda ssatu ogwasembyeyo yagaanyi okumukwata.

Yagambye nti kino kyamuleetedde okutya era we yabadde asula n’avaawo ng’abuuliddeko abantu batono n’agamba nti era kati alinda kimu kumukubira ssimu bamubuulire w’alina okutwala omwana okumuggyako omusaayi.

Kino era kyeyolekedde ku mbeera eyabadde ku poliisi e Kawempe ekibiina ky’abagoberezi okuva mu Kanisa ya Abizzaayo eya Revival Christian Church e Kawaala obwedda abawera nga bwe babuuza omuwala amulumiriza okumusobyako nga taliiwo ku poliisi.

EBY’OKUYIMBULA OMUSUMBA YIGA BIWANVUYE

Ku Lwomukaaga, mutabani we, Andrew Jengo yazze ng’alina ekibinja gy’abasajja n’abakazi be yabadde akulembedde okulaba nga bataasa kitaawe okumuggya mu kkomera gye yasuze balabe nga bamuzza awaka.

Baatuuse ku poliisi ku ssaawa ga 5:00 ez’oku makya wabula baabadde bakyakola ku mpapula ezeeyimirira Yiga nga kumpi buli kimu kiwedde ate abakola ku misango gye ne bafuna essimu ng’ebategeeza nti Yiga tebamuyimbula kuba alina emisango emirala egyali gyamuwaabirwa era bamuweereze ku kitebe kya poliisi ekinoonyereza ku misango e Kibuli (CID).

Patrick Onyango omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano yategeezezza nti emisango gya Paasita Yiga bamwongeddeko emisango emirala Yiga egyamusibizza ku poliisi e Kawempe waabadde waliwo enzikiriziganya etuukiddwaako era ng’agenda kuggyibwako omusaayi akeberebwe n’omwana okukakasa endaga butonde okuzuula oba omwana wa Ainebabazi ddala wuwe.

Kyokka baabadde bakyali awo ate ne bafuna ebbaluwa evudde e Kibuli ng’ebalagira nti tebageza ne bamuyimbula kuba bamulinako emisango egy’enjawulo.

ABAGOBEREZI BEEKOZE OBUSOLOSOLO KU POLIISI

Abagoberezi abaasuze mu kusaba mu kiro ekyakeesezza Olwokutaano olwakitegedde nti omusumba waabwe yabadde asuze ku poliisi e Kawempe baabukeerezza nkokola nga bwe bawera nti baddayo naye enkuba keetonnye omusana kagwakwe.

Bano baaleesewo embeera ey’obunkenke ku poliisi n’akalippagano k’ebidduka ku Bbombo Road olwokuba nti baabadde basaasaanye mu luguudo wakati nga bwe bayimba n’okuzina amazina omuli n’agokwefukula.

Oluvannyuma poliisi yabagobye mu luguuno ne babakuumira ku bbali ne bayimbira awo okutuusa lwe baatandise okukoowa kinoomu nga bavaawo.

Obwedda bino bigenda mu maaso nga waliwo obusajja obwedda obwetala nga bwe buyingira mu poliisi n’okufuluma nga bwe babagumya nti ensonga tuzimalirizza tuddayo naye.

Bano baagumye wabula bwe yaweze essaawa 1:00 ey’akawungeezi amaanyi n’essuubi ne bibakendeera era beeseebunguludde mpola kinnoomu ne badda ku ludda lwa poliisi ku mayumba agali mu maaso awo kyokka zaabadde ziyingira ssaawa 2:00 mutabani wa Yiga, Jengo n’afuluma poliisi n’abamu ku be yabadde nabo era tebalina gwe baanyeze ne bayingira emmotoka ya kitaawe ne bavuga nga badda awaka.

Olwo n’abantu abaabadde bagumbye ku poliisi ne batambula buli omu ng’alaba ekkubo eryamuleese.

Ensonda okuva ku poliisi e Kawempe zaategeezezza nti oluvannyuma abaserikale baafulumizza Yiga ne bamussa mu mmotoka ne bamuvuga okumutuusa ku SID e Kireka gye yasuze okutuusa Mmande gy’agenda okuggyibwa atwalibwe e Kibuli awali fayiro endala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...

Mayiga 220x290

Katikkiro alaze engeri ebbula ly’amazzi...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayongedde okukkaatiriza obukulu bw’amazzi mu bulamu bw’abantu n’agamba...

Bazigu1 220x290

Abazigu balumbye amaka e Munyonyo...

ABAZIGU balumbye amaka e Munyonyo ne batemaatema omukozi w’awaka Isa Birimusho n’okumusiba akandooya ne bamuleka...

Magaya 220x290

Abawala 98 banunuddwa ku babadde...

ABEEBYOKWERINDA banunudde abawala 98 ababadde bakukusibwa okutwalibwa mu nsi za bawalabu okukuba ekyeyo.