TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ssente obukadde 135 zitabudde Bryan White n'omusuubuzi

Ssente obukadde 135 zitabudde Bryan White n'omusuubuzi

By Musasi wa Bukedde

Added 11th February 2019

Ssente obukadde 135 zitabudde Bryan White n'omusuubuzi

Lab2 703x422

OMUSUUBUZI w’e Kireka alumiriza Bryan White ( Bryan Kirumira) nnannyini Bryan White Foundation okugaana okumusasula obukadde 135, nga bwe yagenda okuzimubanja yamuggyirayo emmundu.

Ephraim Kirumira Majjanja nnannyini kkampuni ekola weema eya Majjanja & Sons e Kireka eyayimbuddwa ku Lwakuna lwa wiiki ewedde mu kaduukulu ka poliisi y’e Busunju gye baabadde bamusibidde nga Bryan White amulumiriza okumuguza weema ezitali ku mutindo, yatuukidde mu ofiisi za Bukedde n’annyonnyola ebyamutuuseeko.

ENGERI GYE BAASISISNKANA Majjanja agamba nti, mu October wa 2018, abakozi ba Bryan White baamutuukirira ne bamusaba abakolere weema n’abawa eddiba balabe oba omutindo gwe baagala.

Yabawa ne weema ewedde okukola ya 4,500,000/-. Yagambye nti Bryan White yamusindikira musajja we Nicholas Muwanguzi owa Wald Electronics eyamulagira okubakolera weema 60 nga buli emu ya 4,500,000/- nga zaali zakumalawo obukadde 270. Oluvannyuma lwa wiiki bbiri, Muwanguzi yasasulako obukadde 135 ne batandika okukola era mu nnaku ntono, baali bamaze.

Annyonnyola nti, Muwanguzi yagenda okunona weema nga ssente tazirina ne bagaana okuzimuwa. Yagambye nti, bwe waayitawo essaawa mbale Bryan White n’akubira maneja we (Majjanja) essimu ng’ayomba n’oluvannyuma naye n’amukubira essimu ng’aayomba n’okumubuuza kye yeeyita ekimugaana okumuwa weema ng’amubanja obukadde 135 bwokka.

“Yahhamba nti bwe simuwa weema ajja kujja ankube amasasi, kafakitole kange akookye n’abakozi bange bonna abasibe era bwe bamuwulira ebyo ne mpita Muwanguzi ne muwa weema”, Majjanja bwe yagambye.

N’agamba nti baazitikka ku mmotoka bbiri naye n’abagoberera ne bazitwala ewa Bryan White e Munyonyo. Majjanja yagambye nti nga batuuse e Munyonyo, Bryan White yabuuza eyali alemedde weema ze. Musinguzi n’amulagayo.

Yagambye nti, Bryan White yabuuka omulundi gumu n’amugwa mu bulago ng’ayagala okumutuga nga bw’agamba nti, “lwaki sikittira wano”. “Nakubira Muwanguzi essimu eyali yampa omulimu n’ahhamba nti omusajja namunyiiza wabula hhendeyo njogere naye kyokka Bryan White olwandabako yagamba nti; ‘Kino ekisajja kya tenti kikyabanja! Ggwe sijja kukusasula,” bwe yannyonnnyodde.

BRYAN WHITE YADDUKIRA MU KYALO Majjanja agamba nti, wiiki ewedde yagenda e Munyonyo addemu abanje kyokka be yasangayo ne bamuggalira wabweru ne bamugamba nti ennyumba Bryan White yagivaamu dda yagenda mu kyalo e Busunju ku lw’e Hoima. “Nakubira abakozi bange basatu bamperekereko ne tutuuka ewuwe.

Yatukwatta n’atuggyamu engatto n’amasimu gonna n’agatuggyako n’alagira abaserikale nti buli agezaako okudduka nga bamukuba essasi,” Majjanja bwe yagambye. Yagasseeko nti, Bryan White yakubira abaserikale ku poliisi y’e Busunju era bwe baatuuka, baasooka mu kafubo n’abateeka mu mmotoka ye n’abavuga okubatwala ku poliisi y’e Busunju gye baabasibira.

Ku poliisi yawa ebiragiro obutabata ne famire zaabwe obutazibuulira gye bali era akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango ku poliisi eno n’akibagamba. Wabula bino Bryan White yabiwakanyizza n’agamba nti amaka ge ag’e Munyonyo akyagalimu era waliwo omukuumi wa SFC gwe bayita Wanyama yenna agendayo alina kusooka kumukubira ssimu n’amukkiriza okuyingira.

Majjanja yagambye nti, okubayimbula abakulira poliisi e Mityana baamaze kuyingira mu nsonga zaabwe ne babaggya ku poliisi y’e Busunju ne babatwala e Mityana. “Nga tuli ku poliisi e Busunju, Bryan White yasindika basajja be ne baleeta weema ku poliisi ne batulagira okussa omukono ku ndagaano nti weema zange nzitutte era Bryan White si kyamubanja kyesakkiriza kubanga abampa byenakozesa baali balinda ssente nga sirina bwembaddiza weema.” Majjanja bwe yategeezezza.

OYO YE YANZIBA- BRYAN WHITE Bryan White yategeezezza ku ssimu nti, ekituufu amaanyi gonna agamalidde Busunju gyazimba ekifo awagenda okubeera abaana ababa bakyusiddwa nga bavudde mu bikolwa bw’obumenyi bw’amateeka.

Yannyonnyodde nti, kituufu Majjanja amumanyi era baamuwa omulimu okukola weema ne bamuwa n’obukadde 200 ezaasooka akole omulimu wabula omulimu gwe yakola, gwali mufu. “Omutindo gwa weema gwali mubi nnyo twaziteeka mu musana ennaku bbiri ne zitandika okuggyamu ebituli ne tumuyita tuteese yatusindikira bavubuka be kuzikuba biraka,” Bryan White bwe yagambye.

Yagasseeko nti, weema zonna 60, baazitisse ku mmotoka ne bazitwala ku poliisi y’e Mityana era ayagala Majjanja amuddize ssente ze yamuwa kubanga tagenda kukkiriza alye ssente za bandi bwatyo.

“Namukutte ne mmutwala ku poliisi e Busunju ne muggulako omusango gw’okufuna ssente mu lukujjukujju era baamutadde ku kakalu ka poliisi ng’addayo ku Mmande.” Bryan White bwe yagambye. TUGENDA MU KKOOTI Ali Ssekabembe, looya wa Majjanja yagambye nti, mu wiiki eno bajja kugenda mu kkooti.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...

Mayiga 220x290

Katikkiro alaze engeri ebbula ly’amazzi...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayongedde okukkaatiriza obukulu bw’amazzi mu bulamu bw’abantu n’agamba...

Bazigu1 220x290

Abazigu balumbye amaka e Munyonyo...

ABAZIGU balumbye amaka e Munyonyo ne batemaatema omukozi w’awaka Isa Birimusho n’okumusiba akandooya ne bamuleka...

Magaya 220x290

Abawala 98 banunuddwa ku babadde...

ABEEBYOKWERINDA banunudde abawala 98 ababadde bakukusibwa okutwalibwa mu nsi za bawalabu okukuba ekyeyo.