TOP

Ebya Kulanama ne maama Fiina bisajjuse

By Musasi wa Bukedde

Added 11th February 2019

Ebya Kulanama ne maama Fiina bisajjuse

Jip2 703x422

Kulanama ng’akolebwako emikolo.

OLUTALO lubaluseewo mu basawo b’ekinnansi Ssenga Kulanama bw’alayiziddwa ku Bwapulezidenti bwabwe kyokka Maama Fiina n’ategeeza ng’ekikolwa ekyakoleddwa bwe kuli okwerayiza okw’abasawo b’ekinnansi abataawera na 3000 ku basawo obukadde obusatu obuli mu Uganda.

Ssenga Kulanama ng’amannya ge amatuufu ye Kezia Kulanama yalayiziddwa Jjumba Aligaweesa eyeeyita Ssabakabona akulira ab’eddiini y’obuwangwa ku Lwomukaaga ku nnyanja Nalubaale e Kigo okumpi ne Serena kyokka Maama Fiina n’ategeeza nti ‘oyo atamanyi na byakisawo alayiziddwa kukola ki? Bino abiyita bya bizigo!

Nze gw’alwanyisa nnwanye entalo ate sisoboka. Obwapulezidenti bw’abasawo b’ekinnansi bwe bannonderako mu 2004, nja kubuvaako nga nze neeyagalidde.

Ate abo abeerayiza be basinze n’okundeetera okulemera ku bukulembeze kubanga baagala kwonoona bya kisawo. Nina ebibiina ebisoba ne mu 30 ebinzikiririzaamu kyokka oyo nti ebibiina mwenda byegasse, kati ngenda ku bakulemberamu ng’abasawo tulwanyise etteeka Palamenti ly’eyagala okutussaako okutulemesa emirimu lw’ojja okulaba nti nina amaanyi mu basawo. Alina maanyi ki oyo nga nze n’ewa Pulezidenti nkuba bukubi ssimu,’ Bw’atyo Maama Fiina bwe yayogedde ku Lwomukaaga mu makage e Bulenga.

Bino byaddiridde ssenga Kulannama okulayizibwa ebibiina by’abasamize mwenda omwabadde ne ‘Dada’ Jajja Budhagali (ow’okubiyiriro by’e Bujagaali) ku ludda lw’e Busoga kyokka mu kwogera n’ategeeza nga Maama Fiina abadde abakulira bw’abadde tatwala basawo mu maaso nti ekyaleetera Pulezidenti Museveni okubasaba beerondemu omuntu abakulembera.

SSENGA KULANAMANA AYOGEDDE “Nze Pulezidenti Genero, Maama Fiina ye Pulezidenti w’ekibiina kye eky’Obuwangwa n’obutonde. Newaddeyo okukolerera abasawo b’ekinnansi bonna ababadde tebafuna bye baluubirira.

Okubagatta, okulwanyisa ekisaddaaka baana n’ebirala. Maama Fiina wabula yeewuunyizza enkwe za Jjumba kuba gye buvuddeko, Jjumba bwe yalayizza Kulanama ng’akola ku nsonga z’abaana mu busawo bw’ekinnansi mu bukyamu, Jjumba yagendayo n’amwetondera (Maama Fiina) ate mu kadde ke kamu n’amulayiza ku ky’obwapulezidenti! Omukolo guno gwetabiddwaako n’abakungu okuva mu gavumenti eyawakati n’amagye nga bakulebeddwamu Major Denis Okwella omuduumizi w’ekibinja kye 61 mu magye ag’oku ttaka eyakiikiridde bakama be.

Kulanama yayingiziddwa mu nzikiriza y’obuwangwa ne bamutegeeza nti alina n’okuleeta bba, Hajji Lubega mu nzikiriza eno. Kulanama abadde yaakadda mu Busiraamu okuva lwe yafumbirwa Omusiraamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...

Mayiga 220x290

Katikkiro alaze engeri ebbula ly’amazzi...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayongedde okukkaatiriza obukulu bw’amazzi mu bulamu bw’abantu n’agamba...

Bazigu1 220x290

Abazigu balumbye amaka e Munyonyo...

ABAZIGU balumbye amaka e Munyonyo ne batemaatema omukozi w’awaka Isa Birimusho n’okumusiba akandooya ne bamuleka...

Magaya 220x290

Abawala 98 banunuddwa ku babadde...

ABEEBYOKWERINDA banunudde abawala 98 ababadde bakukusibwa okutwalibwa mu nsi za bawalabu okukuba ekyeyo.