TOP

Abakazi 160 bavuddeyo okuvuganya ku bubina

By Musasi wa Bukedde

Added 11th February 2019

Abakazi 160 bavuddeyo okuvuganya ku bubina

Wad1 703x422

Kiwanda

ABAWALA 160 be baakavaayo okwewandiisa okuvuganya mu mpaka z’abakazi abalina obubina obunene era minisita Godfrey Kiwanda ategeezezza nti mwetegefu okugenda mu palamenti ayongere okunnyonnyola eggwanga ku mpaka zino z’agamba nti tazirabamu buzibu bwonna.

Omutegesi w’empaka zino Ann Mungooma yategezezza nti zijjumbiddwa nnyo ng’abawala 160 be baakeewandiisa era omukazi anaanywa mu banne akendo waakuweebwa emmotoka kapyata, ekyapa ky’ettaka n’okumumanyisa mu nsi ez’enjawulo.

Bannaddiini okuli Ssaabalabirizi w’Ekkanisa ya Uganda Stanley Ntagali, ebibiina ebirwanirira eddembe ly’abakyala n’abamu ku babaka ba palamenti batadde ku Kiwanda akazito azisazeemu nga baagamba nti zityoboola ekitiibwa ky’abakazi. Minisita w’okukwasisa empisa Faaza Simon Lukodo naye teyatalizza munne Kiwanda n’amuwa amagezi okweyambisa ebintu ebirala ebitumbula ebyobulambuzi mu kifo ky’okubuukira abakazi. Lokodo yagambye nti empaka zino ziyinza obutakkirizibwa.

Era n’abamu ku babaka ba palamenti okwabadde n’akulira ekibiina kyabwe ekirwanirira eddembe ly’abaana, Benard Atiku (Ayivu) baatuuse okuwa Kiwanda nsalesale wa nnaku ttaano okusazaamu empaka zino era yeetondere eggwanga. Ate abalala ne bamugamba alekulire wadde mukama we Pulezidenti Museveni yagambye nti abategesi b’empaka zino basaanye okwogerwa nabo mpolampola mu buntu ekigendererwa kyabwe kizuulwe mu kifo ky’okubavumirira mu lwatu nga tebawereddwa mukisa kwennyonnyolako.

Ne yebuuza ;’’ Oba empaka za banalulungi abatono (mu sayizi) zitegekebwa ate ez’abanene ?’’ N’agamba empaka ezitegekebwa nga zisinziira ku bulungi bwa sayizi entono tezirina njawulo na zitegekebwa nga zisinziira ku banene be yayise ba ‘’nabitege.’’ Kyokka n’annyonnyonnyola nti eky’okutegeka empaka z’abanene tekyayisiddwa lukiiko lwa baminisita.

Wabula minisita Kiwanda yategeezezza bannamawulire mu Kampala nti takyogerangako nti empaka zino zigendereddwaamu kukozesa bakazi ba bubina bunene ng’eky’obulambuzi n’asomooza alina bwino nti yakyogera amuleete.

Yagambye nti abavumirira empaka zino ekigendererwa kyazo tebakimanyi. Yannyonnyodde nti empaka zigendereddwa kulaba ng’abawala abanene nabo baweebwa omukisa okuvuganya ku bwa nalulungi zireme kulekerwa bawala batono bokka nga bwe guli kati.

N’annyonnyola nti empaka zino tezirina njawulo na mpaka za bwanalulungi zeetabwamu nalulungi wa Uganda ne Africa, Quiin Abenakyo n’agamba nti minisitule y’ebyobulambuzi egenda kulung’amya abategesi baazo okulaba nga tezeesitaza bantu.

‘’Empaka zino teziri wano wokka wabula ziri ne mu nsi endala Malaysia, German Canada, Cameroon era ndi mweteefuteefu okwanjula ensonga zino mu palamenti nyongere okunyonyola eggwanga’’, Kiwanda bwe yategeezeza n’agamba nti abanene babadde balekeddwa bbali .

Okulonda empaka z’abasinga obubina zaakubeerawo nga June 15, 2019 era ng’ab’okuzeetabamu beewandiisiza ku yintaneti. Ye Ann Mungooma, akulira kkampuni ya ‘ Miss Curvy Uganda’ abategesi b’empaka zino yagambye yeewuunya abantu olw’okuvumirira empaka zino n’agamba nti tebaazitegedde makulu gaazo. Ku ky’okutumbula eby’obulambuzi, Mungoma yabuuzizza: ‘’ Brazil babeera n’ebikujjuko nga bino, batunda bakazi?

Abakazi abanene abaakula obulungi basikiriza okutunuulira,’’ bwe yabuuzizza. N’agamba nti anawangula empaka zino ajja kwetaba mu mpaka ze zimu ku lukalu lwa Afrika n’oluvannyuma mu nsi yonna nga Abenakyo bwe yakola.

Minisita omukulu ow’ebyobulambuzi Polof. Ephrahim Kamuntu naye yawagidde empaka n’agamba nti buli omu asobola okweyambisa ky’alina okusikiriza abalambuzi. N’agamba nti empaka za ba bubina bunene abatabulina eby’okuzeetabamu babiveeko bazirekere ababulina.

Ye Munnakenya omukozi w’oku ttivi Grace Msalame atiisizza okuwaabira minisitule y’ebyobulambuzi mu Uganda n’abategeka empaka zino olw’okweyambisa ekifaananyi kye mu by’okuziranga n’okuzitumbula.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

United1 220x290

Kiikino ekizembe kw’olabira Dubai...

DUBAI eyongedde okussaawo likodi! Ku kizimbe ekisinga obuwanvu mu nsi yonna, egasseeko ekizimbe ekyakulanga “Fuleemu”...

Langa 220x290

Owange mmuweweeta ku katto k’abakyala...

SHARON Arinitwe w’e Kosovo: Owange mmukwata mu matu n’okuweeweeta ku mutwe gwa mutaka nga bwe mmukomberera okuva...

Bano 220x290

Ebifo ebiterese obuswandi bw’abasajja...

OBADDE okimanyi nti omusajja yenna yeetaaga okukwata mu ngeri ey’enjawulo nga muli mu buliri okusobola okuwangaala...

Segawa1 220x290

Ssegawa gwe yalonda mu bakazi 50...

OMUYIMBI Vincent Ssegawa atabuse n’omukazi gwe yakozesa yintavuyu n’asinga abalala 50 mwe yamulonda.

Abamerika bakubye Trump mu mbuga...

ABAKULEMBEZE b’amasaza g’America 16 bawawaabidde Pulezidenti Donald Trump nga bamulumiriza okwagala okukozesa obubi...