TOP

Amasomero 3 gaggaddwa e Mukono

By Musasi wa Bukedde

Added 11th February 2019

Amasomero 3 gaggaddwa e Mukono

Gip1 703x422

EKITONGOLE ekirambula amasomero mu Munisipaali y’e Mukono kiggadde amasomero asatu olw’okusangibwa nga tegalina layisinsi egakkiriza kukola ng’ate tegali ku mutindo. Amasomero agaggaddwa kuliko; Don Integrated Nursery and Primary School e Goma, Springs of Hope High School Kiwanga ne Bright Hope Junior School e Misindye agali mu Divizoni y’e Goma.

Abaalambudde amasomero ye, Olivia Bulya owa Munisipaali ne Faridah Nassolo owa Divizoni y’e Goma. Bulya yagambye nti ekikwekweto baakitandika mu luwummula era amasomero ge baasanga nga tagali ku mutindo ne balabula bannyini go obutaggulawo.

N’agamba nti kati baddaayo mu masomero gano okuzuula abanyoomoola ekiragiro nga tebafuddeeyo wadde okutereeza ebyabalagirwa. Yalabudde abaddukanya amasomero agaggalwa obuteetantala kuggulawo n’agamba nti kye bagenda okukola kwe kubaggala ku mpaka n’okubakwata babatwale mu kkooti bavunaanibwe.

Ekikwekweto kigenze okukolebwa nga minisita w’ebyenjigiriza Janet Museveni amaze okulabula amasomero agatalina bisaanyizo obutaggulawo era n’alagira abalambuzi b’amasomero okuggala ago gonna aganeesisiggiriza ne gaggulawo. Ku ssomero lya Don Integrated, abayizi ba Bbebi, Mmido ne Ttoopu baabadde basomera mu kibiina kimu. Baabadde tebalina layisinsi nga n’ebizimbe ebipya ebizimbibwa tebaasooka kubifunira pulaani okuva mu Munisipaali.

Godfrey Onesmas nga ye nnannyini ssomero yagambye nti layisisnsi tebasobola kugifunira mu lunaku luno era ng’ali mu nteekateeka ya kugifuna. Ku ssomero lya Springs of Hope e Kiwanga, baasanzeewo omusomesa omu yekka ng’era ye mukulu w’essomero, ebibiina nga birimu enzikiza ng’ebisulo by’abayizi tebiri ku mutindo nga n’abayizi abawala basula ku ttaka.

Mu bisulo by’abalenzi ng’amadiriisa bassaamu bibaati nga n’emizigo kwe basula kuliko n’abantu abalala. Mu kisulo mwabaddemu ejjambiya abayizi gye baabadde batemesezza ffene. Kino Balya yakivumiridde n’agamba nti kissa obulamu bw’abayizi mu katyabaga. Akulira essomero lino, Joshua Muwonge yagambye nti abasomesa yabadde abasuubira okutuuka ku ssomero essaawa yonna batandike okusomesa.

Nassolo ow’e Goma yagambye nti basazeewo okuggala amasomero agatali ku mutindo kubanga lipoota yalaga nti gegasinga okuvaamu abayizi abakabassanyizibwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fot2 220x290

Emizannyo gy'abamusaayi muto gyengedde...

Emizannyo gy'abamusaayi muto gyengedde

Kib2 220x290

Sipiika Kadaga azzeemu okukola...

Sipiika Kadaga azzeemu okukola emirimu gye

Sab2 220x290

Kabaka Mutebi ayozaayozezza obwa...

Kabaka Mutebi ayozaayozezza obwa Kabaka bwa Ghana okutuuka ku myaka 20

Got1 220x290

Omusawo bamusse agenze kuziika...

Omusawo bamusse agenze kuziika e Masaka

Gab2 220x290

Ebya dokita gwe basse bikyalanda...

Ebya dokita gwe basse bikyalanda