TOP

Abazadde balemesezza abasomesa okukyusibwa

By Musasi wa Bukedde

Added 11th February 2019

Abazadde balemesezza abasomesa okukyusibwa

Kab3 703x422

ABAZADDE n’abaasomerako ku Spire Road Primary School e Jinja bazinzeeko heedimasita mu lukiiko lw’abasomesa lw’abadde atuuzizza ne bamuwambako ebbaluwa ezibadde zikyusa abasomesa 10.

Bano olubatemezzaako nti heedimasita, Mike Mutove Mwoya abadde aliko abasomesa b’abadde agenda okukwasa ebbaluwa zaabwe mu butongole ezaabaweerezeddwa town clerk, Jofram Waidhuba, nabo ne bayingirawo. Olutuuse baagenze butereevu mu ‘staffroom’ awaabadde olukiiko ne bamuwambako fayiro y’amabaluwa gonna nga tannagakwasa basomesa bano.

Wabula ne polisi yayingiddewo mu bwangu n’ebalemesa okwonoona ebizimbe n’okutuusa ku heedimasita obulabe.Bano baategeezezza nti abasomesa abasinga b’ayagala okukyusa ba bibiina bya waggulu ekiyinza okukosa abaana.

Ababadde ab’okukyusibwa kuliko; Paul Kasoigo, Edward Bakwera Senyende, Immaculate Kayanga, Samuel Mukisa, Ruth Nakato, Godfrey Mwima, Grace Musooko, Barbra Mukungu, Sarah Balikweya Kaudha ne Rose Adiolo.

Abazadde baagambye nti tebalwanyisa kukyusa basomesa nti naye omuwendo gw’abo ab’ebibiina ebya waggulu gwe gwabaggye mu mbeera kubanga bangi era kijja kukosa ensoma y’abayizi.

Atwala ebyenjigiriza mu munisipali y’e Jinja, Amina Mutesi yategeezezza nti enteekateeka y’okukyusa abasomesa teyabadde ku ssomero lino lyokka wabula mu masomero ag’enjawulo mu kitundu kino.

Yabasabye bakkirize enkyukakyuka kubanga za bulijjo mu bakozi ba gavumenti. Wabula amyuka Omubaka wa gavumenti e Jinja, Abel Bakunda yabiyingiddemu n’ayimiriza abasomesa bano okukyusibwa okutuusa nga bamaze okunoonyereza ku kyaleeseewo okwekalakaasa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fot2 220x290

Emizannyo gy'abamusaayi muto gyengedde...

Emizannyo gy'abamusaayi muto gyengedde

Kib2 220x290

Sipiika Kadaga azzeemu okukola...

Sipiika Kadaga azzeemu okukola emirimu gye

Sab2 220x290

Kabaka Mutebi ayozaayozezza obwa...

Kabaka Mutebi ayozaayozezza obwa Kabaka bwa Ghana okutuuka ku myaka 20

Got1 220x290

Omusawo bamusse agenze kuziika...

Omusawo bamusse agenze kuziika e Masaka

Gab2 220x290

Ebya dokita gwe basse bikyalanda...

Ebya dokita gwe basse bikyalanda