TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abazadde bakubiriziddwa okujjumbira okugemesa abaana

Abazadde bakubiriziddwa okujjumbira okugemesa abaana

By Dickson Kulumba

Added 11th February 2019

Abazadde bakubiriziddwa okujjumbira okugemesa abaana

Sav1 703x422

GAVUMENTI neeralikirivu olw’abazadde okusulayo ogwannagamba mu kugemesa abaana ekintu ekyongedde okubasasanyamu endwadde nga n’abangi bafudde.
 
Kino kyasitudde abakungu ba Minisitule y’ebyobulamu mu ggwanga saako abasawo abegattira mu kibiina ekitumbula obujjanjabi bw’abaana obuli ku mulembe ( Uganda Paediatric Association- UPA)  okujja e Mmengo ku Lwokutaano February 8, 2019 okutandika enkolagana n’obwakabaka bwa Buganda okusala amagezi ku ngeri gyebayinza okwongera okukungamu abazadde okugemesa abaana.

“ Okusinzira ku kunoonyereza okukoleddwa, okugemesa abaana kukidde ddala wansi nga wetwogerera kuli ku bitundu 55 ku 100 ate ekisinga okutiisa kwe kuba nti wano mu Buganda omuwendo guli ku bitundu 48 ku 100 n’olwekyo twetaaga okukolera awamu okutereeza ekizibu kino ekyolekedde okutatana omujjijji omuto,”Dr. Immaculate Ampaire nga mukugu mu by’okujjanjaba abaana mu minisitule y’ebyobulamu bweyategezezza.

 
E Bulange- Mmengo bano basisinkaniddwa Kamisona mu minisitule y’ebyobulamu mu Buganda, Dr. Fiona Kalinda eyategezezza nti betegefu okuddamu kaweefube w’okukunga abazadde okugemesa abaana nga Kabaka bweyakikola mu kubakunga okugemesa poliyo.
 
“Ng’Obwakabaka tulina emitendera mingi egy’obukulembeze okuli okuva ku Kabaka okutuuka wansi ku Mutongole ate n’obusolya bw’ebika okutuuka wansi mu nju. Tukubiriza abazadde okutwala ensonga y’okugemesa abaana ng’ekikulu kubanga kibawonya endwadde nkumu eziyitiridde ensangi zino. Bwogemesa omwana wewala n’okusasanya ensimbi ku baana abalwalalwala olw’omubiri okubeera omunafu nga tegusobola kulwnayisa ndwadde,” Dr. Klainda bweyategezezza.

Dr. Ampaire yayongedde nategeza nti gavumenti eteeka mu malwaliro g’e Kampala eddagala erigema lya buwumbi butaano kyokka lingi liggwako ng’abaana tebagemeddwa wabula nebatwalibwa mu bulwaliro, abazadde gyebasasanyiza ensimbi ennyingi ezitalisasanyiziddwa nga bekweese mu ky’okutya okugemesa abaana.

 
Ye Dr. Ann Akullo ng’ono y’akulira UPA yategezezza nti okugemesa abaana tekirina kutiibwa kubanga eddagala eryeyambisibwa lisooka kwekenenyezebwa era wadde liyinza okubeera enkyukakyuka mu mubiri lyerireese mu baana, abazadde tebasanye kutya wabula basanye baddeyo mu malwaliro okuloopa ekibaddewo okusinga okwekweka n’okwogerera amafuukule enkola eno.
 
Okunoonyereza kuno kwakolebwa wakati wa 2016-2018 era nga kwalaze nti Karamoja eri ebitundu 73 ku 100, Acholi 65 ku 100, Teso 68 ku 100,Ankole 62 ku 100, Tooro 51 ku 100, Kigezi 72 ku 100, Bunyoro 67 ku 100, Busoga 45 ku 100,Bukedi 52 ku 100, Bugishu 48 ku 100.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fot2 220x290

Emizannyo gy'abamusaayi muto gyengedde...

Emizannyo gy'abamusaayi muto gyengedde

Kib2 220x290

Sipiika Kadaga azzeemu okukola...

Sipiika Kadaga azzeemu okukola emirimu gye

Sab2 220x290

Kabaka Mutebi ayozaayozezza obwa...

Kabaka Mutebi ayozaayozezza obwa Kabaka bwa Ghana okutuuka ku myaka 20

Got1 220x290

Omusawo bamusse agenze kuziika...

Omusawo bamusse agenze kuziika e Masaka

Gab2 220x290

Ebya dokita gwe basse bikyalanda...

Ebya dokita gwe basse bikyalanda