TOP

Omubaka agugumbudde abasajja abasuulirira amaka

By Musasi wa Bukedde

Added 12th February 2019

OMUBAKA wa Masaka mu Palamenti, Mary Babirye Kabanda agugumbudde abasajja abeegumbulidde omuze gw’okusuulirira bakyala baabwe ne babalekera obuvunaanyizibwa bw’okwerabirira n’abaana baabwe.

Miss 703x422

Omubaka Mary Babirye Kabanda ng’ayogera eri abazadde b’abaana be baawadde bbasale.

Annyonnyodde nti kino yakizuulidde ku bungi bw’abakyala abamwetayirira okubayambirako abaana ne bamutegeeza nti abasajja olubazaalamu nga babasuulawo. 

Bino omubaka Kabanda yabyatulidde ku mukolo gwe yakwasirizza abaana bbasale mu masomero agenjawulo.

Muno mulimu aba yunivasite, pulayimale, siniya, amatendekero n’abasoma Obusaseredooti ng’obuyambi abuyisa mu kibiina kye ekya Babirye Kabanda Development Foundation.

Muky. Kabanda ne bba Charles Kabanda baategeezezza abazadde nti obuvunaanyizibwa bw’okulabirira abaana bwa babiri nga babakuliza mu mpisa bafuuke aboomugaso mu nsi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fot2 220x290

Emizannyo gy'abamusaayi muto gyengedde...

Emizannyo gy'abamusaayi muto gyengedde

Kib2 220x290

Sipiika Kadaga azzeemu okukola...

Sipiika Kadaga azzeemu okukola emirimu gye

Sab2 220x290

Kabaka Mutebi ayozaayozezza obwa...

Kabaka Mutebi ayozaayozezza obwa Kabaka bwa Ghana okutuuka ku myaka 20

Got1 220x290

Omusawo bamusse agenze kuziika...

Omusawo bamusse agenze kuziika e Masaka

Gab2 220x290

Ebya dokita gwe basse bikyalanda...

Ebya dokita gwe basse bikyalanda