TOP

Omukazi apanze abatemu bateme bba okugulu

By Musasi wa Bukedde

Added 12th February 2019

POLIISI y’e Bulaga ku lw’e Mityana ekutte omukazi agambibwa okupanga olukwe n’agula abasajja babiri batemeko bba okugulu asobole okumuggyako 900,000/- ze baatunze mu ttanuulu y’amatoffaali.

Panga 703x422

Najjuuko ng’afukamidde yeegayirira balamu be boogere ne bba Nsubuga (mu katono) amusonyiwe.

Jane Najjuuko 39, omutuuze w’e Ssumbwe ku luguudo lw’e Mityana y’agambibwa okugula abatemu bateme bba Sinan Nsubuga 35. Bano babadde baakamala emyaka musanvu mu bufumbo era nga balina abaana babiri.

Najjuuko agamba nti Nsubuga okumufuna yali yaakanoba ewa bba eyasooka gye yazaala abaana basatu era kati mu kiseera kino yafa mu kabenje mu 2015 wabula okuva olwo abadde amubonyaabonya nga tamuwa byakulya n’abaana be ng’omusajja bw’alina okukola era kwe yaggya obusungu.

Yagambye nti gye buvuddeko, Nsubuga yatunda amattoffaali gaabwe ge baali bakubye 600,000/- era ku ssente zino, omusajja yamuwaako 2,000/- ekyayongera okumwennyisa omutima.

Ku mulundi guno ku Lwokusatu wiiki ewedde Nsubuga era yatunze amattoffaali ekitundu kya tannuulu ekyabadde kisigaddewo 900,000/-, era n’agaana okumpaako wadde ekikumi.

“Nannyize ne nsalawo okwebuuza ku mikwano gyange nga mbasaba bandagirire omuntu ayinza okunnyamba okuzimuggyako nsobole okuzifunako ntandikewo bizinensi mpeerere abaana baffe nve ku mulimu gw’okusima omusenyu.

Wabula nejjusa omukyala gwe nali mpita mukwano gwange abantu be yandeetera baali baserikale ba poliisi era saasoose kumanya wabula bampadde amagezi nti okumuggyako ssente (Nsubuga) balina kumala kumutemako kugulu okumu nze ne bankubamu ne ndyoka nzigyayo ssente gy’azitereka,” Bwatyo Najjuuko bwe yategeezezza.

Agattako nti; Nakkiriza olw’obulumi obungi Nsubuga bw’ampisizzaamu kasita babadde bankakasizza nti tebagenda kumutta. Bansalidde 200,000/-, ne mbawaako 50,000/- endala nabadde sizirina nga nnina kubawa ku zehhenda okuggya ku Nsubuga.

Ku Ssande abasajja bano baagenze misana ewa Najjuuko abalambuze we basula era nga bamukwata ebifaananyi ku ssimu nga tamanyi era n’abasuubiza okubongera n’omulimu gwe gumu e Mityana eri omuntu abaloga.

Ku ssaawa bbiri ez’ekiro ku Ssande, bwe bazze okutema Nsubuga ate Najjuuko yagenze okulaba nga bamwefuulira okukkakkana nga bamukutte ku musango gwa kugezaako kutta muntu.

Nsubuga yategeezezza poliisi nti bulijjo amanyi nti alina omukyala awaka wabula nga nsolo ng’ate amulinamu abaana babiri.

Poliisi y’e Bulaga ku Mwenda, Najjuuko gy’akuumirwa yategeezezza nti bamugguddeko omusango gw’okugezaako okutta omuntu ku fayiro nnamba SD/24/10/02/2019 Ssentebe wa Bulaga B, okulinana Ssumbwe Najjuuko ne bba gye basula, Charles Ssentongo yalaze n’ejjambiya Najjuuko gye yabadde agulidde abatemu era n’alabula abakyala okukomya obusungu.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Gat1 220x290

Nze ne Bobi Wine ffembi tugaggawalidde...

Nze ne Bobi Wine ffembi tugaggawalidde ku mulembe gwa Museven- Bebe Cool

Fot2 220x290

Emizannyo gy'abamusaayi muto gyengedde...

Emizannyo gy'abamusaayi muto gyengedde

Kib2 220x290

Sipiika Kadaga azzeemu okukola...

Sipiika Kadaga azzeemu okukola emirimu gye

Sab2 220x290

Kabaka Mutebi ayozaayozezza obwa...

Kabaka Mutebi ayozaayozezza obwa Kabaka bwa Ghana okutuuka ku myaka 20

Got1 220x290

Omusawo bamusse agenze kuziika...

Omusawo bamusse agenze kuziika e Masaka