TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abavubuka mukomye effujjo bwe muba mwagala okugenda mu maaso- Omubaka Zaake

Abavubuka mukomye effujjo bwe muba mwagala okugenda mu maaso- Omubaka Zaake

By Musasi wa Bukedde

Added 12th February 2019

OMUBAKA wa Mityana North, Francis Zaake agambye abatuuze b’e Lwengo nti ekisinde kya ‘People Power’ kimaliridde okugoba abavubuka abakola effujjo abavuddeko emivuyo gy’okwekalakaasa kibayambeko okuwangula akalulu mu mirembe.

United 703x422

Zaake ng’ayogera eri Bannalwengo. Ku ddyo sipiika wa Buganda Youth Council, Allan Ssebunnya ne Kizza.

 “Tetugenda kuwangula kifo kyonna singa abavubuka tetweddako mu ntalo ze tuwakula era mwerabidde nti abantu be mukoleramu effujjo ate bakugu n’okubasinga kuba buli kimu eky’okulwanyisa n’obukodyo bakirina. N’olwekyo tumaliridde okugoba buli aneenyigira mu mivuyo kuba tewali bukulembeze bunyuma ng’okuwangula akalulu mu mirembe,” omubaka Zaake bwe yategeezezza.

Okwogera bino yasinzidde mu kuggalawo empaka z’emipiira egy’abawala n’abalenzi egyategekeddwa Hakim Kizza nga gino gyabadde ku kisaawe kya Bbaale Stadium mu kabuga k’e Kinoni ng’omupiira ogw’abalenzi gwaggweeredde mu bikonde bwatyo Kizza n’ayimiriza omupiira guno okutuusa ku Lwokusatu lwa wiiki eno.

Zaake yasabye abakulembeze okusakira ebitundu byabwe n’okubiteeseza omuli n’okutumbula ebitone by’abavubuka baleme okubagawo amateeka aganyigiriza eddembe ly’omuntu nga bweguli ku minisita Kiwanda ayagala okutumbula ebitone by’obubina bw’abakyala mu ggwanga ekintu eky’obuswavu.

Sipiika wa Buganda Youth Council, Allan Mayanja Ssebunnya yasabye abavubuka okukomya okulowooleza mu byobufuzi nti bagenze kufuna mirimu n’abalabula okugenda mu byobufuzi n’ekigendererwa ky’okuweereza abantu.

Mayanja naye yalabudde abavubuka okukomya effujjo eribaviiriddeko obulemu n’amaka gaabwe okusasika n’abasaba okukikomya basobole okweyagalira mu buvubuka bwabwe.

Abalala abaabaddewo ku mpaka zino kwabaddeko Francis Kizito owa Lubaga North, Batemyetto n’abalala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bim1 220x290

kkooti ewadde ekiragiro ku mpaka...

kkooti ewadde ekiragiro ku mpaka z'obubina

Lop1 220x290

Eyawambye omwana ku ssomero n'asaba...

Eyawambye omwana ku ssomero n'asaba ssente poliisi emukutte

Kis1 220x290

Omulimu gw'okuzimba ekisaawe kya...

Omulimu gw'okuzimba ekisaawe kya Nakivubo gutambula bulungi

Sarangabaagaembuzinekikondekyekunokwebayitaokugikubaekikondeweb 220x290

Ntunda mitwe gya mbuzi okuweerera...

Emitwe gy'embuzi gye nsasulwa mu kuzibaaga mwe mpeeredde abaana n'okwongerako emirimu emirala.

United1 220x290

Kiikino ekizembe kw’olabira Dubai...

DUBAI eyongedde okussaawo likodi! Ku kizimbe ekisinga obuwanvu mu nsi yonna, egasseeko ekizimbe ekyakulanga “Fuleemu”...