TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poliisi ekebezza Yiga Mbizzaayo omusaayi ku mpaka

Poliisi ekebezza Yiga Mbizzaayo omusaayi ku mpaka

By Musasi wa Bukedde

Added 12th February 2019

PAASITA Augustine Yiga ‘Abizzaayo’ bamukunguzza okuva ku poliisi e Kawempe n’atwalibwa e Wandegeya gy’aggyiddwaako omusaayi ku mpaka okugukebera okuzuula oba ye kitaawe w’omwana gw’agambibwa okuzaala mu muwala Angel Ainembabazi gwe yakabassanya ng’agenze ku kkanisa ye eya Christian Revival Church e Kawaala okumusabira.

Papa 703x422

Abawagizi ba Yiga nga beekalakaasizza ku poliisi.

Zaabadde ssaawa 7:00 ez’omu ttuntu, mmotoka ya buyonjo ey’ekika kya Mark II, nnamba UAS 360U n’esimba emmanju wa poliisi y’e Kawempe, Yiga n’aggyibwa mu kaduukulu mw’abadde okuva ku Lwokutaano ne bamuyingiza mu mutto ogw’emabega mu bwangu obw’ekitalo.

(Eno e Kawempe baali basazeewo okumuggyayo ku wiikendi bamutwale e Kireka kyokka oluvannyuma ne kisazibwamu).

Mu kuyingira mmotoka, Yiga yabadde ng’ayagala okuwalira kyokka bambega ba poliisi abaabadde mu ngoye eza bulijjo ne bamukwatako ku mugongo ne ku mutwe okumuyingiza mmotoka n’esimbula mu bwangu ne bamutwala e Wandegeya mu kifo abakugu gye bakeberera omusaayi, endaga butonde n’ebizibiti, ekiyitibwa Government Analytical Laboratory (GAL).

Bino biddiridde Yiga okukwatibwa ku Lwokutaano nga yaakadda okuva e South Afrika, n’aggalirwa ku poliisi e Kawempe oluvannyuma lw’omuwala Ainembabazi okumuggulako omusango ogw’okumukabassanya n’atuuka n’okumufunyisa olubuto ate n’agaana okumulabirira n’omwana n’agattako n’okumutiisatiisa okumutuusaako obulabe singa avaayo n’abyogera.

...................................................................................................................

Paasita Yiga Abizzaayo byongedde okumwonoonekera: Bamwongeddeko emisango emirala

Ebiwalirizza Paasita Yiga okuddukira e South Afrika

..................................................................................................................

Omusango guno guli ku fayiro nnamba GEF 18/2019 nga Yiga agambibwa okuguzza emyaka etaano egiyise era omuwala yageze nnende akomyewo okuva e South Afrika kwe kumuwendulira poliisi.

Yiga yakwatiddwa agenze ku poliisi e Kawempe okuggyibwako sitatimenti nga yasoose kubiyita bya lubalaato okutuusa lwe baamuggyeemu engatto n’omusipi ne bamuyingiza akaduukulu gye yasuze okutuusa eggulo ku Mmande lwe yaggyiddwaawo okutwalibwa e Wandegeya.

Ensonda ku poliisi e Kawempe zaategeezezza nti Paasita Yiga yasoose kuwalira bwe baamugambye nti bamutwala Wandegeya ku kkeberezo lya Gavumenti, era abaserikale kwe kusalawo bamutwale ku mpaka basobole okumuggyako omusaayi n’omwana wa Ainembabazi okuzuula ekituufu oba ddala omuwala by’amulumiriza bituufu.

Kino poliisi yakikoze okwongera okunoonya obujulizi bw’egatta ku fayiro ya Yiga n’okuzuula obukakafu obumuluma oluvannyuma lw’omuwala Angel Ainembabazi okumuwawaabira omusango gw’okumukabassanya n’amuzaalamu omwana ate n’amwegaana.

////////////////////////////////////////////////////////////////////////////////////////////////

Paasita Yiga Mbizzaayo twamugobye mu Uganda - Ssennyonga

Paasita Ssennyongo akubye munne Yiga 'Abizzaayo' mu mbuga z'amateeka

Ebya Paasita Yiga ne Ssennyonga bisajjuse

\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\\

Bino byonna poliisi yagezezzaako okubikola mu nkukutu nga bannamawulire abaabadde balinze ebweru wa poliisi tebamanyi era mu kumufulumya okumutwala e Wandegeya bambega baakozesezza mmotoka ezaabuyonjo nga za njawulo ezivugibwa abaserikale abakolera ku poliisi y’e Kawempe.

Baamuyisizza mmanju mu bukuubo obuyita mu buyumba bw’abaserikale kyokka bannamawulire olwabitegedde ne bayolekera e Wandegeya wabula ne bagaanibwa okuyingira mu kifo kino ekyabadde kikuumibwa obutiribiri.

Okumuggyako omusaayi kyatutte eddakiika nga 45 era oluvannyuma nga kiwedde poliisi yamukukusizza okumuggyawo ng’ekozesa ggeeti y’emmanju okudduka ku bannamawulire ne bagezaako okugigoberera kyokka ne bababulako ne baddayo ku poliisi e Kawempe.

Kyokka era poliisi yazzeemu okukuba bannamawulire ekimmooni bwe yamukomerezzaawo mu mmotoka ekika kya Corona UAH 416F okwawukana ku Mark II nnamba UAS 360U gye baamutwaliddemu era buli omu gye yabadde alindirira kino baagenze okukizuula nga Yiga yazzeeyo dda mu kaduukulu ka poliisi.

###########################################################################

‘Paasita Yiga yansiiga siriimu n’andekawo’

Paasita Yiga 'Mbizzaayo' apondoose n’akkiriza okumukebera omusaayi

Omuwala Pasita Iga gwe yazaalamu omwana afudde; Famire ekukkulumye!

'Paasita yannimba nti baganda bange be bandoga n'anfera obukadde 50'

Paasita wa Full Gospel ebyobugagga bya mukyala we bimukwasizza

Singa teyali Paasita Yiga temwanditegedde: Hajat Madina Bibuuza

#####################################################

ABAWAGIZI BABATUTTE ENTYAGI

Abagoberezi ba Yiga baataddewo obunkenke ku poliisi oluvannyuma lw’okukeera ku poliisi nga bakutte ebipande okuli ebigambo nti, “twagala Musumba waffe” obwedda gwe bayimba nti ‘Daddy daddy’.

Bano poliisi yabambalidde n’ebatwala emisinde nga bw’ebakuba kibooko nga babazza gye baavudde.

Oluvannyuma baakomyewo mu musoolesoole ne batuula okuliraana poliisi nga bwe balindirira ekiva ku poliisi kyokka olwalabye mmotoka bannamawulire obwedda ze bagoberera nga ziyimiridde mu luggya lwa poliisi ne batandika okukuba enduulu eya waggulu nga bwe bayimba.

Kyokka ekyabaggye mu mbeera be baserikale okuwamba kamera ya munnamawulire wa Yiga n’okumuyisaamu empi era ne batabuka okutuusa aba poliisi bwe baagimuddizza.

Wabula ku ssaawa nga 1:00 ey’akawungeezi Yiga yayimbuddwa ku kakalu ka poliisi, abagoberezi abatonotono abaabadde basigaddewo ne bafa essanyu era ne bayimba n’ennyimba eziwaana ‘Daddy’ waabwe.

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kip2 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze...

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okufuna mu kulima Levander

Pap2 220x290

Aba P7 babalaze ebinaabayamba okuwangula...

Aba P7 babalaze ebinaabayamba okuwangula

Top2 220x290

Abafera abantu okubatwala ku kyeyo...

Abafera abantu okubatwala ku kyeyo bakwate

Tip2 220x290

Omukozi w’awaka abuzeewo ne bbebi...

Omukozi w’awaka abuzeewo ne bbebi wa muliraanwa

Lab2 220x290

‘Ppaaka Enkadde efuuse kiraalo...

‘Ppaaka Enkadde efuuse kiraalo kya nte