TOP

Omuyizi afiiridde mu kabenje e Naluvule

By peter ssaava

Added 12th February 2019

Omuyizi afiiridde mu kabenje e Naluvule

Lit2 703x422

OMUYIZI omu afiriddewo nomulala natwalibwa mu ddwaliro e  Mulago nga biwala ttaka oluvannyuma lwokugwa ku kabenje enkya ya leero. 
 
Akabenje Kano kaguddewo mu bitundu bye Naluvule ku luguudo oluva e Kampala okudda e Hoima. 
 
Omuyizi afudde ye Precious Kyohairwe 11 ate nga muto we Praise Mulindwa amenyese okugulu nga bano babadde basomera ku Toto kindergarten school e Gombe Kayunga mu Wakiso. 
 
Abatuuze bategezezza Bukedde fa ma leediyo embuutikizi nti mmotoka ekika kya magulu kkumi nnamba UAU 732 V okutomera boda nnamba UDQ 046R abayizi bano kwe babadde batambulira okukakkana ngomugoba wa boda boda agudde mu mufulejje wansi ate omu ku bayizi nabetentebwa omutwe.
 
Ddereeva wa lukukukana olulabye nti atomedde abantu nasalawo okuzza mmotoka emabega nayagala okusanyawo abalala era taxi nnamba UAU 832B ebadde esimbye ku kkubo nemwekiika okumuremesa okubakoona olwo abatuuze ne batandika okumuwerekereza amayinja.
 
Ono poliisi okuva e Naluvule yemutasizza nemuddusaawo ku batuuze ababadde bataamye. 
Akabenje Kano kareesewo akalippagano k'ebidduka okumala essaawa nnamba okutuusa poliisi yebidduka lwejjewo mmotoka zino. 
 
Nannyini taxi eyekiise mu kkubo nga ye Robert Mulindwa, aguddewo ekigwo bwe yetegerezza abaana batasizza nga be babe bennyini. 
 
Nnyina w'abaana bano Barbara Nakinobe mu mulanga omungi ategezezza nti amawulire gakabenje agategdde agenda ku ssomero gyasomesa era tasoose kukkiririzaawo. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Gat1 220x290

Nze ne Bobi Wine ffembi tugaggawalidde...

Nze ne Bobi Wine ffembi tugaggawalidde ku mulembe gwa Museven- Bebe Cool

Fot2 220x290

Emizannyo gy'abamusaayi muto gyengedde...

Emizannyo gy'abamusaayi muto gyengedde

Kib2 220x290

Sipiika Kadaga azzeemu okukola...

Sipiika Kadaga azzeemu okukola emirimu gye

Sab2 220x290

Kabaka Mutebi ayozaayozezza obwa...

Kabaka Mutebi ayozaayozezza obwa Kabaka bwa Ghana okutuuka ku myaka 20

Got1 220x290

Omusawo bamusse agenze kuziika...

Omusawo bamusse agenze kuziika e Masaka