TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eb'y'empaka z'obubina bituuse mu Palamenti: Kiwanda afunye obuwagizi

Eb'y'empaka z'obubina bituuse mu Palamenti: Kiwanda afunye obuwagizi

By Muwanga Kakooza

Added 12th February 2019

MINISITA Godfrey Kiwanda ayongedde okufuna embavu ku by’okutegeka empaka z’abakazi ab’obubina obunene omu ku babaka bw’asinzidde mu palamenti n’aziwagira ng’agamba nti okuzivumirira kwenkana n’okusosola abakazi abanene.

Panta1 703x422

MINISITA Godfrey Kiwanda ayongedde okufuna embavu ku by’okutegeka empaka z’abakazi ab’obubina obunene omu ku babaka bw’asinzidde mu palamenti n’aziwagira ng’agamba nti okuzivumirira kwenkana n’okusosola abakazi abanene.

‘’ Simanyi lwaki waliwo okusika omuguwa kunene ku by’okutegeka empaka z’abakazi abanene (eza Miss Curvy). Okuvumirira empaka zino kyenkana n’okusosola abakazi abanene. Lwaki musosola abakazi abanene!. Bwe tuba ba kuwera mpaka za bwanalulungi tuwere empaka zonna ez’abanene n’ez’abatono’’ omubaka w’esaza ly’e Kasiro e Soroti  Elijah  Okupa bwe yategeezezza.

Yabadde ayogerera mu palamenti eyakubiriziddwa omumyuka wa sipiika Jacoub Oulanya era okwogera bino yabadde ayanukula munne omubaka omukazi  owa disitulikiti y’e Budaka, Pamela Kamugo,eyaasituse okwogera ku nsonga enkulu eziri mu ggwanga ne yebuuza ekitaamudde minisita Kiwanda okuwagira empaka zino.

Kyokka okwongera okukubaganya ebirowoozo ku nsonga eno tekwabaddewo. Bukyanga minisita Kiwanda awagira aba kkampuni  egenda okutegeka empaka zino eya Miss Curvy ng’agamba nti kigenda kwongera okutumbula eby’obulambuzi wabaddewo okusika omuguwa wakati w’abantu  abaziwagira n’abataziwakanya.

Abaziwakanya abamu babadde bannaddiini okuli ne Ssabalabirizi w’Ekkanisa ya Uganda, Stanley Ntagali, abamu ku babaka ba palamenti kyokka nga kino babadde bakolera bweru wa palamenti n’abantu abalala  abagamba nti balumirirwa kitiibwa ky’abakyala.

Abetegesi b’empaka zino babadde bakyogera nti guno ssi gwe mulundi ogusoose okuzitegeka era tezirina njawulo nnene wakati wazo n’ez’obwanalulungi okuggyako okugamba nti zino za bakazi banene ate ez’obwanalulungi ezibaddewo  zeetaabwamu bakazi ba sayizi ntono.

Abawakanya Kiwanda abamu bamugambye azisazeemu yetonde n’abalala ne bamugamba alekulire. Kyokka Kiwanda yawagiddwa  mukama we minsita omujjuvu Ephrahim Kamuntu eyagambye nti  buli muntu alina okweyambisa ky’alina okutumbula eby’obulambuzi bya Uganda.

N’agamba nti empaka za babubina bunene abatabulina eby’okuzeetabamu babiveeko bazirekere abalina kye balagawo. Pulezidenti Museveni naye yewunyizza enjawulo eri wakati w’empaka z’obwanalulungi ezibeeramu abakazi abatono Quin Abenakyo ze yawangula mu Uganda ne Africa Bannayuganda ne bamuyozayoza n’empaka z’abakazi abanene ye be yayise ba ‘’nabitege’’.

 ‘’ Oba tukiriza empaka z’abanalulungi (aba sayizi entono) ate olwo ez’abakazi abanene (ba nabitegeke ?” Museveni bwe yabuuzizza. Naye n’agamba nti abategeka empaka z’abakazi abanene basaanye ababavumirira boogere nabo bulungi bawulire ebirowoozo byabwe mu kifo ky’okubavumirira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sab2 220x290

Kabaka Mutebi ayozaayozezza obwa...

Kabaka Mutebi ayozaayozezza obwa Kabaka bwa Ghana okutuuka ku myaka 20

Got1 220x290

Omusawo bamusse agenze kuziika...

Omusawo bamusse agenze kuziika e Masaka

Gab2 220x290

Ebya dokita gwe basse bikyalanda...

Ebya dokita gwe basse bikyalanda

Jip1 220x290

Abavubuka ba DP basatu bakwatiddwa...

Abavubuka ba DP basatu bakwatiddwa ku bya Bobi Wine

Kut2 220x290

Amagye gawadde Ssematimba ebiragiro...

Amagye gawadde Ssematimba ebiragiro