TOP
  • Home
  • Amawulire
  • DP eyingidde mu nkaayana z'ettaka lya Ssekabaka Muteesa

DP eyingidde mu nkaayana z'ettaka lya Ssekabaka Muteesa

By Muwanga Kakooza

Added 12th February 2019

DP etegeezezza nti egenda kuyungula abajjulizi okuwolereza eyali Pulezidenti wayo era Katikkiro wa Uganda eyasooka Ben Kiwanuka omulangira David Wasajja gw’alumiriza nti y’omu ku beetaba mu kubba ettaka lya Ssekabaka Edward Muteesa1 e Mutungo mu Kampala.

Funa1 703x422

Moa ng’ali n’abavubuka ba DP abasomera mu yunivasite e Makerere bwe baabadde mu lukung’ana lwa bannamawulire mu Kampala.

Pulezidenti wa DP Nobert Mao era ategeezezza nti waliwo ekibinja ky’abantu okuva e Vatican ekitandise okunoonyereza ku mugenzi Ben Kiwanuka n’ekigendererwa ky’okumufuula omutuukirivu.

Kiwanuka  era eyaliko Ssabalamuzi wa Uganda yatemulwa ku mulembe gwa Idi Amin mu myaka gy’ensanvu kyokka n’ebigalirira bye teri amanyi gye biri n’okutuusa olwa leero. DP egambye nti yafunye abakugu okuva ebweru abagenda okugiyamba okubiyigga.

Bino Mao eyabadde n’abavubuka ba DP abasomera ku yunivasite e Makerere yabitegeezezza mu lukung’ana lwa bannamawulire mu Kampala. Kyadiridde omulangira Wasajja okugeda mu kakiiko akabuuliriza ku mivuyo gy’ettaka n’alumiriza nti Ben Kiwanuka n’abalala beetaba mu kubba ettaka lya Ssekabaka Muteesa II ng’ali mu buwanganguse.

Ensonga ziri mu kkooti era Mao yagambye nti bagenda kutwala mu kkooti obujjulizi okuva ewa Muzeeyi Simon Mwebe eyali omukung’anya w’olupapula lwa Munno,obulula okuva ewa Francis Bwengye eyaliko Ssabawandiisi wa DP, okuva mu famile ya Ben Kiwanuka n’abalala babutwale mu kkooti okunnyonnyola ebyaliwo musajja waabwe Ben Kiwanuka aleme kusiigibwa nziro.

Ku kwegatta kwa DP, Mao yagambye nti ku Mmande Febuary 18, abantu bonna ababadde balina obutaakanya mu kibiina bagenda kussa emikono ku kiwandiiko ky’okwegatta n’okuddamu okukolaganira awamu. Era yagambye nti DP egenda kwogeraganya ne  Bobi Wine, FDC, UPC n’ebibiina ebirala ebivuganya gavumenti okukolaganira awamu  okulaba nga bawangula Pulezidenti Museveni mu 2021.

Mu nkola eno DP eyagala ekibiina ky’obufuzi kiweebwe enkizo okusimbawo mmemba wakyo  mu kitundu gye kisinza obuwagizi yokka. Okugeza mu Buganda owa DP bw’aba yesimbyewo ku kifo kyonna nga tavuganyizibwa wa ludda luvuganya mulula, ate e Lango owa UPC aleme kuvuganyizibwa , e Teso owa FDC nayo aleme kuvuganyizibwa ab’oludda oluvuganya beebeegatteko bwegassi kiyambe okwongera ku bungi bwabwe mu Palamenti.

DP era yategeezezza nti yalonze ababaka Asuman Basalirwa (Bugiri munisipaali – JEEMA), Paul Mwiru (FDC – Jinja Municipaliti East) ne Abdu Katuntu (FDC Bugweri) okubayamba okukunga abantu okutegeka olukung’ana lwa DP olw’okuddamu okumanyagana olunaaba e Jinja nga Febuary 20.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fot2 220x290

Emizannyo gy'abamusaayi muto gyengedde...

Emizannyo gy'abamusaayi muto gyengedde

Kib2 220x290

Sipiika Kadaga azzeemu okukola...

Sipiika Kadaga azzeemu okukola emirimu gye

Sab2 220x290

Kabaka Mutebi ayozaayozezza obwa...

Kabaka Mutebi ayozaayozezza obwa Kabaka bwa Ghana okutuuka ku myaka 20

Got1 220x290

Omusawo bamusse agenze kuziika...

Omusawo bamusse agenze kuziika e Masaka

Gab2 220x290

Ebya dokita gwe basse bikyalanda...

Ebya dokita gwe basse bikyalanda