TOP

Guvnor Ace awasizza Omuzungu omulala

By Martin Ndijjo

Added 12th February 2019

Omuyimbi Guvnor Ace awasizza Omuzungu omulala okudda mu kifo kya nnamukadde Lisa gwe yayawukana naye.

Guv 703x422

Guvnor Ace ne Linnea Lotlina nga balaga satifiketi y'obufumbo

“Kiwedde aboogera mwogere ngenze ne bbebi wange ono kufa kwe kulitwawukanya ” bino bye bibadde ebigambo by’omuyimbi Guvnor Ace (Ronald Ssemawere) amangu ddala nga yakagattibwa n’omwagalwa we omupya Linnea Lotlina enzaalwa ya Sweden.

Guvnor Aca ne Linnea ababadde abasanyufu bakira bakuba ebirayiro bwe beemoola mu ngeri y'okweraga amapenzi bagattiddwa mu mpeta ey’ekitala emisana ga leero ku offiisi ya ‘Diisi’ ku Amamu House ku Goerge Street

Guno mulundi gwa kubiri nga Ssemawere agattibwa mu bufumbo bw’ekika kino omulundi ogwasooka gw’aliwo mu August wa 2015 yagattibwa ne nnamukadde Jonnson Ann Lisa naye  enzaalwa ye Sweden kyokka bano oluvannyuma bayawuukana.

Ssemawere amazze ebbanga ng’abeera Sweden gye yaali yagenda ne Lisa okutuusa mu December w’omwaka oguwedde bwe yakomawo mu Uganda.

Ono kigambibwa okudda ku buttaka kyava ku kufuna buzibu n’empapula ze ez’obutuuze ng’ayawukanye ne Lisa era okugattibwa ne Linnea akikoze kuteereza mpapula.

Kyokka Ssemawere bino abiwakanyiza ng’agamba okugattibwa ne Linnea akikoze kumukakasa nti ddala amwagala era gwasiimye mu bangi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Jodan111 220x290

Dortmund enywezezza Sancho

Dortmund eyongedde Sancho endagaano n'emuweerako n'omusaala omusava.

Rashford111 220x290

Atendeka ManU agobye Pogba mu kukuba...

Solskjaer agamba nti Rashford y'alina okusooka okwesimba mu peneti za ManU ng'omuzannyi omulala tannagyesimbamu....

Buchanan asimbiddwa mu Kkooti y'amagye...

Omusubuuzi wa zaabu Samuel Buchanan asimbiddwa mu kkooti y’amagye n'avunaanibwa okusangibwa n’emmundu n'amassi...

Kanso1web 220x290

Olutalo e Nakawa; Bakansala ne...

AKALEEGA bikya akali wakati wa meeya wa Nakawa, Ronald Balimwezo ne bakansala kasinze kwetooloolera ku nsonga za...

Buchanan asimbiddwa mu kkooti y'amagye...

Omusubuuzi wa zaabu Samuel Buchanan asimbiddwa mu kkooti y’amagye n'avunaanibwa okusangibwa n’emmundu n'amassi...