TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Banoonya ba Crime Preventer ababbira mu byambalo bya poliisi

Banoonya ba Crime Preventer ababbira mu byambalo bya poliisi

By Paddy Bukenya

Added 14th February 2019

POLIISI e Katonga etandise omuyiggo gwa ba Crime preventer ababbira mu byambalo bya poliisi.

Good1 703x422

Mukasa

Bano abaali bagiyambako okuziyiza obumenyi bw’amateeka wabula batandise okukozesa ebyambalo bya poliisi nga banyaga abantu ekiro nokubatulugunya.

Omwogezi wa poliisi mu kitundu kino, Phillip Mukasa agamba nti baafunye amawulire nti waliwo ba Crime Preventer abakozesa ebyambalo bya poliisi ne batiisatiisa abantu olwo ne babanyagako ebyabwe n’okubatulugunya nga beeyita abaserikale ba poliisi.

Mukasa yagambye nti basinga mu kitundu ky’e Gombe mu Butambala nga bano baasooka kulemera byambalo bya poliisi era batandise okubayigga bakwatibwe.

“Ba Crime preventer tebakyali bakozi ba poliisi era ebyambalo bino byabaweebwa kuyambako poliisi mu kulonda okuwedde nga balina okubizzaayo mu bbanga lya myezi ebiri gyokka, kyokka abamu ne babiremera nga kati babikozesa okutiisatiisa abantu n’ebigendererwa by’okubabba era tutandise okubanoonya bakwatibwe tubavunaane emisango 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kazi 220x290

Eyandesa omulimu ansuddewo

NZE Mediatrice Kubwimana 28, nzaalibwa Burundi naye nga mbeera Namugongo Zooni II. Mu 2011, nafuna omulimu gw’obwayaaya...

Civil 220x290

Omukazi atagambwako yali antamizza...

ENNAKU gye ndabidde mu nsonga z’omukwano mpitirivu era nabulako katono okugwenenya.

Funa 220x290

Eyantwala ku yunivasite yanzitattana...

NZE Jennifer Alwoch 26, mbeera ku kyalo, Adyel mu Lira. Bazadde bange bampeererako okutuuka mu S6 naye ssente ezinyongerayo...

Ssenga1 220x290

Lwaki mpulira sirina maanyi ga...

SSENGA mpulira nga sirina bulungi maanyi ga kisajja. Naye bwe neegatta amaanyi ngafuna bulungi naye ndowooza nti...

Ssenga1 220x290

Ensundo ya muganzi wange entiisa...

SSENGA nnina omuwala gwe njagala naye alina ensundo empanvu ku kisambi. Mugamba agende mu ddwaaliro agamba nti...