TOP

Aloopye muganzi we okubuzaawo omwana

By Joseph Makumbi

Added 14th February 2019

Nakijoba yagambye nti, baayawukana ne Kibirango mu 2017 nga bafunye obutategeeragana n’asigaza omwana era okuva lwe yatandika okusoma y’abadde amuweerera ng’era abadde agenze mu P2.

Sonia2 703x422

Nakijoba ng'annyonnyola. Mu katono ye mwana we Nakibirango eyabuziddwaawo kitaawe.

OMUSAJJA atabuse n’omukazi gwe yazaalamu omwana ku by’ensasula y’ebisale by’essomero n’amulabiriza nga yeewunguddemu n’abuzaawo omwana.

Sophia Nakijoba nnyina w’omwana yagambye nti, muwala we, Sonia Nakibirango 6, yabuziddwaawo ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde oluvannyuma lw’okukyaza eyali bba,Yahaya Kibirango awaka e Nateete mu Makaayi zooni.

Yagambye nti, baayawukana ne Kibirango mu 2017 nga bafunye obutategeeragana n’asigaza omwana era okuva lwe yatandika okusoma y’abadde amuweerera ng’era abadde agenze mu P2.

“Mu lusoma olwokubiri omwaka oguwedde, namusaba annyambeko okusasula ebisale by’essomero naye eyasasulako omulundi gumu.,” Nakijjoba bwe yategeezezza.

“Bwe namukubira yayogera bisongovu ng’abasajja abansigula bwe balemeddwa okundabirira kati musaba ssente za kwerabirira. Nayagala muyite awaka alabe omwana w’abeera aleme kulowooza nti njagala ssente ze,” Nakijjoba bwe yategeezezza.

Yayongeddeko nti, yatuuka ku ssaawa emu ey’akawungeezi ne boogera okutuuka ku ssaawa nga 5:00 wabula yalaba tebakwataganye kwe kusalawo asooke yeewunguleko katono oluvannyuma baddemu okwogera yagenda okudda awaka nga Kibirango n’omwana tebaliiwo.

Yaddukidde ku poliisi y’e Nateete n’aggulawo omusango gw’okumubbako omwana ku fayiro SD 43/13/02/2019.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire yagambye nti, okuwamba musango era banoonyereza singa banaakizuula nti, Kibirango omwana yamuwambye buwambi bwe banaamukwata ajja kuvunaanibwa ogw’okuwamba omwana okuva ku nnyina.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Index 220x290

'Mwenyigire mu by'obulimi ebivaamu...

PULEZIDENTI Museveni akunze Bannayuganda okumwegattako okulwanyisa abakulu b’amasomero abasaaawo ffiizi ez’ekimpatiira...

Plana 220x290

Bobi Wine akoze pulaani endala...

BOBI Wine bwe yavudde e Jamaica yasookedde ku mukolo gwa muganda we Fred Nyanzi era eno gye yayanjulidde pulaani...

Kcca 220x290

Ebbaluwa y’abasuubuzi ku by’oluguudo...

EBBALUWA y’abasuubuzi mu Kampala abeegattira mu KACITA gye baawandiikidde Loodi meeya Erias Lukwago ne dayirekita...

Sanyu1 220x290

Kyokka Golola Moses of Uganda!...

OMUKUBI w’ensambaggere Golola Moses of Uganda nga bwe yeeyita yajagalazza abantu bwe yalabiddwaako ng’ali n’omuwala...

Ni 220x290

Nagenda okuva mu kkomera nnasanga...

NZE Joshua Kayiira nga ndi musuubuzi mu kibuga Kampala naye nga mbeera Kawaala.