TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omugagga Yanga atabuse abaasaze kkufulu ku bizimbe bye abatwala mu kkooti

Omugagga Yanga atabuse abaasaze kkufulu ku bizimbe bye abatwala mu kkooti

By Musasi wa Bukedde

Added 16th February 2019

Omugagga Yanga atabuse abaasaze kkufulu ku bizimbe bye abatwala mu kkooti

Seb4 703x422

Abamu ku basuubuzi abakolera ku kizimbe kya Zai Plaza nga batidde okukiyingira oluvannyuma lw’ekibiina kya KACITA okubaggulira amadduuka gaabwe omugagga Yanga ge yabadde aggadde.

OMUGAGGA Mansoor Matovu Yanga atabukidde b’agamba abaasaze ekkufulu ku bizimbe bye yaggadde n’agamba nti abatwala mu kkooti. Ng’ekkufulu tezinnamenyebwa ku bizimbe, Yanga yakedde mu kafubo ne dayirekita wa ISO Col. Frank Kaka Bagyenda, Ssaabawolereza wa Gavumenti, William Byaruhanga, omuyambi wa pulezidenti mu by’amateeka, Florence Kiconco n’abakungu abalala okumulungula ensonga.

Akafubo kano, kaabadde ku ofiisi ya Byaruhanga ku Lwokuna ku ssaawa musanvu n’ekitundu ez’emisana. Yanga baamusoyezza ebibuuzo lwaki talinaamu mutima gulumirirwa bapangisa be ate nga be bamuyimirizzaawo n’okumugaggawaza. Yanga yategeezezza nti, naye ali mu bulumi okuzimba ekizimbe ng’akozesezza ssente ezibalirirwa mu buwumbi bannakigwanyizi ne baziyingiramu nga tebalina wadde empapula kwe beesigamye.

Yabuuzizza Byaruhanga nti, ye awa nsonga ki nga munnamateeka eremesezza poliisi okumukwasa ekizimbe kye ate nga baamuwa dda ebbaluwa eziraga nti oludda lwa Charles Muhangi teruteekeddwa kukibeeramu.

Yanga yakyukidde Kiconco n’amutegeeza nti, yakwasibwa okukulira olukiiko lusalewo eggoye ku ani nnannyini bizimbe omutuufu kyokka naye asirise. Yakyukidde Kaka Bagyenda n’amusaba nti, nga tannaba kumunenya lwaki tabuuza muduumizi wa poliisi mu Kampala, Moses Kafeero lwaki alemezza Muhangi mu bizimbe nga kati ku baserikale ba poliisi baayongerako ne miritale.

Col. Kaka bwe yatuukiriddwa ku nsonga eno, yagambye nti, Yanga okuggala ebizimbe yakikoze mu bumenyi bw’amateeka n’agamba nti, yayogedde naye ne bakkaanya aggulewo ebizimbe abantu bakole. Yannyonnyodde nti, okumenya endagaano Yanga gye yakola n’abasuubuzi ng’abawa amaduuka ku bizimbe bye, musango ate nga bannamateeka, baabadde tebasobola kugumikiriza mbeera yakacankalano ku bizimbe 10 mu Kampala. “Ebizimbe bye yaggadde tebirina we bikwataganira na kizimbe ky’abanja ne munne Drake Lubega yabadde ayagala kuggala bibye ne tumugaana.” Kaka bwe yategeezezza.

Yagambye nti, bagenda kuddamu okukola okunoonyereza ku mivuyo gya Qualicell okuzuula ensobi we yava, poloti Muhangi gye yafa akaayanira gye yaggyamu okuzimbibwako Lubega ne Yanga.

Yanga bwe yatuukiriddwa yagambye nti, baamusuubizza okukola ku nsonga z’ekizimbe kye era akafubo ke baabaddemu kaawedde ng’akkirizza okuggulawo ebizimbe abantu bakole. Ku ssaawa nga 9:30 ez’emisana, abasuubuzi nga bakulembeddwaamu KACITA n’omubaka wa Kampala Central, Mohammad Nsereko baasaze enjegere ku bizimbe byonna ne beggulira kyokka abasinga ne batya okubiyingira nga beekengera nti omugagga ayinza okusitukira mu bbo.

Yanga olwawulidde bino, n’agamba nti agenda mu kkooti okuwawabira Nsereko n’aba KACITA okwonoona ebintu bye n’okusaalimbira ku bizimbe bye nga tabawadde lukusa. Wabula nabo baamwanukudde ne bamugamba nti bw’aba alowooza nti kye yabadde akoze kituufu okusibira abasuubuzi baatabanja ebweru, beetegefu okwewozaako

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Funa 220x290

Square Milez ne Deborah Kandi temwekola...

ABAYIMBI Deborah Nakandi eyeeyita Deborah Kandi ne Kisaakye Micheal Joseph amanyiddwa nga Square Milez ebintu bye...

Baba 220x290

Swengere ne Maama Kalibbala bali...

HUSSEIN Ibanda amanyiddwa nga Swengere ne munnakatemba munne Maama Kalibbala bali luno.

Lap2 220x290

Owoomuluka awerennemba na gwa ttaka...

Owoomuluka awerennemba na gwa ttaka

Siralexferguson1132188 220x290

Aba ManU bampisaamu amaaso - Sir...

EYALI omutendesi wa ManU, Sir Alex Ferguson ayogedde ku mbeera eyali ttiimu ye gy'erimu n'agamba nti ekwasa ennaku....

Lop2 220x290

Bakasukidde ab’e Ntinda ebintu...

Bakasukidde ab’e Ntinda ebintu