TOP

Ababbi balumbye ebyalo abatuuze ne battako omu

By Musasi wa Bukedde

Added 16th February 2019

Ababbi balumbye ebyalo abatuuze ne battako omu

Lop2 703x422

Poliisi ng’ateeka omulambo gw’omubbi eyattidwa mu Zooni 4 e Kasubi ku kabangali yaayo.

Ekibinja ky’abavubuka ababbi kyalumbye ebyalo mu Kasubi ne Namungoona ne bagezaako okunyagulula abatuuze wabula ne babazingiza ne battako omu ate omulala poliisi n’emubataasaako ng’asigaddeko kikuba mukono.

Bino byabaddewo mu kiro ekyakeesezza Olwokutaano. abavubuka bano baasoose mu Kasubi mu zooni 3 gye baabadde bagezaako okuyingirira omu ku batuuze kyokka n’akuba enduulu abatuuze ne bakwatako omu era ne bamukuba emiggo n’amayinja ebyamuttidewo.

Oluvannyuma lw’okufubutulwa mu Kasubi, bazze mu bitundu by’e Namungoona mu Zooni 2. eno baliko omukyala asiika chapati gwe baabadde bayingiridde eyakubye enduulu, abakuuma ekyalo ne bamudduukirira okukkakkana ng’abatuuze bazingizzaako omu ne bamukwata abalala ne badduka.

Eyakwatiddwa abatuuze baamukubye nga bagamba nti bakooye okubbibwa mu kitundu kyabwe era poliisi okuva e Namungoona we yatuukidde nga bategeka kumwokya n’emubataasako. Baamutadde ku kabangali ya poliisi n’atwalibwa mu ddwaaliro e Mulago. Omu ku baalumbiddwa ng’ono yategeerekeseeko erya Samali Nakanwagi: Ababbi basusse mu kitundu kyaffe.

Bano baabadde balowooza abantu bagenze mu valentayini ne balumba naye ne babakwata. Tusaba poliisi eyongere amaanyi ku bavubuka bano kuba bakyamu. Charles Lupere: Ababbi bano baabadde bawerako era kirabika bwe baabagobye mu Kasubi ne baddukira eno ewaffe.

Tusaba abantu abalina ebikomera bongere okuteeka amataala wabweru w’ebikomera okumalawo obuzikiza, ababbi bano mwe bagumba. Godfrey Kayemba; Obubbi nga buno obw’okuyingirira abantu buzzeemu mu Namungoona.

Tukubiriza abatuuze okukolera wamu n’abebyokwerinda mpozzi n’okufaayo okuduukirira bannaffe. Ababbi bano okubanyweza abatuuze baamaze kwekolamu mulimu.

Abantu bye boogera Namugenyi yategeezeza nti abavubuka abaamulumbye baabadde mu kibinja ky’abavubuka bana. Agamba nti mu kuyingira baabadde balowooza mu kayumba temusulamu bantu kyokka bwe yalabye bamenye akajji bayingidde kwe kukuba enduulu abantu ne babafubutula okukkakkana nga bakutteko omu.

Okusinziira ku Charles Lupera atwala ebyokwerinda mu Namungoona zooni 2 agamba nti ekibinja ky’ababbi bano kyagadde okukozesa omukisa gw’okuba nti abantu bagenze mu bikujjuko bya Valentayini banyage kyokka ng’abatwala ebyokwerinda babadde beetegese okukuuma ekyalo.

Bo bamu ku batuuze baategeezezza nti obubbi naddala obwokuyingira amayumba bususse mu bitundu byabwe. Abakazi baategeezeza nti abavubuka bano batuuka n’okubeekakaatikako ne babakaka akaboozi kwe kusaba poliisi eyongere ku bukuumi mu bitundu byabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lop2 220x290

Looya alaze engabana y’emmaali...

Looya alaze engabana y’emmaali

Kip3 220x290

Ekisiikudde muka Bukenya baawukane...

Ekisiikudde muka Bukenya baawukane kati

Kip2 220x290

Muto wa Owen Kasule aziikiddwa...

Muto wa Owen Kasule aziikiddwa

Hot3 220x290

Maama bangi be wasigamu ensigo...

Maama bangi be wasigamu ensigo ey’okwagala Katonda

Hot3 220x290

Twakufuna nga kirabo okuva eri...

Twakufuna nga kirabo okuva eri Omutonzi