TOP

Okusunsula abayizi abagenda mu S5 kuwedde

By Musasi wa Bukedde

Added 16th February 2019

Okusunsula abayizi abagenda mu S5 kuwedde

Pop1 703x422

Abakulu b’amasomero n’abaakiikiridde amasomero nga basunsula abayizi abagenda mu S5.

MINISITULE y’ebyenjigiriza eyanjudde enteekateeka empya okuddamu okuwandiika abasomesa bonna mu Uganda kubanga waliwo bangi abatalina bisaanyizo nga n’abamu bali ku lukalala lwa gavumenti kw’esasulira.

Enteekateeka yayanjuddwa omuwandiisi ow’enkalakkalira mu minisitule y’ebyenjigiriza, Alex Kakooza bwe yabadde ayogera eri abasomesa n’abakulira amasomero nga bali mu kusunsulamu abayizi abagenda mu S.5 n’amatendekero amalala abaatudde S.4 omwaka oguwedde.

Abaali mu by’enjigiriza mu bitongole ebimu bawakanyizza enteekateeka eno abalala ne bagiwagira nga bagamba nti minisitule yalwawo okukikola. Filbert Baguma, Ssaabawandiisi w’ekibiina ekigatta abasomesa mu Uganda (UNATU) yagambye nti okumalawo ekizibu Kakooza ky’ayagala okulwanyisa olina kusooka kuddamu kibuuzo nti amannya g’abasomesa abatasaanidde gatuuka gatya ku lukalala kwe basasulira abasomesa.

Baguma agamba nti, buli mwaka minisitule y’ebyenjigiriza eddamu ne yeekenneenya olukalala lw’abasomesa naye bye bazuula tewali amanyi gye bibulira. Ne bwe banaakola byonna nga tebasoose kulwanyisa nguzi ekikolwa kyakugenda mu maaso kubanga ne bw’ogenda ku masomero osangawo olukalala lw’abasomesa naye nga n’omukulu w’essomero tamanyi bameka abali ku lukalala abasasulirwa mu ssomero lye.

Omubaka Joseph Gonzaga Ssewungu (Kalungu West) era atuula ku kakiiko k’ebyenjigiriza mu palamenti yagambye nti, baalwawo kubanga akakiiko katuulako, Sipiika y’abasindika okulambula amasomero kyokka baatuuka mu disitulikiti y’e Gulu ne Lira ne kibasobera.

Gulu baasangayo abasomesa 500 abali ku lukalala kwe basasulira kyokka nga bwe babuuza akulira ebyenjigiriza mu disitulikiti naye abagamba kimu nti ebintu bizibu tamanyi bwe baagendako ate tasobola kubagggyako.

Akulira ekibiina ekigatta amasomero g’obwannannyini mu Kampala, Patrick Kaboyo yagambye nti, bwe kibeera kisoboka bakikole mu bwangu baggyewo abatasaanidde baleete abalina ebisaanyizo.

Omuwandiisi ow’enkalakkalira ye yakiikiridde minisita w’ebyenjigiriza n’akubiriza abakulira amasomero okulaba ng’abayizi abaateekayo okusaba kwabwe mu masomero ago babawa ebifo era bwe babeera tebafunye mukisa kufuna we baasaba babateeka mu masomero mwe basaanidde okubeera kubanga bonna be batadde ku nkalala baatuusa ebisaanyizo ebibaweesa ebifo ku mitendera egiddako.

AMASOMERO AMANENE N’OBUBONERO KWE GAAGABIDDE ABA S.5 Kibuli SS abalenzi 20 abawala 23, Our Lady Of Good Council Gayaza abawala 29 abalenzi 23, Mengo SS abalenzi 19 abawala 22, Kako SS abalenzi 32 abawala 35, Gombe ss abawala 23 abalenzi 22 fiizi ziri ku 920,000/-, St. Maria Goreti Katende bonna baabaweeredde ku 38, fiizi 870,000/-, St. Mark Namagoma abalenzi n’abawala baabaweeredde ku 32, fiizi 950,000/- Kololo ss bonna baabaweeredde ku 45, fiizi 340,000/-,Kawempe Muslim abalenzi 21 abawala 23, fiizi 1,200,000/-, Bishops SS Mukono abalenzi 36 abawala ku 44, fiizi 840,000/-, Kyambogo College abalenzi 33 abawala ku 35, fiizi 565,400/-, Iganga SS baatwalidde ku 22 (lya bawala bokka), fiizi 773,900/-. Jinja college babaweeredde ku 27 (balenzi bokka), fiizi 736,000/-, Kako ss abawala baabaweeredde ku 35, abalenzi ku 32, fiizi 830,000/-, Immaculate Heart Nyakibaale baatwalidde ku 21.

AMATENDEKERO G’ABASOMESA Ndegeya PTC bonna babaweeredde ku 38, Kabulasoke PTC bonna baabaweeredde ku 45, fiizi 300,000/-, Rakai PTC bonna baabaweeredde ku 42, fiizi 350,000/-. Nakaseke PTC n’amatendekero g’abasomesa amalala tegalina bubonero bwa ssalira kwe gaagabidde, wabula omuyizi kasita abeera nga yayita okubala n’olungereza ng’alina Credit, n’okuyita amasomo ga Ssaayansi baba bamuwa butereevu.

6 Bukedde Lwamukaaga February 16, 2019 amawulire Okusunsula abayizi abagenda mu S5 kuwedde Abakulu b’amasomero n’abaakiikiridde amasomero nga basunsula abayizi abagenda mu S5.

Yanga atwala baasaze kkufulu ku bizimbe bye yaggadde mu kkooti Damascus Kalanzi, musuubuzi: Wadde nga gavumenti eteeseganyizza n’omugagga Yanga okuggulawo ebizimbe bye tugisaba okuteeka mu nkola ebikkaanyiziddwaako aleme kuddamu kubisiba kubanga abasuubuzi bajja kukosebwa.

Vicent Mpoza, musuubuzi: Wadde ng’omugagga amaze ne yeekuba mu kifuba kyokka siri musanyufu olw’enkola y’okulwaniranga entalo ze mu basuubuzi kubanga zitukosa ng’ate tagenda kusasulira loosi gy’abeera atuleetedde mu kaseera ako. Shirat Namaganda, musuubuzi:

Tuli basanyufu olwa bakama baffe okutegeeragana ne gavumenti ku ky’okutuggulirawo amadduuka gaffe kubanga tubadde tetukyakola ng’emmaali yaffe yonna bagisibira mu bizimbe byabwe.

Abbaannttuu kkyyee bbaaggaammbbaa Abamu ku basuubuzi abakolera ku kizimbe kya Zai Plaza nga batidde okukiyingira oluvannyuma lw’ekibiina kya KACITA okubaggulira amadduuka gaabwe omugagga Yanga ge yabadde aggadde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lop2 220x290

Looya alaze engabana y’emmaali...

Looya alaze engabana y’emmaali

Kip3 220x290

Ekisiikudde muka Bukenya baawukane...

Ekisiikudde muka Bukenya baawukane kati

Kip2 220x290

Muto wa Owen Kasule aziikiddwa...

Muto wa Owen Kasule aziikiddwa

Hot3 220x290

Maama bangi be wasigamu ensigo...

Maama bangi be wasigamu ensigo ey’okwagala Katonda

Hot3 220x290

Twakufuna nga kirabo okuva eri...

Twakufuna nga kirabo okuva eri Omutonzi