TOP

Museveni agguddewo olusirika lwa NRM

By Muwanga Kakooza

Added 16th February 2019

Museveni agguddewo olusirika lwa NRM

Sev3 703x422

Museveni ng'ayogerera mu lusirika lwa NRM

PULEZIDENTI Museveni agguddewo olusirika lw’akakiiko ka NRM akafuzi ( CEC ) olugenda okumala ennaku ettaano nga lukubaganya ebirowoozo ku nsonga ezitali zimu okuli n’ebikwata ku by’okukyusa mu Konsitityusoni  ng’eggwanga lyetegekera okulonda kwa 2021.

Olusirika luno luli mu wooteri ya Chobe Safar Lodge esangibwa mu kkuumiro ly’ebisolo erya Murchision Falls mu disitulikiti y’e Nwoya mu bukiikakkono bwa Uganda. Lugenda kuyinda okutuuka nga Febuary 20,2019.

Pulezidenti Museveni ategeezezza nti  ekimu ku bintu ebikulu ebirina okussibwako essira mu lusirika kwe kumalawo obwavu mu byalo gye yagambye nti abantu 68 buli 100 gye babeera. ‘‘Buno bwe bunafu bwaffe obusinga obukulu, tusaanye ensonga tuzikubaganyeeko ebirowoozo twogere olulimi lumu’’ Museveni bwe yagambye.

sabawandiisi wa  ustine asule umumba ngannyonnyola ensonga ku nsonga zolusirikaSsabawandiisi wa NRM Justine Kasule Lumumba ng'annyonnyola ensonga ku nsonga z'olusirika

Yagambye nti olusirika lulina okukubaganya ebirowoozo ku by’enfuna. Yasiimye baneekolera gyange olw’okuyamba ku gavumenti okusitula enkulakulana y’eggwanga.

Ssabawandiisi wa NRM Justine Kasule Lumumba yagambye nti ekibiina kiyimiriddewo ku maanyi ga ssentebe wakyo okuyigga nsimbi za kukola ku pulojekiti ezitali zimu n’asaba bammemba okukubaganya ebirowoozo ku ngeri endala gye kiyinza okufuna ensimbi.

 Yasabye abantu okumanya ennyo ebikwata ku nguzi n’okugirwanyisa n’agamba nti  kino (obuli bw’enguzi) bukosezza eby’okussa mu nkola manifesito ya NRM.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lop2 220x290

Looya alaze engabana y’emmaali...

Looya alaze engabana y’emmaali

Kip3 220x290

Ekisiikudde muka Bukenya baawukane...

Ekisiikudde muka Bukenya baawukane kati

Kip2 220x290

Muto wa Owen Kasule aziikiddwa...

Muto wa Owen Kasule aziikiddwa

Hot3 220x290

Maama bangi be wasigamu ensigo...

Maama bangi be wasigamu ensigo ey’okwagala Katonda

Hot3 220x290

Twakufuna nga kirabo okuva eri...

Twakufuna nga kirabo okuva eri Omutonzi