TOP

Abaagobwa ku kyalo basattira

By Musasi wa Bukedde

Added 3rd January 2017

N’okutuusa kati abavubuka; Johnson Gawulira wamu ne munne Godfrey Gyobya, abaagobwa ku kyalo Makerere mu zooni ya Mini Triangle mu mwaka gwa 2015 nga balangibwa okwenyigira mu muze gw’okwevuga empanka (soma okulya ebisiyaga) basattira olw’abeebyokwerinda, bannabyabufuzi gattako n’batuuze abakyabayigga n’okutuusa kati.

Whatsappimage20190219at1947 703x422

Gawulira (31) ne Gyobya kati (33), bassibwako n’ekibaluwa kibakuntumye ekyasaasaanyizibwa ku kyalo gye basibuka  n’okwetooloola eggwanga lyonna.

Wabula oluvannyuma lw’okugwa mu lukwe lw’okukwatibwa bemmulula ne badduka okusimattuka ekibabu ky’abatuuze abaali batasalikako musale nga basazeewo okubeekolelako obutalinda baabyakwerinda.

Abatuuze ne gye buli eno bakyeyama okukolera awamu n’abeebyokwerinda, abatuuze wamu ne bannabyabufuzi  okufeffetta amayitire g’ababiri bano wamu ne bannaabwe abalala abeenyigira mu muze guno bakwatibwe bakolebwako ng’amateeka bwe galagira.

Bassaawo n’ekirabo eri oyo yenna aba abalabyeko okutegeeza amangu abeebyokwerinda ne bannabyabufuzi okutangira omuze guno obutasaasaana naddala mu mujiji gw’abaana abato.

Kinajjukirwa nti mu Uganda okulya ebisiyiga musango oluvannyuma lwa Puzidenti Yoweri Kaguta Museveni okussa omukono ku tteeka elibiwela nga 24/02/2014 era bangi ku babadde beenyigira mu muze guno bekkuniza nga tebaagala kumanyibwa bantu olw'okutya okukolebwako amateeka.

 

 

 

N’okutuusa kati abavubuka; Johnson Gawulira wamu ne munne Godfrey Gyobya, abaagobwa ku kyalo Makerere mu zooni ya Mini Triangle mu mwaka gwa 2015 nga balangibwa okwenyigira mu muze gw’okwevuga empanka (soma okulya ebisiyag)  basattira olw’abeebyokwerinda, bannabyabufuzi gattako n’batuuze abakyabayigga n’okutuusa kati.

Gawulira (31) ne Gyobya kati (33), bassibwako n’ekibaluwa kibakuntumye ekyasaasaanyizibwa ku kyalo gye basibuka  n’okwetooloola eggwanga lyonna.

Wabula oluvannyuma lw’okugwa mu lukwe lw’okukwatibwa bemmulula ne badduka okusimattuka ekibabu ky’abatuuze abaali batasalikako musale nga basazeewo okubeekolelako obutalinda baabyakwerinda.

Abatuuze ne gye buli eno bakyeyama okukolera awamu n’abeebyokwerinda, abatuuze wamu ne bannabyabufuzi  okufeffetta amayitire g’ababiri bano wamu ne bannaabwe abalala abeenyigira mu muze guno bakwatibwe bakolebwako ng’amateeka bwe galagira.

Bassaawo n’ekirabo eri oyo yenna aba abalabyeko okutegeeza amangu abeebyokwerinda ne bannabyabufuzi okutangira omuze guno obutasaasaana naddala mu mujiji gw’abaana abato.

Kinajjukirwa nti mu Uganda okulya ebisiyiga musango oluvannyuma lwa Puzidenti Yoweri Kaguta Museveni okussa omukono ku tteeka elibiwela nga 24/02/2014 era bangi ku babadde beenyigira mu muze guno bekkuniza nga tebaagala kumanyibwa bantu olw'okutya okukolebwako amateeka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lop2 220x290

Looya alaze engabana y’emmaali...

Looya alaze engabana y’emmaali

Kip3 220x290

Ekisiikudde muka Bukenya baawukane...

Ekisiikudde muka Bukenya baawukane kati

Kip2 220x290

Muto wa Owen Kasule aziikiddwa...

Muto wa Owen Kasule aziikiddwa

Hot3 220x290

Maama bangi be wasigamu ensigo...

Maama bangi be wasigamu ensigo ey’okwagala Katonda

Hot3 220x290

Twakufuna nga kirabo okuva eri...

Twakufuna nga kirabo okuva eri Omutonzi